TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mutabani wange Paasita anjojobya lwa ttaka: Angobye mu maka gange!

Mutabani wange Paasita anjojobya lwa ttaka: Angobye mu maka gange!

By Lawrence Kitatta

Added 22nd May 2016

ABAAGERA nti enda muwogo y’ezaala abalungi n’ababi, baabiraba kuba omwana gwe nakeera enkya ne nzaala laba bw’angobye mu byange kati nsuzibwa busuzibwa,” Florence Najjuma, 75, ow’e Namulanda Zooni B anyumya ku ngeri mutabani we Paasita Sofa Sserunkuuma gy’amujojobya nga n’awaka yaddukawo.

Mutabani1 703x422

Najjuma ali ku mbiranye ne mutabani we Paasita Sserunkuuma ku kkono

ABAAGERA nti enda muwogo y’ezaala abalungi n’ababi, baabiraba kuba omwana gwe nakeera enkya ne nzaala laba bw’angobye mu byange kati nsuzibwa busuzibwa,” Florence Najjuma, 75, ow’e Namulanda Zooni B anyumya ku ngeri mutabani we Paasita Sofa Sserunkuuma gy’amujojobya nga n’awaka yaddukawo.

Najjuma aluva ku ntono: “Kubamu akafaananyi ng’omwana eyakusuzanga ng’otunula nga muwere ate ku myaka 45, gy’olowooza nti yandibadde akweyagaza ate bw’akukaabya amaziga n’atuuka n’okukwesimba mu maaso n’akutegeeza nga bw’oli omusiru atalina magezi!

Omwana Sofa Sserunkuuma ky’antuusizzaako olumu nneebuuza n’okwebuuza oba yava mu nda yange.

Ekisingira ddala okunnuma mutabani wange paasita omulamba kwe kuyimirira mu maaso gange n’antegeeza nga bwe nja okufa amasasi ssinga simwesonyiwa!

Ekinzisa nno kiki? Ttaka lye natuuyanira mu myaka gyange egy’ekivubuka mu 1950.

Sserunkuuma angobye mu maka ge nakeera ne nneezimbira e Namulanda Zooni B, mwana wa mukaaga ku baana omwenda be nazaala.

Mbadde nkolerera abaana bange ne mu biseera kitaabwe omugenzi Sserunkuuma Kalyesuubula we yabeererawo.

 serunkuuma ne mukyala we adijah Sserunkuuma ne mukyala we Hadijah.

 

Okugula e Namulanda nabeeranga Najjanankumbi ku Kategula nga we nkolera n’emirimu gyange egy’okutunda edduuka mwe naggya emitwalo 20 ezaagula ettaka eriweza yiika emu mu 1950.

ANZIMBIRA ENJU

Abaana bange nabasomesa nga ne Sserunkuuma mw’ali lwakuba ye bwe yatuuka mu S.4 n’agaana okuddamu okusoma n’adda mu magendo ekitansanyusa.

Mu magendo gye yabeeranga gye yava okwegatta ku Paasita Kayanja owa Lubaga Miracle Centre. Lumu mba ndi awaka, yajja n’antegeeza nga bw’agenda ebweru ne banne abalokole. Tubadde tukwatagana bulungi ebbanga lyonna ng’ali mu Amerika era bwe yakomawo omulundi ogwasooka yatuukira wange kuba e Namulanda nagendayo mu 2000.

Ku mulundi ogwo yajja n’Abamerika mikwano gye era kw’olwo yaηηamba nti, ‘Maama enju eno gy’olimu si nnungi njagala nkuzimbire enju ey’omulembe kuba bwe nnaawasa sijja kusobola kukuzimbira.

Olw’okuba we nalina waali wanene, omusingi gw’enju gwasimibwa ne batandika okuzimba olwo ye n’addayo era bwe yaggwa ne ngiyingira ne bazzukulu bange bataano.

Olw’okuba tuli ku kkubo, wano yalagira bazimbewo emizigo esatu egy’amaduuka ogumu n’aηηamba nkoleremu nfune ssente z’okukozesa awaka.

 nju ya aasita serunkuuma esangibwa e onge gyagamba nti bannyina baagibba seminti Enju ya Paasita Sserunkuuma esangibwa e Konge gy’agamba nti bannyina baagibba seminti.

 

MUTABANI AWASA

Mu May wa 2005, mutabani yakomawo n’awasa omukyala Vannessa Karungi ng’ono yagenda naye mu Amerika nga bagenze ku hanemuuni.

Nga wayise emyezi ebiri Sserunkuuma yankubira n’antegeeza nga bwe baawukanye ne Vannessa, saamubuuza biwanvu kuba mu kusooka omukyala oyo nali simusiimye olw’empisa n’ennyambala ye ebitansanyusa.

