TOP

Mugisha Muntu andiddemu olukwe - Besigye

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2016

DR Besigye asinzidde e Luzira n’aweereza obubaka eri Pulezidenti wa FDC. Maj. Gen Muntu nti yamuliddemu olukwe bwe yasazzeewo okulonda akulira oludda oluvuganya mu Palamenti so nga baali bakkaanya nti FDC si yaakumulonda kubanga ekyo kitegeeza nti bakkirizza nga NRM bwe yawangula akalulu ka 2016.

20159largeimg201sep2015121917937703422 703x422

Dr. Besigye ne Maj. Gen. Mugisha Muntu

DR Besigye asinzidde e Luzira n’aweereza obubaka eri Pulezidenti wa FDC. Maj. Gen Muntu nti yamuliddemu olukwe bwe yasazzeewo okulonda akulira oludda oluvuganya mu Palamenti so nga baali bakkaanya nti FDC si yaakumulonda kubanga ekyo kitegeeza nti bakkirizza nga NRM bwe yawangula akalulu ka 2016.

Ate nga kimanyiddwa nti FDC ye yawangula ku bitundu 52 ku 100. Besigye yali asabye abakugu okuva mu nsi yonna baddemu okutaganjula ebyava mu kulonda bakakase oba ebyalangirirwa bye byali ebituufu.

Muntu ku Lwokuna yalonze omubaka Winnie Kiiza okukulira oludda oluvuganya mu Palamenti.

Kino kyanyizizza Besigye n’abamu ku bakulembeze mu FDC nga bagamba nti okwo kubeera kukkiriza nti Museveni yabawangula so nga Besigye.

Obubaka Besigye yabutisse akulira okukunga abantu mu FDC, Ingrid Turinawe bwe yamukyalidde mu kkomero ku Lwokutaano n’amugamba nti okwo kwabadde kulyamu lukwe kampeyini gye baliko mu FDC ey’okuwakanya gavumenti n’enkola yaayo.

Ingrid Turinawe y’omu ku beetabye mu lukiiko lwa FDC olw’oku ntikko Muntu mwe yasaliddewo okulonda Winnie Kiiza kyokka n’atakkiriziganya na Muntu ng’agamba nti okwo kwabadde kukkiriza nti Museveni yawangula Besigye so nga bo mu FDC bakimanyi nti Besigye ye yawangula okulonda kwa Pulezidenti.

Waliwo ne Bannabyabyufuzi ababala abaakyalidde Besigye e Luzira okwabadde omubaka Allan Sewannyana owa Makindye West ne Kansala ku KCCA Muhammad Ssegirinya nabo n’abagamba nti si musanyufu n’akatono olw’ekyakoleddwa Muntu.

“Dr. Besigye yatugambye nti Muntu bwe yamukyalira e Luzira bakkaanya nti FDC si yaakulonda akulira oludda oluvuganya kubanga okwo kuba kukkiriza nti Museveni yawangula”, Ssegirinya bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti ekyasinze okuluma Besigye, ye Muntu okulonda akulira oludda oluvuganya nga tataddeewo bukwakkulizo okuli n’okusooka okuyimbula Besigye. Abamu ku ba FDC baagambye nti ensonga enkulu gye balina okukolako ya kuggya Besigye Luzira gye yaggaliddwa ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.

Muky. Winnie Kiiza eyalondeddwa yategeezezza Bukedde eggulo nti guno si gwe mulundi ogusoose abakulembeze mu FDC okubaako n’ensonga ze batakkaanyako kyokka n’agamba nti kino nakyo bajja kukimaliriza nga bwe bazze bakola ebirala.

N’agamba nti abakulembeze abamu mu FDC okuli ne Mugisha Muntu balowooza nti Palamenti tulina okugyeyambisa mu lutalo lwe baliko okununula Uganda nga bayita mu kuwakanya gavumenti ya NRM n’enkola yaayo.

N’agattako nti okumulonda tekitegeeza nti FDC yakkirizza okulondebwa kwa Museveni wabula ekifo kino kigenda kuwa FDC omwagaanya okutwala mu maaso kampeyini ey’okuwakanya Gavumenti.

Okulonda Winnie Kiiza kyaddiridde Sipiika Rebecca Kadaga okuwandiikira FDC ng’abasaba okuweereza erinnya ly’akulira oludda oluvuganya obutasukka May 25. Muntu mu buyinza bwe nga Pulezidenti wa FDC yalonze Winnie Kiiza ate ekifo kya Nnampala w’ababaka abooludda oluvuganya n’akiwa Ibrahim Semujju.

Wabula Muntu yannyonnyodde nti kye kiseera FDC okukkiriza nti NRM ne Museveni be bali mu buyinza, era ekibiina kirina okugenda mu maaso.

“ Tulina okukkiriza nti NRM yawamba obuyinza era tulina okukigumira, tutwale ekibiina mu maaso, kino tekitegeeza nti NRM ye yawangula okulonda. Ffe twabbibwa naye tulina okutwala ekibiina mu maaso”, Muntu bwe yagambye.

FDC ezze essaawo obukwakkulizo okugeza baalangirira obutaddayo kwetaba mu kulonda kutegekeddwa kakiiko ka Badru Kiggundu okuggyako nga wassiddwawo enkyukakyuka ne kalema okulondebwa Museveni kubanga assaako bantu be. Enkyukakyuka tezaakolebwa kyokka buli kulonda bakwetabamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...