TOP

Ssente z’ettoffaali zimutwazizza mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2016

Ssente z’ettoffaali zimutwazizza mu kkooti

Tof1 703x422

Nyanzi

OMUSAJJA eyali agezaako okubba ssente z’etoffaali poliisi emutwala mu kkooti nga bw’ekyanoonya banne bwe baali mu lukwe.

Charles Nyanzi ow’e Nyendo, Masaka yeekobaana ne banne babiri ne bagenda mu maka ga Emmanuel Kalule Ssengendo Kanoni mu Gomba n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente z’etoffaali. Kyokka poliisi yasobola okubazingiza ne bakwattaako Nyanzi wabula banne abalala ne baddukira mu kibira.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Gomba, Doreen Kakyo yategeezezza nti poliisi ekyagenda mu maaso n’okuyigga abavubuka abaali ne Nyanzi abadduuka.

Yagambye nti Nyanzi baamugguddeko omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba CRB 392/2016 era agenda kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

Ebbanga Nyanzi ly’amaze mu kkomera yagaana okwogera banne bwe baali mu lukwe era yeewozaako nti teyali mu lukwe wabula ababiri abadduka be baali bagenda okunyaga ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu