TOP
  • Home
  • Agawano
  • Nja kuvuganya ku bwapulezidenti - Erias Lukwago

Nja kuvuganya ku bwapulezidenti - Erias Lukwago

By Hannington Nkalubo

Added 21st May 2016

LOODI Meeya Erias Lukwago alayidde nti tagenda kukkiriza ntegeka za Pulezidenti Museveni okusimbawo mutabani we Maj. Gen. Muhoozi ku ntebe ya Pulezidenti amuddire.

Kwago 703x422

Lukwago ng’ayogera ku kabaga ka Ssewanyana (ku ddyo). Wakati ye Hussein Kyanjo.

LOODI Meeya Erias Lukwago alayidde nti tagenda kukkiriza ntegeka za Pulezidenti Museveni okusimbawo mutabani we Maj. Gen. Muhoozi ku ntebe ya Pulezidenti amuddire.

“Pulezidenti Museveni atukankabudde emyaka 30 ate aleete ne mutabani we naye atukankabule emyaka 30 giwere 60 mu famire emu! Ekyo kikafuuwe. Mbalayirira nti oyo tugenda kuttunka kubanga tuli mu myaka gye gimu ate mmanyi tansobola,” Lukwago bwe yagambye.

Yabadde ku kabaga ka Allan Ssewanyana (Makindye West) ke yakoledde abalonzi be okubasiima okumuyiira obululu.

Yakakoledde mu kibangirizi ekiri ku kkooti e Makindye ku Lwokusatu.

Ebigambo ku Maj. Gen. Muhoozi byasaanudde abawagizi ku kabaga ne bamukubira emizira nga bwe bawoggana nti, “omuloodi todda mabega...” Yabadde ne Ssaabawandiisi wa DP, Mathias Nsubuga, Hussein Kyanjo, omubaka Kato Lubwama ne bameeya ba munisipaali okuli eya Kawempe Emmanuel Sserunjogi, Ronald Balimwezo ow’e Nakawa ne Nganda Mulyannyama ow’e Makindye.

Yagambye nti engeri Muhoozi gy’akuzibwamu eraga nti pulezidenti Museveni gw’ayagala amuddire mu bigere.

Yalabudde omubaka Allan Ssewanyana nti ekifo ky’awangudde kikulu naye kirimu okusoomoozebwa kunene.

“Gy’ogenze mu palamenti wali wo bingi aba NRM bye bagenda okukulimba ove ku mulamwa nga baagala otuukirize entegeka zaabwe. Ggwe oyise mu mikono gyange era mmanya nti abalonzi bakuwadde obululu nga bakwagala. Togeza okulimbibwa n’ova ku bantu kye bakulondedde,” Lukwago bwe yagambye.

Yategeezezza nti okwetaba ku kabaga ka Ssewanyana, Katonda ye yakimukoledde kubanga abadde yaggalirwa waka naye yabadde n’omusango mu kkooti e Makindye.

Omusango olwawedde yatudde ku mukolo teyavuddewo wadde baabadde bamugaanye.

Omubaka Allan Ssewanyana yagambye nti tasobola kuva ku bigambo bya Lukwago wadde abalonzi be.”Mwenna mulindirire olunaku palamenti lw’eneetuula n’eyagala okuyisa ekiteeso ekigya ekkomo ku myaka gya pulezidenti,” bwe yagambye.

Abantu kye boogera

l Munnamateeka Yusuf Nsibambi owa FDC yagambye nti Muhoozi okumuleeta avuganye ku bwapulezidenti tekirina mutawaana kubanga naye Munnayuganda kyokka kino kirina okugoberera emitendera emituufu.

l Wabula Haji Abdul Nadduli yawabudde Lukwago nti okuvuganya kwe mu byobufuzi aleme kukwesigamya ku Museveni. “Bw’aba ayagala okuvuganya akole bibye tawalampa balala.”

l Moses Kasibante yagambye nti pulezidenti Museveni tateekeddwa kukozesa nsimbi za ggwanga kuteekateeka muntu wa famire ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dppyu9fx4aaygnu 220x290

Museveni ayozazyozezza Cranes okuwangula...

PULEZIDENTI Museveni ayozaayozezza Cranes olw’okuwangulira Lesotho ku bugenyi ku ggoolo 2- 0 n’agamba nti alina...

Luba 220x290

Amataba gasse mwenda mu Arua n'e...

ABANTU musanvu bafiridde mugga Enyau ogusangibwa okumpi ne Arua mu West Nile oluvannyuma lw’okwanjaala ne gubatwala...

Wana 220x290

Kadaga agumizza Bannayuganda abali...

SIPIIKA Rebecca Kadaga asisinkanye Bannayuganda ababeera e Switzerland n’abasomooza okuweereza ezimu ku ssente...

Daki 220x290

Nnansi w'olubuto gwe baapacca oluyi...

DOKITA omusajja agambibwa okukuba omukazi omuzaalisa eyali olubuto oluyi ng’amulanga kulagajjalira omulwadde...

Mbu 220x290

Tubalinze mu Mbuutu y’Embuutikizi...

Abayimbi abagenda okuyimba mu kivvulu kya Bukedde FaMa Embuutu y’Embuutikizi kalakata bakoowodde abaddigize okujja...