TOP

Hussein Kyanjo ayogedde ekyamugoba mu Palamenti ne kyazzaako okukola

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2016

Hussein Kyanjo ayogedde ekyamugaana okudda mu Palamenti ne kyazzaako okukola

Ky1 703x422

HUSSEIN Kyanjo abadde omubaka wa Makindye West teyazzeemu kwesimbawo ku kisanja kyakusatu mu Palamenti gy’abadde okuva mu 2006. Yayogedde ne PROSSIE KALULE ku bbanga ly’amaze mu Palamenti.

Obulwadde bukuli butya?

ηηenda ntereera era enjawulo ngirabira ddala kuba nsobola okwogera wadde ng’oluusi nnyambibwako ebyuma.

Bintu ki bye weenyumiriza bye wakolera abantu ba Makindye West emyaka 10 gy’omaze mu palamenti?

Nayitanga mu bantu bange buli luvannyuma lwa myezi mukaaga ne mmanya ensonga
ezibanyiga ne nzanjula mu Palamenti.

Kino nga nkikola sisosodde mu mawanga oba eddiini. Nakola ne ku nsonga z’abakadde abaali
batutte ebbanga nga balafuubana okufuna ensimbi zaabwe ez’akasiimo era nali musanyufu
nga batandise okuzifuna.

Abali ku ludda oluvuganya Gavumenti mumaze ebbanga nga mulumba Pulezidenti Museveni nti asembeza bantu be mu bifo eby’obuvunaanyizibwa kyokka naawe ekifo wali okyagaliza mutabani wo Farouk Kyanjo. Olina njawulo ki ne Museveni?

Enjawulo weeri kubanga Pulezidenti Museveni afuze emyaka 30, nze mu Palamenti mmazeeyo emyaka 10 ate ne mutabani wange yali waakuyita mu kalulu so si bali abantu be abaweebwa obuweebwa ebifo.

Okuleeta mutabani wo Farouk Kyanjo akuddire mu bigere kyokka ne batamuwa kalulu, olowooza tekyakulaze nti ddala abantu baali bakukooye?

Siyinza kukitwala bubi kubanga ebbanga lyonna tulwanirira kukola, abantu kye babeera
baagala kye kiva mu kusalawo kwabwe. Bwe baalangirira nga bamaze okubala obululu ne
mmanya nti mutabani wange bamuwangudde, nakubira ssimu omubaka wange omuggya, Allan Ssewanyana ne mmuyozaayoza kubanga naye mmutwala nga mwana wange.

Ekibiina kya JEEMA kigenda kiseerera, olowooza tebaakisangulirewo ddala naddala mu
kiseera kino nga temulina mubaka n’omu mu Palamenti?

Ekibiina tugenda kukisitula n’okuteekamu amaanyi nga tutandikira ku bakansala abaalondebwa. Bwe batyo bwe bazimba ekibiina, otandikira wansi ku mirandira.

Nsonga ki ezaakuwaliriza okuva ku byobufuzi n’otuuka n’obutaddamu kwesimbawo?

Nzikiririza mu nkola ey’okufuga ebbanga eggere ate ne mpa ne bannange nabo bakwatemu
ku nkasi. Eno y’ensonga lwaki nalangirira nti ηηenda kubeera ku bubaka ebisanja bibiri byokka
olwo ekintu nkite. Ng’ovudde ne ku ekyo nayagala n’enfuga ya Nelson Mandela mu South Afrika
kubanga yalangirira ebbanga lye yali ayagala okubeera ku bukulembeze era n’akituukiriza.
Okusalawo obutadda mu Palamenti nakukola nga sinnalwala bulwadde buno obumaze akaseera nga buntawaanya.

Yongera okutunnyonnyola ku mbeera gy’olimu?

Ndi bulungiko okusinga bwe gwali emabegako era enjawulo ngirabira ddala wadde ntonotono
kuba olulimi luno lwo lwali lwafi ira ddala.

Naye ddala baakuwa butwa oba kintu kirala?

Kituufu bwali butwa obwampeebwa emyaka ena egiyise. 

Oyinza kukola ki ng’otegedde omuntu oyo gw’ogamba nti ye yakuwa obutwa.
Siraba kye nnyinza kumukola kuba ne we ntandikira okunoonyereza wambula kubanga ebiseera
ebyo byali bya kwogera ku mafuta era nasisinkananga abantu bangi.

Ekyavaako obuzibu kya kulemeranga ku nsonga , kati okuggyako ekyo okukirekera Allah
naye nze ng’omuntu tewali kye nnyinza kukola.

Lwaki kikutwalidde ebbanga ddene okutereera?

Obutwa bwali bwa maanyi era bwankosa nnyo omubiri, y’ensonga lwaki banzijanjabidde
emyaka ena n’omusobyo. Banzijanjabira e Buyindi n’e Bungereza naye Buyindi gye bannongooseza.

Muli olaba nga ddala akabondo k’ababaka abava mu Buganda kalimu omulamwa oba kumala budde?

Akabondo ako kalimu omulamwa, obuzibu buli ku ffe ng’Abaganda nti twekwatakwata
ate buno bulwadde bwa maanyi.

Okulemera ku nsonga z’amafuta kye kyampeesa obutwa nfe - Hussein Kyanjo Okugeza nze
we nabeerera ku kakiiko k’ebyokwerinda nalwana okulaba ng’Abanyankole tebakeefuga era
nakyogeranga kaati nti temulina kusinga muwendo gwa babaka abakatuulamu.
Kyokka kino kyakwasanga ababaka Abaganda ensonyi okukyogerako.

Ensonga y’Abasiraamu okwogeranga bwe balekebwa ebbali mu kuweebwa ebifo ebinene mu Gavumenti okyogerako ki?

Kituufu Abasiraamu balekeddwa wabweru nga mu kiseera kino okuva ku Pulezidenti,
Omusiraamu atandikirwako ali ku ddaala lya mumyuka wa Katikkiro (Gen. Moses Ali), kale tulekeddwa nnyo emabega kyokka nga tulina abantu be tukiikirira. Tetugenda kusirika okutuusa lwe balitutunulamu.

 Tolowooza nti si kya bwenkanya, ababaka ba Palamenti okusaba baleme kuggyibwako
musolo ku musaala gwabwe ng’abanaku bababinika omusolo mungi so nga tebafuna ssente nnyingi nga ez’ababaka?

Tekibeera kirungi kuggya musolo ku nsimbi za mubaka kubanga ababaka be bayisa ensimbi abalala bonna mu ggwanga kati siraba lwaki omugabi ate bamuseera! Ate bw’okitunulamu nga bwe banaggyibwako omusolo kijja kukosa empeereza yaabwe. 

Osuubira kukola ki mu kiseera kino nga Palamenti ogivuddemu?

ηηenda kudda mu mirimu gyange gye nalimu nga sinnagenda mu Palamenti. Nali
mukubi wa biwandiiko era ηηenda kudda ku Nasser Road gye nakoleranga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unit8 220x290

Enjawulo etabudde Aganaga ne Chris...

NGA tegunnawera mwaka ng’abayimbi Aganaga ne Chris Johnz batadde emikono ku ndagaano ey’okukolera awamu, baawukanye...

Gd1 220x290

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako...

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Bonnyjpgweb 220x290

Abadde ayanula engoye z'abatuuze...

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga...

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...