TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Aba poliisi bavunze!! Atwala poliisi y’e Kawempe - Ttula n’abalala bakwatiddwa ku by’okubbisa emmundu

Aba poliisi bavunze!! Atwala poliisi y’e Kawempe - Ttula n’abalala bakwatiddwa ku by’okubbisa emmundu

By Eria Luyimbazi

Added 29th May 2016

AKULIRA poliisi y’e Kawempe – Ttula akwatiddwa n’abaserikale abalala olw’okwenyigira mu bubbi obw’okukozesa emmundu.

Twala 703x422

AKULIRA poliisi y’e Kawempe – Ttula akwatiddwa n’abaserikale abalala olw’okwenyigira mu bubbi obw’okukozesa emmundu.

Abamu ku bakwatiddwa bakozesa ebyambalo by’amagye ate abalala babiri abagambibwa okubeera mu kibinja kyekimu bakyayiggibwa.

Richard Waiswa OC w’e Ttula mu Kawempe baamukutte ne banne ne babaggalira ku poliisi ya CPS mu Kampala. Be baamukutte nabo bakolera mu kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango egy’amaanyi (SIU) e Kireka ate abalala ba Crime Preventer abayingizibwa ku poliisi okugiwa amawulire agakwata ku bumenyi bw’amateeka buziyizibwe.

Ssente z’Omuyindi eziwera obukadde 180 ezaanyagibwa z’ezizaalidde abaserikale akabasa. Ab’ekitongole kya Flying Squad be baakulembeddemu okukwata Waiswa ne banne.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti fayiro y’omusango guno yaggyiddwa ku poliisi ya Kira Road n’etwalibwa ku Kitebe kya Kampala Metropolitan (KMP) nga kati akulira okunoonyereza ku misango mu Kampala n’emiriraano D/SSP Godwin Tumuramye y’agikolako butereevu.

Omuyindi bwe baateega e Naggulu ne bamuteeka ku mudumu gw’emmundu ne bamunyagako obukadde 180 ku ntandikwa y’omwezi guno, omusango yagutwala Kira Road era be baasooka okukola okunoonyereza.

Onyango yagambye nti: Okunoonyereza ku bubbi obwakolebwa ku Muyindi (amannya galekeddwa) obwalimu abasirikale kugenda mu maaso era ne be tukyanoonya tujja kubakwata.

Omuduumizi wa poliisi ya Kira Road Michael Kasigire yagambye nti obunyazi buno bwaliwo wiiki bbiri n’ekitundu eziyise e Naguru ku luguudo oluva ku ddwaliro lya KCCA okudda ku kitebe kya Poliisi nga bwalimu aba poliisi abasirikale ab’eggye ezzibizi (Reserve Force) abakolera mu Munisipaali y’e Kawempe.

Kyazuulwa nti olukwe luno lwalimu ne ddereeva w’Omuyindi eyamanya nti mukamaawe waakutambula n’omudidi gwa ssente ekiro ekyo era kwe kukolagana n’ekibinja kino ne kiteega mu kkubo we banaayita era olwatuukawo ne bayimiriza emmotoka ne bateeka

Omuyindi ku mudumu gw’emmundu ne bamuggyako ekisawo kya ssente.

Poliisi yasoose kukwata ddereeva wa Muyindi eyalonkomye Waiswa ne banne era ku Lwokusatu, baatandise okukwata omu kw’omu.

 ichard aiswa atwala poliisi ye awempe tula eyakwatiddwa Richard Waiswa atwala poliisi y’e Kawempe Ttula, eyakwatiddwa.

 

Ku bakwatiddwa kuliko John Ssebuuma ali mu ggye ezzibizi era bwe baamala okugabana, yagulirawo p0oloti n’ayiwa n’ebyeyambisibwa mu kuzimba era byaboyeddwa ne bitwalibwa ku poliisi ng’ekizibiti.

Mu bunyazi buno yagenda ne mugandawe Bruno Luweesi era ono yadduse nga kati poliisi emuyigga.

Wabula ensonda mu poliisi zaategeezezza nti ekibinja kino kirina abanene abalala mu poliisi abakirinako akakwate era bakola bwezizingirire okukakasa nti abaakwatiddwa bayimbulwa ate n’abatannakwatibwa baleme kukwatibwa.

Owookubiri anoonyezebwa ye Abdoul Ayob mbega wa poliisi y’e Kasangati ng’ono olwamala okugabana omunyago n’agulirawo emmotoka ey’ekika kya Premio wabula nayo baagikutte ng’ekizibiti, kyokka Ayob n’abulawo nga kigambibwa nti ali mu nteekateeka zifuluma ggwanga.

Poliisi yasoose kukwata Abdu Papa wabula ne yeewozaako nti ssi ye Abdu Ayob era n’ayimbulwa nga kati omuyiggo guli ku Ayob.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti oluvannyuma lw’abaali mu bunyanzi okutegera nti babategedde OC Waiswa bonna yabayise mu nju ye n’abasibiramu n’abalaalika obutagezaako kumulumiriza nti era anaakikola waakulaba akamufaamu. Nti yatuuse n’okubaggyirayo emmundu ey’ekika kya AK47 era baavuddeyo bakankana. Kyokka waayise ennaku mbale ne batandika okukwatibwa kinnoomu.

Abdu Papa yagambye nti ali mu kutya kubanga waliwo abamwewerera okumutuusaako obulabe nga bagamba nti bwe yayimbuddwa alina obujulizi bwe yatwalidde abanene ku CPS nga bukwata ku bunyazi buno.

Papa naye aludde ng’akolera mu bitongole by’ebyokwerinda.

DPC wa Old Kampala Mohammed Kirumira nga yaakaweebwa ekifo ekyo yagamba nti ababbi abamu bakola nabo mu poliisi era n’alabula n’okugoba abeeyita ba Crime Preventer abakeera ku poliisi ez’enjawulo kubanga bangi bakola gwa kuleeta ddiiru ne baziyitiramu aba poliisi okukkakkana nga beegasse mu bubbi oba okuwaayo emmundu ne zikozesebwa mu bunyazi.

Omwezi oguwedde, ASP Steven Mugarura, akolera ku kitebe kya poliisi e Naggulu, naye yaweereza omuduumizi wa poliisi Gen.

Kale Kayihura lipoota ng’alumiriza ba ofiisa ba poliisi 4 abakolagana n’ababbi era bwe bakwatibwa, ba ofiisa bano bakola ekisoboka kyonna okukakasa nti ababbi bayimbulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam