TOP

Agenze mu kabuyonjo okweyamba n'afiirayo

By Vivien Nakitende

Added 30th May 2016

Agenze mu kabuyonjo okweyamba n'afiirayo

To1 703x422

Kabuyonjo Jammy Kimera mweyafiiridde

EKYENKANGO kibuutikidde abasuubuzi mu katale k’e Wankulukuku omugoba wa boda boda bwagenze okweyambako mu kabuyonjo yaabwe n'afiiramu.

Omugoba wa boda boda ategeerekese nga Jimmy  Kimera abadde asula Kabowa mu zooni ya  Ssuuna, okusinziira ku baliranwa be, Kimera abadde talina mukyala era yakedde ku makya ku ssande (29/05/16) naakola emirimu gy'awaka omwabadde okwoza engoye  n’okuyonja piki piki ye  olwamaze nakkirira mu katale e Wankulukuku okufuna eky’okulya.

Yatuukidde mu woteeri y’omukyala ayitibwa Nalongo naatumya ekyenkya ne caayi era n’abalagira babimutegekere ku mmeeza  amale okuvaako mu kabuyonjo ajje alye,  yagenze  mu kabuyonjo ey’okusasulira mu katale k’e Wankulukuku.

Yasasudde ssente 300/- era okusinziira ku mukuumi wa kabuyonjo eno ataayagadde kwogera mannya ge agamba nti Kimera yalabise ng’ali mu bwetaavu bwa maanyi okweyamba era olwamaze okusasula yayingidde mu kabuyonjo  z’abakyala  olw’obwangu bweyabaddemu.

Ono agamba nti yalabye ebbanga nga liyiseewo ddene ng’omuntu eyayingidde mu kabuyono tavaamu  kwekusalawo okumuyita kyokka nga teri kanyego naayita banne nebamenya oluggi ne bamusanga nga yafudde dda era yafudde yaakatandika emikolo egyabadde gimututte mu kabuyonjo.

Poliisi y’e Kitebi yayitiddwa bukubukirire era nayo neeyita kabangali  yaayo eyaggyeyo omulambo negutwalibwa mu ggwanika  ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa okuzuula ekituufu ekyamusse.

Oluvannyuma abatuuze baakozesezza essimu y’omugenzi okukubira ab’enganda ze amasimu  abatuuse era mukulu we  Joseph Kimera nategeeza nga mutoowe ono bwabadde alina obulwadde obumusumbuwa kyokka nga tayagala kugenda mu ddwaaliro.

“Ekiro naayogeddeko naye nemusaba mutwale mu ddwaaliro aleme kufiira mu nnyumba n’agaana kati laba bwafiiridde mu kabuyonjo” Kimera mukulu w’omugenzi bweyategeezezza Ye ssentebe w’akatale ke Wankulukuku Emma Mwiru ategeezezza nti omugenzi babadde tebamumanyi wabula yazze mu kabuyonjo kubanga ya lukale era nategeezza nti okufa kwe kirabila kaabadde kabenje ng’entuuko ze eyo gyezatuukidde.

Atwala ba mbega ku poliisi e Kitebi Francis Kateega ategeezezza nti omulambo gwa Kimera gutwaloddwa mu ggwanika e Mulago gwekebejjebwe bazuule ekituufu ekyamusse olwo balyoke bafune eky’okukola ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...