TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Omwana eyasaliddwako omutwe ku bya 'Illuminate' aziikiddwa wakati mu kwaziirana

Omwana eyasaliddwako omutwe ku bya 'Illuminate' aziikiddwa wakati mu kwaziirana

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2016

EKIWUDUWUDU n’omutwe ebyasaliddwa ku mwana ow’emyaka omunaana byaziikiddwa wakati mu kwaziirana.

Ziika 703x422

Ssaduuke omuli omulambo gwa Ogema mu katono

EKIWUDUWUDU n’omutwe ebyasaliddwa ku mwana ow’emyaka omunaana byaziikiddwa wakati mu kwaziirana.

Abakungubazi basinzidde mu kuziika ne basaba ebitongole by’ebyokwerinda okufufuggaza abeerimbika mu Illuminati n’obusawo bw’ekinnansi okufera abantu kubanga tebakoma ku kutwala ssente wabula be bavuddeko n’okusaddaaka abaana okweyongedde.

Omwana Joel Ogema (waggulu) baamusazeeko omutwe ku Mmande nga mukuluwe Herbert Were 21 (omutemu) agamba nti yabadde agutwalira abasajja abaamusuubizza okumutwala mu Illuminati afune obugagga.

Wadde abaamutuma omutwe tabalabangako, agamba nti abadde awuliziganya nabo ku ssimu ne ku mukutu gwa Facebook era omu yamweyanjulira nti ye Jeff Maneja w’abayimbi era yamuweereza n’obubaka ku ssimu ng’amulagirira w’aba amusanga ku bbaala ya Dejavu e Kabalagala.

Ebbaala eno ya Jeff Kiwanuka eyaliko Maneja wa Jose Chameleone, Mose Radio, Weasle ne Team No Sleep omwali AK47, Pallaso ne Sheeba Kalungi.

Ku bbaala eno, AK47 mwe yafiira omwaka oguwedde. Omutwe n’ekiwuduwudu byasooseddwa Mulago era oluvannyuma ne babiddiza abooluganda ne baziika e Bukwere mu Ggombolola y’e Lumino mu disitulikiti ye Busia.

Jeff yakwatiddwa okuyambako mu kunoonyereza n’aggalirwa mu kitebe kya SIU e Kireka era yakoze siteetimenti mwe yannyonnyoledde nti talina ky’amanyi ku Were era ateebereza nti akozesebwa abamulwanyisa abaagala okumwonoonera erinnya.

Were baamukutte ku Lwakusatu ng’abutaabutana n’omutwe gw’omwana mu kisawo era baamukwatidde Kajjansi oluvannyuma n’abakulembera okubatuusa ku mugga Namusere mwe yakanyuga ekiwuduwudu ne kiggyibwayo.

POLIISI EFEFFETTE ABEEYITA ABA ILLUMINATI

Principia Wandera taata omuto ow’omwana Joel yasinzidde mu kuziika ku Lwomukaaga n’agamba nti tebakyayagala kuddamu kulaba ku Were era baagala amateeka gamuwe ekibonerezo ekimugwanira olw’okutta mugandawe ng’anoonya obugagga.

Wabula yasabye ebitongole ebikuumaddembe okuwenja abo bonna abeeyita ab’akabinja ka Illuminati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente