TOP

Poliisi ekutte ababbira mu ssabo- Babiri bafu

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2016

Poliisi ekutte ababbira mu ssabo- Babiri bafu

Sa2 703x422

George Kawooya (ku kkono),owa bodaboda ne Dickson Mugalu gwe baakutte n’emmundu e Salaama.

KAMADA Ssentaayi gwe baasoose okukwata n’alonkoma banne. Bamunyize ebitoliro n’ayogera essabo mwe batereka emmundu era ensiitaano eyaddiridde yabadde wa musawo wa kinnansi we baakubidde ababbi babiri amasasi agabattiddewo!

Ssentaayi aludde ng’anoonyezebwa ku misango gy’okubbisa emmundu era bamulumiriza nti ng’ali ne banne okuli George Kawooya ne Dickson Mugalu baateega bbaasi ku luguudo lw’e Mityana omwaka oguwedde ne bateeka abasaabaze ku mudumu gw’emmundu ne babanyagulula ne babambula n’engoye!

Ssentaayi mu kukwatibwa baamuzingizza ali mu mmotoka ne Mugalu era bombi ne babakwatira ku luguudo lw’e Salaama mu Makindye – Kampala okuliraana amaka ga Ssentaayi.

 jingo ku kkono ne rias ma omusuubuzi wamatooke e ibuye Jjingo (ku kkono) ne Erias Uma omusuubuzi w’amatooke e Kibuye.

 BABAKUTTE N’EMMUNDU GYE BAANYAGA KU MUKUUMI E LUBAGA

Omu ku baserikale eyabadde mu kikwekweto (ataayagadde kwatuukirizibwa) yategeezezza Bukedde nti, mu mmotoka mwe baakwatidde Ssentaayi ne Mugalu mwe baasanze n’emmundu – zino ezaakazibwako “Ssasirimu”.

Emmotoka eno ya Ssentaayi era bwe baamukunyizza ku ngeri gye yafunamu emmundu eyo, yannyonnyodde nti baaliimisa omukuumi w’essundiro ly’amafuta erya Super- Oil e Lubaga eyateranga okukeeseza ku ssundiro eryo ng’aliwo omu n’emmundu ye.

Ekiro ekimu mu mwaka oguwedde baamuzinduukiriza ng’asumagira ne bamugwa mu bulago ne bamunyoola ensingo ne bamuleka ng’ataawa ne babulawo n’emmundu eyo.

Nti okwo baagattako emmundu entono bbiri ez’ekika kya Piisito ng’emu eriko n’ennamba za poliisi UGPOL36316319-20388 n’endala gye baalamba n’ennukuta ZN-85 era zino ebbiri ze babadde bakuumira mu ssabo lya Peter Jjingo e Kikajjo – Namasuba.

Ssentaayi ne Mugalu baasoose kugaana kwogera kifo we batereka Piisito ebbiri kyokka poliisi ng’eri wamu n’abekitongole kya Flying Squad e Katwe ne babalemerako okukkakkana nga boogedde ew’omusamize gye baazikukulira.

Baayongeddeko nti bwe bamala okunyaga, basibira ku ssabo lya Jjingo n’abayambako okukweka omunyago, okusiba emisango n’okubanaaza eddagala eriwugula ababalondoola. Mu kiro ekyakeesezza Ssande, Ssentaayi ne Mugalu baakulembedde abaserikale okubatwala ku ssabo era baasanzeewo abamu ku bali mu kibinja ky’ababbi nga bali mmanju w’essabo bafuuwa mmindi.

Baabataayizza ne babalagira okuwanika emikono kyokka omu ku bbo eyategeerekese nga Isma Kavuma n’agezaako okulumba abaserikale era awo we baamukubidde essasi. Mu kanyoolagano ako ne Ssentaayi nti yagezezzaako okukubagana n’abaserikale era naye ne bamukuba amasasi agaamusse.

 NNANNYINI SSABO NAYE BAMUKUTTE

Kavuma ne Ssentaayi nga bamaze okukubwa amasasi, abalala mukaaga okwabadde ne Jjingo nnannyini ssabo baabatadde ku mpingu, olwo ne batandika okwaza essabo mwe baasanze piisito bbiri okuli n’eyaggyibwa ku poliisi mu ngeri ababbi gye batannaba kunnyonnyola.

Abaakwatiddwa kuliko: •Dennis Kaweesi 30, avuga bodaboda ku Bbakuli naye nga mutuuze e Nansana

•Badru Mayanja 31, omutuuze w’e Makindye Salaama kyokka nga yeefuula ayokya ebyuma era poliisi egamba nti baakamukwata emirundi ebiri mu bubbi bw’okukozesa emmundu kyokka nga kkooti zimuyimbula.

•George Kawooya 30, avuga bodaboda ku siteegi y’e Nakulabye naye nga mutuuze w’e Kawempe

•Elias Uma 54, ow’e Kabowa era poliisi egamba nti ne mukaziwe baamuttira mu bubbi e Butambala

•Peter Jjingo 37, omusawo w’ekinnansi e Namasuba Kikajjo gye baakwatidde emmundu •Dickson Mugalu ow’e Makindye era ono aludde ng’anoonyezebwa ku misango gy’obubbi. Jjingo yagambye nti akola gwa butembeeyi kw’agatta ogw’okusawula era abo abadde abatwala “ng’abazzukulu” abajja mu ssabo lye abasawule kyokka oluvannyuma ne bamuteresa ekitereke wabula teyamanya birimu era yalabidde awo ng’abaserikale bamugamba nti y’abadde atereka emmundu mu muzigo gw’abadde akozesa ng’essabo!

 asitoola ezaasangiddwa nababbi Basitoola ezaasangiddwa n’ababbi.

Yagambye nti talina kakwate konna ku bubbi era ‘abazzukulu’ abadde abayamba mu nsonga emu yaakubawa mikisa, mpozzi n’okubambulula.

Aduumira poliisi y’e Katwe, Samuel Mission yagambye nti abaakwatiddwa babataddeko omusango gw’okubbisa eryanyi (Aggravated robbery) oguli ku fayiro CRB 406/2016 era bakuumirwa Katwe ng’okukuhhaanya obujulizi bwe kukolebwa.

Ennyumba ya Mugalu ku lw’e Salaama baagyazizza era ne bakwata ne bakazibe babiri kyokka oluvannyuma ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi. Mugalu yakwatibwako ne mu misango gy’okweyita ky’atali era yasangibwa n’ebyambalo by’ekijaasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda