TOP

Omwana w'omugagga olumuwadde emmaali n'afa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th May 2016

Omwana w'omugagga olumuwadde emmaali n'afa

Nab1 703x422

Ssenyonga ne Mukyala we Nabachwa ku mbaga yaabwe eyaliwo omwaka oguwedde mu sept. Ssenyonga yafiiridde e Buyindi n'aleka mukyala ne bebbi

OMUGAGGA Teopista Nabbaale obwedda ayaziirana nti: Mwana wange ofiiridde mu maanyi! Ndabye nze! Yabadde yaakamala okutegeezebwa nti mutabani we John Bosco Ssenyomo, akutukidde e Buyindi.

Ssenyomo 33, abadde yaakamala okukwasibwa obuyinza okuddukanya ‘emmaali’ omuli n’ebizimbe ebiriko amaduuka mu kibuga wakati. Nabbaale ng’ali mu maziga yagambye nti omwana ono abadde yaakamukwasa obuyinza okuddukanya bizinensi era emirimu ng’agikuguseemu.

“Mbadde sikyatawaana na kulinnya nnyonyi kugenda China, Dubai n’e Bungereza okusuubula ng’omwana oyo byonna y’abimala, naye Katonda ankubye omuggo!” Nabbaale obwedda bw’alaajana.

Ebizimbe by’abadde alabirira kuliko Mackenzie ku Namirembe road, Maries Hotel ku Martin road n’ebizimbe ebirala bibiri ku Nabugabo road. Ebizimbe ebirala bibiri biri Kabalagala awaali JOHNRICH Supermarket era ekimu kibadde kikyamalirizibwa. Ebizimbe ebirala bibiri e Zzana. Ng’oggyeeko ebizimbe ebipangisibwa, Ssenyomo ne nnyina babadde baddukanya bizinensi y’okusuubula ‘wayini’ (omwenge ogw’ebbeeyi).

Obulwadde obwasse Ssenyomo bwazze ng’obw’olusaago wiiki bbiri eziyise kyokka ne bumunyiikirira ne kisalwawo aweerezebwe e Buyindi akolweko abasawo abakugu. Kyazuuliddwa nti obulwadde obumuluma bwakwata ku Kibumba ne bukyonoona era abasawo baamulongoosezza okutaasa obulamu wabula ne bireme era n’assa ogw’enkomerero ku Mmande essaawa 6:00 ez’emisana.

Nabbaale eyabadde akungubagira mu makaage agali e Bunnamwaya mu Kikumbi Zooni yagambye nti yabadde mu mmotoka ne mukwano gwe Sarah Nkonge nga bagenda ku kisaawe e Ntebe okulinnya ennyonyi ebatwala e Buyindi okulaba Ssenyomo, wabula ne baweereza Nabbaale obubaka ku ssimu nga bamutegeeza nti: “Kitalo nnyo, omwana Katonda amuyise!” Nabbaale abadde n’abaana 4 kyokka kati asigazza basatu; abawala babiri n’omulenzi omu.

 abbaale nomugenzi Nabbaale n’omugenzi.

 ALESE OMUGOLE GW’ABADDE YAAKAKUBA EMPETA

Nga September 19, 2015 Ssenyomo yagattibwa ne Ritah Nabacwa 27, mu lutiiko e Lubaga. Abadde yaakamala emyezi munaana mu bufumbo obutukuvu ne Nabacwa era abakungubazi obwedda basaasira omukyala okufuuka Nnamwandu mu kaseera akampi ako.

Bangi mu famire babadde bakyamuyita lya ‘Mugole’. Mu kutwalibwa e Buyindi, mukaziwe Nabacwa y’eyamugenderako era yamukutukidde mu ngalo. Ssenyomo abadde alina ddiguli mu ssomo lya Computer Science gye yafunira mu yunivaasite e Makerere.

 maka ga abbaale mwakumidde olumbe lwa mutabani we Amaka ga Nabbaale mw’akumidde olumbe lwa mutabani we.

 ABAGAGGA BASONZE OBUKADDE 60 EZIKOMYAWO OMULAMBO

Dr. Sarah Nkonge mukwano gwa Nabbaale yategeezezza nti batandise okukola ku nteekateeka z’okuzza omulambo gw’omwana waabwe nga bayambibwako ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi. Yannyonnyodde nti basuubira nti omulambo gwakutuuka mu ggwanga ekiro kya leero (Olwokusatu) era gwakujjira mu nnyonyi ya Ethiopia Airlines olwo bateeketeeke okuziika okusuubirwa okubaawo ku Lwomukaaga ku kyalo Manyama e Kaliisizo mu Rakai.

Abagagga ba Kwagalana nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Godfrey Kirumira eggulo babadde baakesondamu obukadde 60 okuyamba ku mmemba waabwe mu nteekateeka z’okuzza omulambo n’okukola ku by’okuziika. Abadde ajjanjabirwa Buyindi mu ddwaaliro lya Medanta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja