TOP

Poliisi ekutte abazigu 6, emmundu 5 n'amasasi 30

By Musasi wa Bukedde

Added 18th May 2016

Poliisi ekutte abazigu 6, emmundu 5 n'amasasi 30

Nja1 703x422

POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwatta abasajja mukaaga, emmundu ttaano, amasasi 30 n’ebyambalo ebiringa eby’ekijaasi bye babadde bakozesa okutigomya abatuuze b’e Bunga, Kansanga n’ebintu ebiriraanyeewo.

Abaakwatiddwa bateeberezebwa okuba nga bebennyigira mu kubba Abachina be babbako obukadde 539 nga baasooka kubba obukadde 309. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, ekitongole kya poliisi ekya Flying Squad kye kyakutte abasajja bano.

Abaakwatiddwa kuliko; George Kawooya ow’e Nakulabye mu Zooni 9, Elias Kafuuma 52 ow’omu Ndeeba, Isma Mutebi, Festo Tumushabe, Peter Kawuki ne Ashraf Kivumbi.

Onyango yagambye nti abasajja bano bateeberezebwa okuba nga be baali mu lukwe lw’okubba kkampuni z’Abachina ezigula enuuni ng’emu baagibbako obukadde 309 ate endala ne baginyagako obukadde 230.

Obunyazi bwonna baabukolera mu mmotoka nnamba UAH 210X nga balina n’emmundu ng’obunyazi bw’aliwo mu January w’omwaka guno. Ababbi era baanyaga emmotoka y’ekika kya Regius nnamba UAQ 092X gye baasuula e Bulenga.

Onyango yagambye nti, poliisi yasooka kukwata Festo Tumushabe ng’ono ye yalonkoma banne era ne bazuula emmundu ttaano okuli n’eyabbibwa ku poliisi y’e Nalukolongo ng’omuserikale gwe baagiggyako baamusanga akuuma.

 Yagambye nti ebyambalo by’amagye n’ebyuma eby’empuliziganya poliisi yabizudde oluvannyuma lw’okugenda mu maka ga George Kawooya abadde yeeyita omujaasi wa UPDF, nga mu nnyumba ye baazuddeyo yunifoomu nnya, leediyo za poliisi n’ebintu ebirala eby’ekijaasi Onyango yagambye nti Elias Kafuuma eyakwatiddwa y’omu ku baawamba omukozi wa ttivvi ya BBS, Robert Mwanje gwe baanyagako akakadde k’ensimbi.

Yagambye nti poliisi yakizudde ng’abasajja bano abaakwatiddwa bonna bakolagana kuba Kafuuma eyasembyeyo okukwatibwa ku musango gw’okubba Mwanje bwe baamutuusizza mu kaduukulu nga banne bamumanyi era bamulumirizza okwenyigira mu bubbi mu kitundu ky’e Kansanga ne Bbunga.

Onyango agamba nti bonna abaakwatiddwa baggguddwaako ogw’obubbi n’okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti ku fayiro nnamba CRB 406/2016 ne CRB 013/2016. Yasabye abantu abalina kye bamanyi ku basajja bano okutuukirira poliisi basobole okugiyambako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....