Mba ndi awo mu January wa 2006, Sserunkuuma yakomawo naye obutafaanana nga bwe gwali mu kusooka, ku luno yajja talina kantu konna. Saamubuuza by’aliko nga ndowooza nti addayo mangu wabula si bwe gwali.

Awaka yavangawo ndowooza ng’agenda kubuulira njiri. Kino kyaliwo okumala akabanga ηηenda okulaba ng’awasizza omukyala omulala Hadijah Hussein.

Omukyala yamuleeta mu nju yange naye ng’omukazi Omuganda nali sisobola kusula mu nju emu mutabani mw’awasirizza kwe kudda mu nju yange enkadde eri gye yaηηamba nti si nnungi.

Olunaku lwakya lumu n’angoba mu dduuka lye nali nkoleramu n’aligabira mukazi we omupya. Bwe nayogerako, mutabani n’aηηamba nti ennyumba yagizimbira baana be kyokka nga bwe yali azimba yantegeeza nga bw’anzimbira okufunamu ssente nneme kubonaabona.

Okuva lwe baaleeta omukyala, embeera yakyuka, mukaamwana ng’ayombera buli kimu olaba yatuuka n’okuηηamba maaso ku maaso nti, okusanga nnyazaala wo osanga amalaalo!

Embeera yantabukira ne nsigala mu kattu nga mpisibwa bubi ng’omukyala anfudde nga muggya we!

Nali nsazeewo okugumira embeera ebbanga lino lyonna naye jjuuzi bwe yatandise okuntiisatiisa ne ndabira ddala nga bibizze kye navudde nzirukayo.

Mu bbanga eryo nga sinnavaayo nalwala, wabula Sserunkuuma bwe yajja okundaba okwandibadde ng’okunsaasira obunnuma yaηηamba nti, “Ye lwaki tofa n’otuviira, tolina na magezi.’ Nasiriikirira ne mmutunuulira ne mpulira nga n’amagezi gampeddeko.

Okuva kw’olwo saddamu kufuna mirembe okutuusa lwe namuviiridde. Eyalina ewange kati nsuzibwa busuzibwa!

 aasita serunkuma Paasita Sserunkuma

 

NSALAWO OKUTUNDA ETTAKA

Natuuse ekiseera ne nneekyawa nga ndaba omwana andeebuukanya olw’ettaka eryange lye nagula mu ntuuyo zange kwe kulagira abasenze omukaaga be nalinako okwegula.

Ensonga nazikwasizza balooya bange aba Kajeke & Co. Advocates era ne bawandiikira abantu bonna abali ku ttaka lyange amabaluwa nga mbasaba abasobola okwegula beegule ate abatasobola mbasasule baveeko.

Balooya baagenda ne muzzukulu wange Paul Kamya bwe batuuka, Sserunkuuma yabatabukira n’abagamba nti, ‘Maama bw’aba talina kyakulya lwaki tajja n’ankokona ekikomera ne mmuwa ekyokulya kuba nze nkirina’.

Looya Kenneth Kajeke yatuyita mu ofi isi ze wabula eno Sserunkuuma kaabulako katono alwane n’abamu ku baali mu lukiiko okuli bannyina ne bazzukulu bange.

Nagenze ku poliisi ne mmugulako ogw’okuntiisatiisa ku fayiro nnamba SD Ref. 26/20/05/2016.

PAASITA SSERUNKUUMA AYOGEDDE

“Maama by’ayogera si bituufu lwakuba ebintu byonna birimu ffi tina okuva mu bannyinaze okuli Sarah ne Safi ina.

Bano bandaba bubi olw’okuba ngaggawadde ne mbayitako, bwavu bwe bubabonyaabonya. Nawulidde nti maama ettaka lino alitunda.

Bw’aba atunda nze ndi mwetegefu okwegula ye aveewo kuba nnina ssente. Ekisooka nninako ekizimbe kyange ku ttaka eryo nga nakizimbira baana bange.

Nali namuwaako omuzigo akoleremu ne mmuteeramu n’edduuka kyokka ne balikuba ekigwo ne bazzukulu be nga ndi mu Amerika.

Bwe nadda nasalawo tulipangise ekitaamusanyusa kwe kulimuggyako. Maama alina okukkakkana ayogere nange era ndi mwetegefu okumuddiza omuzigo gwe namuggyako naye bw’anaasigala ng’alina amampaati bawala be ge bamutaddemu n’ennyumba ennene bwe naagivaamu sijja kugimuddiza, nja kuleka ngisibye kuba nze nazizimba era zange.

 maka aasita serunkuuma gabeeramu Amaka Paasita Sserunkuuma g’abeeramu.

