TOP

Eyasimattuka okufiira mu kizimbe ekyatta abantu e Makerere alaajanye

By Scovia Babirye

Added 24th May 2016

OMU ku bakaawonawo ku kizimbe Nkyasenke Towers ekyali kiriraanye Ham Towers e Makerere ekyagwa ng’ennaku z’omwezi 11/04/2016 alaajanidde abazirakisa bamufunire ku buyambi.

Saba 703x422

Opio ng'alaga ebifaananyi bye baamukuba emulago ebiraga engalo nga bwe zaamenyeka. Ku ddyo ng'atambulira ku miggo. EBIFAANANYI BYA SCOVIA BABIRYE

OMU ku bakaawonawo ku kizimbe Nkyasenke Towers ekyali kiriraanye Ham Towers e Makerere ekyagwa ng’ennaku z’omwezi 11/04/2016 alaajanidde abazirakisa bamufunire ku buyambi.

Frank Opio,26, nga yali yava mu disitulikiti ya Apachi mu ggombolola ya Apachi y’asaba abazirakisa bamuyambe afune ssente z’obujjanjabi kuba takyasobola kukola ate nga nnannyini kizimbe Moses Nkyasenke tamanyi gy'ayinza kumusanga ate nga buli lw'agenda ku kizimbe ekyagwa tamusangayo.

Opio agamba nti olunaku ekizimbe lwe kyagwa naye lwe yali yazze nga bamuleese asibe 'tayiro' ku mwaliiro ogusooka wansi era ekizimbe gye kyamusanga okukkakkana ng’amenyese engalo n’emikono gyombi wamu n’okugulu n’afuna n'obuvune mu lubuto.

Agamba nti ekizimbe bwe kyagwa yawunga naye yagenda okudda engulu enkeera ng’ali mu ddwaliro e Mulago naye bwe yalabikira ku Bukedde TV ng’ayogera ekyavaako ekizimbe okugwa, muzzukulu wa nnanyini kizimbe amanyiddwa nga Pepe eyali akola ku by'ensimbi ku kizimbe n'ajja e Mulago n’amulimba nti bamusiibudde era yali amufulumya abasirikale ku mulyango ne bamusanga n’abagamba nti amutwala mu ddwaliro ddala ne bamugamba amujjanjabire e Mulago n’amuwaayo emitwalo 20 okuva olwo taddangamu kumukubako kimunye.

Opio agamba nti tlina ssente ezigula ddagala lye baamuwandiikira e  Mulago wadde n’ezimutambuza okuddayo kuba baamusalira ennaku z’okuddayo nga kati asula mu kkanisa ya Paasita Tom Mugerwa e Mutundwe era omuzirakisa asiima y'amuwa ku mmere .

Asaba abazirakisa bamuyambe bamufunire ku ssente z’eddagala wamu n’ezentambula kuba ayagala olumala okuwona addeyo ewaabwe kuba eno tewali muntu we yenna era asaba n’omugagga amuyambe ajje bateese.

Ayina obuyambi abuyise ku 0700412520

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...