TOP

Lukwago ayogedde ebigambo ne bicamula ab'oludda oluvuganya

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2016

Lukwago ayogedde ebigambo ne bicamula ab'oludda oluvuganya

Luk1 703x422

LOODI Meeya Erias Lukwago alayidde nti tagenda kukkiriza ntegeka za Pulezidenti Museveni okusimbawo mutabani we Maj. Gen. Muhoozi ku ntebe ya Pulezidenti amuddire. “Pulezidenti Museveni atukankabudde emyaka 30 ate aleete ne mutabani we naye atukankabule emyaka 30 giwere 60 mu famire emu!

Ekyo kikafuuwe. Mbalayirira nti oyo tugenda kuttunka kubanga tuli mu myaka gye gimu ate mmanyi tansobola,” Lukwago bwe yagambye.

Yabadde ku kabaga ka Allan Ssewanyana (Makindye West) ke yakoledde abalonzi be okubasiima okumuyiira obululu. Yakakoledde mu kibangirizi ekiri ku kkooti e Makindye ku Lwokusatu. Ebigambo ku Maj. Gen. Muhoozi byasaanudde abawagizi ku kabaga ne bamukubira emizira nga bwe bawoggana nti, “omuloodi todda mabega...”

Yabadde ne Ssaabawandiisi wa DP, Mathias Nsubuga, Hussein Kyanjo, omubaka Kato Lubwama ne bameeya ba munisipaali okuli eya Kawempe Emmanuel Sserunjogi, Ronald Balimwezo ow’e Nakawa ne Nganda Mulyannyama ow’e Makindye.

Yagambye nti engeri Muhoozi gy’akuzibwamu eraga nti pulezidenti Museveni gw’ayagala amuddire mu bigere. Yalabudde omubaka Allan Ssewanyana nti ekifo ky’awangudde kikulu naye kirimu okusoomoozebwa kunene. “Gy’ogenze mu palamenti waliwo bingi aba NRM bye bagenda okukulimba ove ku mulamwa nga baagala otuukirize entegeka zaabwe. Ggwe oyise mu mikono gyange era mmanya nti abalonzi bakuwadde obululu nga bakwagala.

Togeza okulimbibwa n’ova ku bantu kye bakulondedde,” Lukwago bwe yagambye. Yategeezezza nti okwetaba ku kabaga ka Ssewanyana, Katonda ye yakimukoledde kubanga abadde yaggalirwa waka naye yabadde n’omusango mu kkooti e Makindye.

Omusango olwawedde yatudde ku mukolo teyavuddewo wadde baabadde bamugaanye. Omubaka Allan Ssewanyana yagambye nti tasobola kuva ku bigambo bya Lukwago wadde abalonzi be.”Mwenna mulindirire olunaku palamenti lw’eneetuula n’eyagala okuyisa ekiteeso ekigya ekkomo ku myaka gya pulezidenti,” bwe yagambye.

Abantu kye boogera l Munnamateeka Yusuf Nsibambi owa FDC yagambye nti Muhoozi okumuleeta avuganye ku bwapulezidenti tekirina mutawaana kubanga naye Munnayuganda kyokka kino kirina okugoberera emitendera emituufu.

l Wabula Haji Abdul Nadduli yawabudde Lukwago nti okuvuganya kwe mu byobufuzi aleme kukwesigamya ku Museveni. “Bw’aba ayagala okuvuganya akole bibye tawalampa balala.” l Moses Kasibante yagambye nti pulezidenti Museveni tateekeddwa kukozesa nsimbi za ggwanga kuteekateeka muntu wa famire ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”