TOP

Weasel bimusobedde n'atulika n'akaaba!

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2016

Weasel bimusobedde n'atulika n'akaaba!

Wi1 703x422

Weasel ng’akaaba

Proscovia Mayanja akaabizza mutabani we Weasel bw’abadde yeegayirira abawagizi obutasibira bayimbi okuli ne batabani be kikookolo olw’okuyimba mu kampeyini za NRM ne mu luyimba lwa ‘Tubonga naawe’. Abasabye babasonyiwe kuba baali banoonya ssente.

“Abazze leero okuwagira batabani bange, Weasel ne Radio mwebale n’abo abatasobodde ku mulundi omulala mujje ate muwagire n’abayimbi abalala basobole okufuna ‘muwogo’ (ategeeza ssente).

Ebyaliwo byaliwo naye kati byaggwa muwagire abayimbi nabo babasanyuse obutabajuza, Muky. Mayanja era nga y’azaala ne Chameleone bwe yagambye n’akwata n’akazindaalo n’abayimbiramu ezimu ku nnyimba za batabani be.” Bino yabadde abyogera nga Weasel amaziga gamuyitamu naye tetwategedde kyamukaabizza.

 aama wa easel ngayimbira mu badigize u kkono ye adio Maama wa Weasel ng’ayimbira mu badigize. Ku kkono ye Radio.

 Baabadde mu kivvulu ky’aba Goodlyfe ku Nican Resort e Sseguku ku Ssande ekiro. Nga tebannagenda ku Nican, ku Lwomukaaga, aba Goodlyfe baabadde balina okuyimba e Mukono ku Colline Hotel wabula ekivvulu ky’eno tekyagenze mu maaso oluvannyuma lw’abayimbi bano obutalabikako.

Geoffrey Kyagambidwa (Chagga) maneja waabwe yagambye nti eky’abayimbi bano obutalabikko kyavudde ku Radio kulwala kyokka ensonda zaategeezezza nti waabaddewo obuzibu wakati w’abayimbi n’omutegesi wa lonki nga Radio ayagala basooke kubawa ‘bbaalansi’ waabwe ate ye omutegesi ng’agamba ssente yabadde alina kuzifuna mu kivvulu ky’Olwokutaano ku Hotel Africana ekitaakoze bulungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai