TOP

Saagala Bwapulezidenti - Maj. Gen. Muhoozi

By Joseph Mutebi

Added 25th May 2016

OMUDUUMIZI w’eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC), Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo n’ayogera ku bigambo ebizze biyiting'ana ku ngeri gy’azze akuzibwamu mu magye nti bakikola kuddira kitaawe Pulezidenti Museveni mu bigere ku Bwapulezidenti.

Gwanya 703x422

Omuduumizi w’eggye lya UPDF, Gen. Katumba Wamala (ku kkono) ng’ayambaza Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba ennyota. Ku ddyo ye Sharot Nankunda, muka Muhoozi.

OMUDUUMIZI w’eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC), Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo n’ayogera ku bigambo ebizze biyiting'ana ku ngeri gy’azze akuzibwamu mu magye nti bakikola kuddira kitaawe Pulezidenti Museveni mu bigere ku Bwapulezidenti.

Muhoozi abadde ne mukyalawe, Sharot Nankunda Muhoozi ku mukolo gw’okumwambaza amayinja g’obwa Maj. Genero ku kitebe ky’amagye e Mbuya, ategeezezza nti okukuzibwa kwe mu magye okuva mu 2000, lwe yafuna eddaala lya Sec. Lieutenant, kizze kikolebwa kuyita mu mitendera gy’amagye.

“Amadaala ge nfuna si nze ngeewa, gayita mu kakiiko akagaba ‘ranka’ abantu bonna mu magye mwe bayita okukuzibwa.” Muhoozi bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti omuntu ayagala okwesimbawo ku kifo ky’obukulembeze kyonna ky’alina okukola nga naye mw’ali wabula n’agamba nti talina kigendererwa kya kwesimbawo ku Bwapulezidenti nga bwe bizze byogerwa.

Ono eyabadde anekaanekanye mu kyambalo ky’amagye eky’emikolo, yaggyiddwaako ennyota za Brigadier, omuduumizi w’eggye lya UPDF Gen. Edward Katumba Wamala eyabadde omugenyi omukulu ng’ayambibwako mukyalawe Sharot ne bamwambaza ennyota z’obwa Maj. Genero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA