TOP

Mukoddomi we amutemyeko omukono

By Musasi wa Bukedde

Added 4th June 2016

Mukoddomi we amutemyeko omukono

Muko1 703x422

Makanga

ENSASAGGE egudde ku kyalo Busige mu Ggombolola y’e Kitayunjwa mu disitulikiti y’e Kamuli, omusajja bw’agenze mu maka ga kitaawe wa mukazi we, gw’asanze ng’anaaba n’amulumba mu kinaabiro n’amutemako omukono.

Moses Makanga 47, ye yagudde ku kibambulira kino ku Lwokusatu, mukoddomi we gw’amanyiiko erinnya erimu erya Sekate, bwe yamuzinze ekiro n’amutemako omukono ng’agamba nti talina ky’akozeewo bukya muwala we, Amina Nabirye, anoba ewuwe n’amulekera abaana abamumazeeko emirembe.

Kigambibwa nti Sekate asiba maato ku kyalo Gweri mu Ggombolola y’e Galiraaya mu disitulikiti y’e Kayunga ate ng’akolera nnyo ku myalo gy’ennyanja Kyoga mu disitulikiti y’e Apac ne Soroti.

Obulumbaganyi buno agambibwa kubukola ku ssaawa 3:00 ez’ekiro bwe yasooberedde Makanga ng’afuluma n’ebbaafu mu kinaabiro n’amutema ejjambiya ku mukono ne gusigalako luliba n’oluvannyuma ne bagutemerako ddala mu ddwaaliro lya Kamuli Mission.

Makanga yalaajanye nti, “Mujje munnyambe omuko anzita” kyokka mukyala we eyabadde mu nju we yafulumidde okumutuukako yasanze Sekate yeemuludde. ENGERI GYE BYAJJA Kigambibwa nti Nabirye 24, yanoba ewa Sekate mu February w’omwaka guno n’afumbirwa omusajja omulala.

Makanga agamba nti Nabirye yamuzaala mu Asiina Tibafaananika, eyamunobako n’agenda naye era yawulira oluvannyuma ng’amufumbizza e Namusitula mu Ggombolola y’e Balawola mu Kamuli n’amulyamu ebintu ebiyitirivu. “Omwana yamufumbiza simanyi kyokka nawulira nti mu kabanga katono, yanobayo n’afumbirwa omusajja omulala.

Nneekanga musajja ng’anneeyanjulira nti ye Sekate n’antegeeza bw’ali mukoddomi wange nti kyokka Nabirye yamunobako n’amulekera abaana babiri,” Makanga bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, “Namukulemberamu ne mmutwala ewa nnyina (Tibafaananika) eyamulyamu ebintu kyokka laba ate bw’antuusa ku kino!

” Yagambye nti ne ku Mmande, Sekate yazzeewuwe ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro ne petulooli n’ateekera ennyumba omuliro , ebintu byonna omwali engoye n’ebikozesebwa by’omu maka ne bisirikka. Ssentebe wa LC 1 e Busige, John Bagende yennyamidde olw’obutemu obw’emirundi ebiri mu kitundu kye nti kyokka baabuloopedde poliisi eyatandikiddewo okuyigga Sekate.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ziika1 220x290

Ssaalongo yalese eddaame ekkabwe!...

SSAALONGO Erisa Ssendaaza Semuwubya olwafudde, mikwano gye gy’abadde yateresa eddaame lye ne baliggyayo ne balisomera...

Maaso 220x290

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde...

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa...

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...