TOP

Omuvubuka bamukutte n’emmundu enzibe

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2016

EKITONGOLE kya Flying Squad ekirwanyisa abazigu ab’omutawaana kikutte omusajja eyabbye emmundu ku muserikale w’amagye n’agiteresa muganzi we mu bitundu by’e Ntebe.

Twa 703x422

Onyango ng’alaga emmundu gye baakutte ne Savado ku ddyo.

EKITONGOLE kya Flying Squad ekirwanyisa abazigu ab’omutawaana kikutte omusajja eyabbye emmundu ku muserikale w’amagye n’agiteresa muganzi we mu bitundu by’e Ntebe.

Jude Savado 23, ow’e Ntebe ye yakwatiddwa olw’okubba emmundu ku Major wa UPDF akolera mu bitundu by’e Ntebe n’agikweka ewa muganzi we Furaha Araphat e Buziga.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, yagambye nti, Savado emmundu yagibba nga May 4 oluvannyuma lw’okubaza Major (Amannya poliisi yagasigazza) gwe yali abeera naye nga yeewunguddemu.

Kyokka Savado bwe yabadde mu ofi isi za Flying Squad gy’akuumirwa, yategeezezza nti, waliwo mukwano gwe eyali ava e Kenya ng’alina ssente nnyingi n’amusaba amufunire emmotoka n’obukuumi.

Yagasseeko nti yatuukirira mukwano gwe Major gw’amanyiiko erya Charles n’amuyitiramu era ne bakkiriziganya n’amuwa emmundu lwakuba yabadde tannagimuddiza ate n’amuloopa ku poliisi ne bamukwata.

Emmundu eno amasasi gonna omwenda gaabaddemu. Era baamugguddeko ogw’okubba emmundu ku fayiro nnamba SD 09/08/05/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’