TOP

Bannaddiini bavuddeyo ku bya Illuminati

By Musasi wa Bukedde

Added 28th May 2016

ABAKULEMBEZE b’eddiini bavumiridde ebikolwa by’okusaddaaka omwana, muganda we gwe yatemyeeko omutwe ng’agamba nti aba Illuminati be baabadde bagumutumye afune obugagga.

Pale1 703x422

ABAKULEMBEZE b’eddiini bavumiridde ebikolwa by’okusaddaaka omwana, muganda we gwe yatemyeeko omutwe ng’agamba nti aba Illuminati be baabadde bagumutumye afune obugagga.

Bino bye baategeezezza KIZITO MUSOKE ku kikolwa kino.

PASTOR MOSES SOLOMON MALE: Abantu bamanye nti tewali maanyi ga illuminati gasobola kugaggawaza muntu.

Aboogerwako ng’abagalina baamala kufuuka ba ttuttumu ne balyoka beegatta ku kabinja k’abantu bano. Agamba nti ebikolwa bino byava mu Bazungu n’ekigendererwa ky’okwonoona empisa z’obuntu.

Bayita mu bikolwa ng’okusaddaaka n’abasajja okuganza basajja bannaabwe n’abakazi okukola batyo okuggyamu omuntu okutya n’ensonyi. Agamba nti obugagga buva mu kukola nnyo ng’olina amazima, obugumiikiriza, obuteebalira, okwerumya, n’okutereka. Be bayita ba illuminati mu Uganda, balina talanta mwe baggya ssente ezibagaggawaza.

OMULABIRIZI eyawummula ERIA PAUL LUZINDA e Mukono agamba nti amaze ebbanga ng’alwanyisa ebikolwa by’obusamize n’okweraguza. ‘’Eno y’ensonga eyantwala ku Ssezibwa ne ninnya enjazi, okumalawo obusamize’’.

Agamba nti obuzibu bwe tufunye abavubuka baagadde nnyo okufuna ssente ez’amangu, kuba bwe bagasseeko n’ebbula ly’emirimu ne gujabagira. Twewale eby’obwereere n’okukoppa buli kiva mu Bazungu.

MSGR WYNAND KATENDE nga ye mwogezi w’essaza ekkulu erya Kampala agamba nti ebyawandiikibwa bitulaga nti omululu gwa ssente n’obugagga y’ensibuko y’ebibi. Obuzibu buno bwava dda, ng’omuntu atuuka n’okuwaayo omwana we bamusaddaake asobole okufuna obugagga.

Etteeka eryokutaano ligamba nti tottanga nga tosaana kusaanyaawo bulamu bwa munne. Omululu gw’ebintu kye kituusa n’abantu okutabaala mu ddiini ez’enjawulo nga banoonya byanfuna. Abavubuka kye kiseera okuva mu zzaala, tukole nga bwe tusaba Katonda atukwatizeeko.

SHEIKH YAHYA RAMATHAN MWANJE, Amir w’Abatabbuliiki: Obusiraamu bugulumiza nnyo omusaayi gw’omuntu era tebukkiriza kusaanyaawo bulamu bwa muntu. Eno ye nsonga lwaki bwe tubeera tusaddaaka, tulina kuwaayo bisolo ne binyonyi byokka.

POLIISI EWADDE AMAGEZI

Polly Namaye, amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti ebikolwa by’okukkiriza mu illuminati mwebiri mu ggwanga ng’omuzadde asaanye okulondoola entambula y’omwana n’obutamutuma yekka n’abakozi okubakuutira obutava waka n’okuleka abaana okumala gatambula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Ramos 220x290

Ramos amenye likodi ya kaadi za...

Ramos amenyewo Paul Scholes mu bazannyi abakyasinze okufuna kaadi za kyenvy mu Champions League.

Daddykirumirabyjmutebi3 220x290

Ssente abazirakisa ze bansondedde...

KITAAWE w’omugenzi Muhammed Kirumira 'Mwoyo Gwa Ggwanga' agulidde bazzukulu be 24, mutabani we be yazaala mu bakyala...

Baco 220x290

KIU eri ku ssaala mu liigi ya basketball...

KIU yaakawangula omupiira gumu kw'esatu gye baakazannya. Balina kuzannya etaano awangula emingi y'agenda ku fayinolo....

Bobiwine1 220x290

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi...

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi ba Bobi Wine e Wampeewo, Luteete - Magere