TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Ssebaana Kizito awadde Gavumenti n'ekitongole ekiramuzi amagezi ku nsonga za Besigye

Ssebaana Kizito awadde Gavumenti n'ekitongole ekiramuzi amagezi ku nsonga za Besigye

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2016

Ssebaana Kizito awadde Gavumenti n'ekitongole ekiramuzi amagezi ku nsonga za Besigye

Seb1 703x422

Ssebaana Kizito

EYALI ssenkaggale wa DP John Ssebaana Kizito awabudde gavumenti n’ekitongole ekiramuzi ku nsonga z’okuggalira Dr. Kizza Besigye n’ategeeza nti wateekwa okubaawo obwanjulukufu mu ngeri amateeka gye gakwasibwamu.

Ssebaana yagambye nti okuggalira omuntu ng’ateeberezebwa okumenya amateeka tekirina mutawaana wabula alina okukkirizibwa okusisinkana balooya be, okutwalibwa mu kkooti ng’obudde bwayo tebunnaggwaako n’obutayisa biragiro ng’oludda olumu teruweereddwa mukisa kwennyonnyolako.

Yanokoddeyo ekiragiro ekyakolebwa Omulamuzi Steven Kavuma ekiwera kampeyini ya FDC ey’okujeema eyakazibwako “Defayanse” n’anenya n’ebitongole ebikuumaddembe okusibira bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya gavumenti mu maka gaabwe kubanga kityoboola eddembe ly’obuntu. Ssebaana yasabye n’abakulembeze b’ebibiina byobufuzi ebirala nabo beenyigiremu mu nsonga za Dr. Besigye kubanga emisango gy’okulya mu nsi olukwe egyamugguddwaako minene nnyo.

Besigye yasimbiddwa mu kkooti y’e Moroto ku Lwokutaano n’asindikibwa ku limanda mu kkomera ly’e Moroto gy’akuumirwa okutuusa nga May 25, 2016. Ssebaana okwogera bino yabadde akyazizza Meeya wa munisipaali y’e Makindye omulonde Kasirye Nganda Mulyannyama e Kansanga mu Kampala eggulo.

Mulyannyama yagenzeeyo okumwebuuzaako ku nzirukanya ya Kampala bw’esaana okubeera era Ssebaana n’amutegeeza nti okusisinkana Pulezidenti Museveni ku nsonga eziruma Bannakampala kyetaagisa nnyo buli kiseera era teguba musango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja