TOP

Afunye ebbuba n'amufumita ebiso

By Deborah Nanfuka

Added 2nd June 2016

OMUSAJJA alumbye mukyala we eyamukyaye mu bbaala n’amufumita ebiso ng’amuteeberezza okubeera n’omusajja omulala amuvujjirira ssente.

Malayo 703x422

Tumusiime ali Mulago.

OMUSAJJA alumbye mukyala we eyamukyaye mu bbaala n’amufumita ebiso ng’amuteeberezza okubeera n’omusajja omulala amuvujjirira ssente.

Evelyne Tumusiime 23, omutuuze w’e Kansanga mu Kiwempe, yanoba mu maka ga Peter Wasswa omwezi gumu emabega n’agenda ewa muganda we.

Yamulumbye mu bbaala gy’akolera mu Kiwempe n’amufumita ebiso ku mutwe.

Tumusiime annyonnyola nti bba yamuyise ebweru w’ebbaala ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokutaano bateese kyokka yalabye aggyayo kiso n’atandika okumufumita nga bw’amubuuza ekimwagaza abasajja abalala nga ye yamusuulawo.

Tumusiime yaweereddwa ekitanda e Mulago ate Wasswa yadduse. Poliisi yamugguddeko omusango ku SDRef 26/28/5/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo