TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abakristu ebizibu bireme kubayuuza - Ssaabasumba Lwanga

Abakristu ebizibu bireme kubayuuza - Ssaabasumba Lwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 29th May 2016

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akubirizza Abakristu okukuuma okukkiriza bagumire buli mbeera ya bizibu nga tebayuuga olwo Keleziya wa Katonda asobole okunywera.

Lwanga 703x422

Bp. Lwanga mu mmisa e Munyonyo.

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akubirizza Abakristu okukuuma okukkiriza bagumire buli mbeera ya bizibu nga tebayuuga olwo Keleziya wa Katonda asobole okunywera.

Bino yabyogedde ku Lwakuna ku kiggwa ky’omujulizi, Andrea Kaggwa e Munyonyo ng’ono ye muwolereza w’abasomesa b’eddiini, abasomesa b’eddiini wonna mu ggwanga bwe baabadde bajaguza n’okujjukira olunaku lwabwe olukuzibwa buli lwa June 26.

Ku mukolo guno Abakristu baajaguzza nga bwe giweze emyaka 50 bukya essaza ekkulu erya Kampala litondebwawo mu 1966 nga lino lye lizadde amasaza amalala.

Bp. Lwanga yatenderezza omulimu abasomesa b’eddiini gwe bakola okusomesa amasaakalamentu eri emiti emito.

Abasabye okukuuma ennono yaabwe ng’Omujulizi Andrea Kaggwa bwe yakola nti ono yali musomesa mu lubiri ate nga mukozi nnyo eyeewaayo eri emirimu gye n’amakage n’abasaba okutwala eky’okulabirako ky’abajulizi kubanga okubonaabona kwabwe bye bibala bya Keleziya.

“Tubeere bavumu mu bizibu, twekwase Omukama, ekisa kye kitugumye tusobole okuwangula ng’abajulizi,” Bp. Lwanga bwe yagambye.

Omukolo gwetabiddwaako Bp. Chrisopher Kakooza omusumba w’essaza ly’e Lugazi, Bp. Ssekamanya omusumba w’essaza ly’e Lugazi eyawummula, Fr. Marian Kajubi eyali akulira ekigo ky’e Munyonyo n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev2 220x290

Museveni asisinkanye Abasumba ba...

Museveni asisinkanye Abasumba ba Klezia okuva mu Afrika

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya