TOP

‘Omusumba’ akwatiddwa ku gw’okufera abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2016

Poliisi y’e Kitebi ekutte omusumba agambibwa okufera abantu ssente ezisukka mu kawumbi nga yeefudde alabirira abaana n’okubaweerera.

Ba 703x422

Ssemugabi

Poliisi y’e Kitebi ekutte omusumba agambibwa okufera abantu ssente ezisukka mu kawumbi nga yeefudde alabirira abaana n’okubaweerera.

Omukwate abadde yeeyita Dr. Elton Alvin Kalungi naye ng’amannya ge amatuufu ye Rajab Ssemugabi wabula ono abadde akyusakyusa amannya ng’oluusi yeeyita Elijah, Hamza n’amalala.

Alina ekkanisa eyitibwa FAITH CENTER eyali esangibwa e Nsambya wabula nga nayo yaggalwawo mu kimpatiira abagoberezi baagenda okujja okusaba ng’essiddwaako kkufulu nga nayo aliko be yali afeze.

Okukwatibwa kiddiridde okufera abantu abasoba mu 1,000 nga ssente z’abaggyako ziri wakati wa 50,000/- okutuuka ku kakadde.

Abadde abalimbalimba nga bw’alabirira abakadde, okuweerera abaana okutuuka ku yunivasite n’okulabirira abantu abalina akawuka ka siriimu era abamu ng’abalimba nti agenda kubawa looni ezitaliiko magoba.

Bano yabadde abasuubizza okubaleetera abazungu abagenda okubayambako mu nsonga ez’enjawulo era nga yabadde abategeezezza nti bagenda kusisi nkana ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba kyokka abantu baakanze kulinda nga tebamulabako ate okukuba ku ssimu ye nga teriiko olwo kwe kutegeera nti yabadde abafeze.

Yabadde abaguzisizza ne yunifoomu buli omu 120,000/- nti ze bagenda okulabiramu Abazungu kyokka nga nazo teyazibawa.

Bw’ataalabiseeko ate nga n’essimu ye teriiko, beekubidde enduulu ku poliisi e Kitebi eyagenze n’emukukunula mu nnyumba gy’abadde apangisa e Kitebi n’aleetebwa ku poliisi n’abayambi be okuli Rachael Nambalirwa abadde atera okukwata ssente ze babadde bafera ku bantu.

Abantu abasoba mu 700 be baabadde baakeeyiwa ku poliisi eno nga buli omu alina lisiiti kwe yasasulira ssente ng’abamu balina za kakadde kalamba.

Ono abadde alina kkampuni ez’enjawulo mw’aferera abantu okuli LAFACO Global Team Network Uganda LTD, Village Loans SACCO Banks International LTD, UFFFA Global Network Team nga buli omu alina lisiiti ya njawulo.

Rachel Nakirya gwe yafeze 200,000/- agamba nti omusajja ono yakwatibwa mu 2007 n’asibwako ku poliisi e Kampalamukadde n’atwalibwa mu kkooti gye yasalirwa ekibonerezo kya kusibwa emyezi 14 e Luzira lwa kufera ndiga ze ze yali asumba ku kkanisa ye e Nsambya ate n’agiggalawo.

Semugabi yeewozezzaako nti teyafera bantu wabula naye Abazungu baamulimbye ne bakyusa olunaku lw’okujja nti era yali yasasula ekifo ku Pope Paul obukadde 10.

Ebyembi poliisi bwe yatuuseeyo okukakasa ne kizuulwa nti tasasulangayo. Akulira bambega ku poliisi e Kitebi, Francis Katega yategeezezza nti Ssemugabi yagguddwaako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju ku fayiro GEF 01/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...

Zikiza 220x290

Bakutte abalala 2 ku muliro ogwasse...

ABASERIKALE ba poliisi nga bakolaganira wamu n’abeekitongole kya ISO bakutte abantu abalala babiri ku by’omuliro...

Lundaenkookongaoyagalasosikubangaabalalabalundawebuse 220x290

Biibino ayagala okulunda enkoko...

Biibino ebintu 5 ebivaako abalunzi b'enkoko okufiirizibwa, bw'obiyiga n'obissa mu nkola ng'omaze okuyingiza ssente....

Kaweesi3 220x290

Museveni atumizza bambega ba Bungereza...

Pulezidenti Museveni atumizza bambega ba Bungereza aba Scotland Yard bazuule ekituufu.

Omuvubukaasimwefrancesngaasibaomuzindalokupikipikiogulangaamakufulugewebuse1 220x290

Nagaana obwavu okunsinza amaanyi...

Bwe nalaba okutuula awamu tekuyingiza kimala ne nsalawo okunoonya abaguzi nga ntembeeya bye ntunda.