TOP
  • Home
  • Agawano
  • Eyalumiriza Nantaba okubba ettaka yeetonze

Eyalumiriza Nantaba okubba ettaka yeetonze

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd June 2016

Omusajja eyalumiriza minisita Aidah Nantaba okumubbako ettaka alidde ebigambo bye mu lukiiko lw’ekyalo n’ategeeza nga bw’atamanyi kyamusindika kumuwaayiriza.

Nantaba 703x422

Balubuliza ( afukammidde ku ddyo) nga yeetondera minisita Nantabamu busuuti.

Omusajja eyalumiriza minisita Aidah Nantaba okumubbako ettaka alidde ebigambo bye mu lukiiko lw’ekyalo n’ategeeza nga bw’atamanyi kyamusindika kumuwaayiriza.

Mu lukiiko olwakubiriziddwa ssentebe w’ekyalo Kafuge - Bwetyaba e Kayunga, Fred Ssekatonya, omutuuze Crepo Balubuliza abadde alumiriza Nantaba okubba ettaka lye yasituse n’ategeeza nga bye yayogera bwe bitali bituufu era n’afukamira mu maaso ga Nantaba n’amwetondera.

Kamisona wa poliisi, Fortunate Habyara eyasindikiddwa okwekenneenya ensonga zino yasoose kuwulira Nantaba eyalaze endagaano kwe yagulira ekibanja kino ekiweza yiika ssatu ku bukadde 15 ng’eriko n’emikono gya batabani ba Balubuziza ne LC.

Nantaba yamusonyiye n’amuwa akakwakkulizo okumwetondera ku mikutu gy’amawulire kuba gye yakozesa okwonoona erinnya lye eritali kyangu kuzzaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...