 

Nali mu Amerika nga mpeereza ssente banzimbire amaka gange agali e Konge wabula kati emyaka 10 gaalema okuggwa. Banziba ensawo za seminti 250, sirina kye nakolawo. Byonna maama abimanyi kuba be baayonoonanga ssente zange.

Okuva lwe nalokoka Mukama n’ansitula, abantu abasinga naddala baganda bange tebanjagala era be bataddemu maama ebigambo nange alyoke ankyawe.

Okuva lwe nava mu Amerika kati emyaka 10 mbadde mbeera ne maama nga nze mmulabirira.

Bannyinaze tewali yali avuddeyo kumulabirira wabula kati bansasulamu kunsiiga nziro n’okukinjwetekako nti njagala kutta nnyaabwe kuba baagala ettaka ly’e Namulanda.

Lwaki mbadde simutta emyaka gyonna gye mbadde naye? Nsobola kumutta kati? Ebyo byonna Safi ina Lutaaya y’abireeta naye nze ndi mugagga yaalibadde anneesoonyiwa.

Maama mmuwa amagezi ayite jjajja ne bakkojja e Kawaala tutuule batutabaganye kuba ensonga zonna nazibabuuliramu”.

MAAMA AYANUKUDDE MUTABANI WE

Najjuma agamba: Sserunkuuma bw’agamba nti yandabirira okuva lwe yava mu Amerika, alabika yeerabidde, baamutikka ku nnyonyi okumuzza wano nga talina kantu konna.

Yatuukira wange nga nze mmuwa ekyokulya. Bw’agamba nti yadda alina ssente, lwaki ebbanga lyonna abadde tamaliriza maka ge ag’e Konge? Nsaba akimanye nti nnina emizigo gy’abapangisa e Najjanankumbi we nfuna ezisobola okundabirira. Sirina kye njagala kuva gy’ali okuggyako okuva ku ttaka lyange.

 ajjuma ne muzzukulu we amya Najjuma ne muzzukulu we Kamya.

 

ABOOLUGANDA BOOGEDDE

Sarah Muwonge Naggayi omu ku baana ba Najjuma agamba: Paasita muto wange era namulera.

Bwe yajja okuva mu Amerika yatugamba nti agenda kuzimbira maama kuba enju mw’asula temusaana.

Naye okuva lwe yawasa omukyala gw’alina, yatandika okuliisa maama akakanja. Yasooka kumugoba mu nju ennene n’omuzigo omukazi yagumugobamu kuba baasooka kumulagira aggyemu edduuka.

Maama bwe yayogerako, Sserunkuuma n’amugamba nti ennyumba ezo yazizimbira baana be. Safi ina Lutaaya agamba: Tuli mu kutya kuba ebigambo paasita by’ayogera bikankana.

Waliwo ekitundu maama we yali alimira okuliraana ewuwe ng’akozesa bapakasi, omukyala Hadija muka paasita yabagaana okuddamu okulima n’abategeeza ng’ettaka eryo bwe baaligula terikyali mu mikono gya nnyaffe buli omu ne yeewuunya!

Yabuzaabuza maama nti amuzimbira maduuka okuliraana ekkubo kyokka eddakiika eno amaze okuzimba ate agimuggyako. Twagala bwenkanya agende ewuwe gye yagula aviire nnyaffe afune emirembe.

Badru Ssentongo: Mukulu wange oyo buli olukya ayongera kutwewuunyisa kuba engeri gy’ayogera alinga agamba nti ettaka eryo yaligula n’ekyapa akirina. Twasazeewo nnyaffe tumuggye ewuwe kuba abadde atugamba nti ali mu kutya”.

 maduuka maama mwagamba okumugoba Amaduuka maama mw’agamba okumugoba

 

OMUSUMBA NAMUTEBI BY’AMWOGERAKO

Paasita Imelda Namutebi:

Paasita Sofa mmumanyi nga bapaasita abalala kuba mubuulizi wa njiri nga tusisinkana mu kuluseedi. Nakoma okumulaba nga tannagenda mu Amerika.

Ekirala nawulira nti alina kkanisa e Juba gye yateekawo. Naye bw’aba alina obutakkaanya ne nnyina batuule balabe engeri gye bamalawo obutategeeragana obuliwo kuba oli ye maama ate maama talina kumuyisaamu maaso na kumujolonga.

BALIRAANWA KYE BAGAMBA

Baliikwa Sulayiti ssentebe wa Namulanda LC.1 Zooni B agamba: Ku mwana ne maama tewali yali aleese kwemulugunya kwonna mu ofi isi yaffe”.

Wabula abamu ku baliraanwa abataayagadde kwatuukirizibwa mannya, baategeezezza nti embeera ebadde egenda mu maaso wakati w’omukadde ne mutabani we Sserunkuuma nabo babadde tebakyagitegeera kuba baasooka kuyombera dduuka nga tebakyayisiηηanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi