TOP

Omuliro gusaanyizzaawo amaduuka e Buwama

By Paddy Bukenya

Added 24th May 2016

Omuliro gusaanyizzaawo amaduuka e Buwama

Bu1 703x422

Abantu nga bekenneenya emmaali eyasiriiridde munnabbambula w'omuliro

OMULIRO ogutategeerekese gyeguvudde gukutte ekizimbe ky'amaduuka e Buwama omuntu omu n'asimattuka okufa ssaako n'ebintu ebisussa mu bukadde 150 ne bitokomoka.

Ekizimbe ekiyidde kya Mukyala Amooti okubadde amaduuka okuli erya  Edward Mwanje eribaddemu ebintu ebibalirirwamu obukadde obusoba 100 n'eddala erya mwami Lwanga abadde atunda amasimu nga gano gona tewali kintu nakimu kitaasiddwa.

Kigambibwa nti omuliro guno gukute ku ssawa 11 nga bukya gutandikidde mu dduuka erisuubuza erya Edward olwo ne gulyoka gubuna wonna wabula omwami abadde asulamu amanyiddwa nga Kabenge olwalabye ng'omuliro gutabuse n'akuba enduulu era abantu baagenze okumudduukirira baamusanze mu kkeesi za beer ng'agudde eyo azirise.

Poliisi y'e Buwama ezikiriza omuliro etuuse mu kifo kino okugezaako okutangira omuliro obutasaasaana kukwata bizimbe birala wewaaw2o nga tesobodde kutaasa kintu kyonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta