TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ennyumba eyidde bali ku kabaga ka kulayira

Ennyumba eyidde bali ku kabaga ka kulayira

By Hussein Bukenya

Added 22nd May 2016

ESSANYU ly’omubaka we okulayira lyamuweddeko bwe yavudde ku kabaga gye yabadde ng’akuba ddansi n’asanga ng’ennyumba ye bagiteekedde omuliro ebintu byonna bisaanyeewo.

Sanyu 703x422

Omutuuze ng’alaga ebintu ebyayidde. Ku ddyo, Nabulya n’abaana be.

ESSANYU ly’omubaka we okulayira lyamuweddeko bwe yavudde ku kabaga gye yabadde ng’akuba ddansi n’asanga ng’ennyumba ye bagiteekedde omuliro ebintu byonna bisaanyeewo.

Yasoose kulowooza nti aloota kyokka yagenze okwetegereza ng’ebintu byonna bisirisse.

Famire ye yasobodde okusimattuka okuva bwe yabadde agenze nayo ku bikujjuko by’omubaka John Bosco Lubyayi Sseguya owa Mawokota South, eyabadde ava okulayira.

Geodfrey Mutebi omuwagizi wa Lubyayi lukulwe era omu ku baamunoonyeza akalulu yabadde ku mbuga y’eggombolola y’e Buwama ku bikujjuko ennyumba ne bagiteekera omuliro ebintu bye byonna ne biggyiramu omuli n’ebyuma ebikuba ebidongo bye yabadde yaakagula.

Ennyumba baagikumyeko omuliro ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro ekyakeseezza ku Lwokutaano ng’abantu bateebereza nti byandiba ebyobufuzi kuba Mutebi abadde talina mpalana na muntu yenna ku kyalo era ng’abadde talina luyombo lumanyiddwa.

Ruth Nabulya muka Mutebi, yategeezezza nti ab’ettima bano baakozesezza mafuta ga petulooli ge baasoose okumansa mu nnyumba ne bakoleeza omuliro ng’abaana be bataano ne bba baasigazza ngoye ze baabadde bambadde zokka.

Yagambye nti olw’okubulwa aw’okusula, kati basula mu kyangaala. “Abaayokezza ennyumba baatukoze bubi kuba okutandikira ku zeero si kyangu mu kiseera kino. wabula Katonda mulungi kuba tewali muntu yafiiridde mu nnyumba”, bwe yategeezezza.

Kansala w’eggombolola ye Buwama ku disitulikitiy’e Mpigi Joseph Ssempijja, yategeezezza nti ekikolwa kino kyakoleddwa bannabyabufuzi abatawagira Lubyayi n’ekigendererwa kyokulumya abawagizi be lukulwe.

Abatuuze baasabye poliisi okusitukiramu banoonye abeenyigidde mu kwokya ennyumba ya Mutebi n’okuzuula ekigendererwa kyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...