TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuzi e Kasubi bawambye essomero ne beegabanya poloti

Abasuzi e Kasubi bawambye essomero ne beegabanya poloti

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2016

ABASUUBUZI mu katale k’e Kasubi nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Lauben Ssengendo bawambye essomero lya Kasubi Family P/S ne batandika okwegabanya emidaala oluvannyuma lwa nsalessale eyabaweebwa ekitongole ky’enguudo okwamuka oluguudo lw’e Hoima okuggwaako.

Mannya 703x422

Ssengendo ng’ayogera eri abasuubuzi mu lukiiko lwe yakubye ku ssomero lya Kasubi Family P/S ly’agamba nti baaliguze.

ABASUUBUZI mu katale k’e Kasubi nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Lauben Ssengendo bawambye essomero lya Kasubi Family P/S ne batandika okwegabanya emidaala oluvannyuma lwa nsalessale eyabaweebwa ekitongole ky’enguudo okwamuka oluguudo lw’e Hoima okuggwaako.

Ku Mmande Ssengendo yakedde ku kizindaalo ng’ayita abasuubuzi mu lukiiko ku ssomero lya Nakyekoledde ku ssaawa 4:30 ez’oku makya gye yabategeerezza nga bwe bamalirizza okusasula ekibanja okutudde essomero n’abalagira batandike okwegabanya emidaala kye baakoze.

“Ekitongole kya UNRA kyatuwa nsalessale wa nkomerero ya mwezi gwa May okwamuka oluguudo lw’e Hoima aggwaako ku Lwokubiri nga tulina okubeera nga tumaze okubukala mu luggya lw’essomero nga bwe tulinda abaatuguzizza okumenya ebizimbe nga bwe twalagaanye,” Ssengendo bwe yategeezezza.

Wabula eby’okugula ekibanja okutudde essomero biwakanyizibwa ssentebe wa Kasubi zooni 3 omuli essomero, Ssaalongo Edward Bbosa eyagambye nti tategeezebwangako nga bwe waliwo atunda oba agula ekibanja ky’essomero lya gavumenti erimaze n’okuwandiisa abayizi abagenda okutuulirawo ebigezo bya PLE.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera