TOP

Maneja wa Bbanka bimusobedde ng'agattibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2016

Maneja wa Bbanka bimusobedde ng'agattibwa

Man1 703x422

Rev. Canon Diana Nkesiga ng’agatta Ahimbisibwe ne Ssonko mu kanisa ya All Saints e Nakasero.

OMUKAZI asitudde abaana be bana ne nnyina n’abatwala ku kkanisa atangire bba okugattibwa n’omukazi omulala ku mbaga eyabadde mu All Saints e Nakasero. Kyokka ekkanisa teyamuyambye yagenze mu maaso n’okugatta abagole, Maureen Ahimbisibwe ne Ronald Ssonko, maneja wa bbanka ya KCB.

Damalie Nakkungu Kantinti muwala w’omutaka Kantinti e Kkonge - Lukuli amaze ne Ssonko emyaka 16 mwe bazaalidde abaana banabasatu balenzi. Balina amaka e Bweyogerere mu Kito. Baalabagana mu 2000, kyokka ne banjula nga March 18, 2006 ku mukolo ogw’ekitiibwa ogwali ewa Kantinti e Kkonge - Lukuli mu Makindye. Kirabika Ssonko alina ekyama kye yazuula mu bbanka kubanga akola mu bbanka ate n’abakazi bombi Nakkungu ne Ahimbisibwe nabo bakola mu bbanka.

Nakkungu bwe yategedde nga bba agenda kugattibwa ne Ahimbisibwe mu kye yayise embaga y’enkukutu n’akwata ebbaluwa kwe yayanjulira Ssonko, vidiyo n’ebifaananyi ebyakwatibwa ku mukolo gwabwe n’abitwala eri Bannaddiini abakulira All Saints ng’ayagala embaga ereme kugenda mu maaso.

 akkungu bba sonko gwe yasuddewo Nakkungu, bba Ssonko gwe yasuddewo.

N’agattako: Oba Ssonko by’akola bituufu lwaki embaga agitegese ku lunaku lw’Abajulizi ng’abantu bali Namugongo? Ku Lwokuna, abatwala All Saints okuli; Rev. Grace Sentongo, Rev. Irene Akankwasa baatuuzizza Nakkungu ne bba Ssonko ne bayita mu nsonga kyokka ne balagira Nakkungu ensonga azisse mu buwandiike, agatteko n’obujulizi obulaga nti ye ne Ssonko bafumbo.

Kyokka bwe yazzeeyo ku Lwokutaano ku makya yasanze Rev. Ssentongo ne Akankwasa tebaliiwo nga mu ofi isi mulimu Vicar Rev. Can. Diana Nkesiga era oluvannyuma ye yagasse abagole. Yamuyitiddemu mu nsonga ze. Nkesiga n’ayanukula: Byonna nnabitegedde. Era nnumirwa wamu naawe nga mukazi munno. Naye sirina kyakukola kubanga nneebuuzizza ne mpabulwa nti okwanjula kwe wakola ne Ssonko tekumala kufuula bufumbo bwammwe kuba mu mateeka.

Olwo Nakkungu n’abaana be. Emmotoka ezaaleese omugole omusajja (Ssonko) zaabasanzeewo era abaana ne bagenda ku mmotoka ya kitaabwe, n’atumya ebyokulya n’abagabula. Abaana ye Deon Tendo Kivumbi 9, Dylan Reuben Lule 7 ne Rowena Darlin Lunkuse 5.

KATEMBA MU KUGATTA

Ssonko bwe yatuuse ku kkanisa yatwaliddwa mu ofi isi ya Rev. Nkesiga eyabasisinkanye ne Nakkungu. Obunkenke bweyongedde omugole omukyala Ahimbisibwe bwe yatuuse n’abantu ne batuuka kyokka ng’omugole omusajja talabikako.

Mu kiseera ekyo amawulire gaabadde gasasaanye ku kkanisa nti embaga erabika efudde. Okukkakkanya embeera, Rev. Nkesiga yakuumidde Nakkungu ne eyabadde mmotoka kyokka ne babakkakkanya. Rev. Nkesiga yasazeewo okugatta kugende mu maaso.

 sonko ngali ne mukazi we akkungu mu kwanjula okwaliwo mu 2006 mu maka ga wantinti e akindye Ssonko ng’ali ne mukazi we Nakkungu mu kwanjula okwaliwo mu 2006 mu maka ga Mw.Kantinti e Makindye

Nakkungu n’afuluma ofi isi n’ayingira ekkanisa. Olwo essaawa zaabadde mu 8 ez’olweggulo so ng’okugatta kwabadde kwa 7. Bakanyama baafulumizza Nakkungu ekkanisa ne bamutwala mu kasenge. Abaana baasigadde bweru nga bazannya.

Wano Rev. Nkesiga n’alagira omugole ayingizibwe ekkanisa wakati mu kwerinda nga bakanyama bali ku buli mulyango. Omugole emmotoka yamuleetedde ddala ku mulyango, omukolo ne gutandika. Rev. Nkesiga yategeezezza mu kkanisa nti Ssonko yalina omukazi gw’alinamu abaana ne baawukana.

Kyokka mu kufuna Ahimbisibwe teyategeezaako mukazi we omukulu (Nakkungu). Wabula yasobodde okubatabaganya era tewakyali mutawaana. Yalagidde Ssonko ne yeetonda mu lujjudde olw’okulekawo Nakkungu n’awasa omulala nga tategeezezza ku Nakkungu. “Nsaba Nakkungu ansonyiwe.

Ne mwenna abaakimanyaako nti nnina omukazi munsonyiwe,” bwe yategeezezza. Biraze ku p6 yabadde azze ne nnyina Jjemba 8, Darren Matthew Makindye. Ssonko mu kasenge. Maama wa Nakkungu ne bazzukulu be (abaana ba Nakkungu) n’abooluganda abaabawerekedde obwedda baagala okulumba omugole eya- Kantinti maama badde mu mmowa Nakkungu. Kisawuzi

Oluvannyuma Nakkungu yategeezezza Bukedde: Simatidde. Ekkanisa tennyambye, kati ng’enda mu kkooti.

Ssonko simukkirizanga kuwasa mukazi mulala. Kyokka Nakkungu yakkirizza nti yafunamu obutakkaanya ne Ssonko era awaka abadde takyasulawo wadde ng’abadde ajja buli lunaku okutwala abaana ku ssomero n’okubakomyawo n’okubalabirira mu buli kimu.

N’agamba: Bannadiini bantegeezezza ebbaluwa y’okwanjula tebagitwala ng’entuufu kubanga oluvannyuma lw’okwanjula baalina okugitwala ew’omukungu awandiisa obufumbo ( Registrar of Marriages). Yalaze enkwe ezijjudde mu bantu kubanga ku mukolo gwe, Denis Ntege ye yali Kalabaalaba ate ne mu kugatta Ssonko ne Ahimbisibwe era Ntege ye yabadde Kalabaalaba.

Nakkungu ne Ahimbisibwe bonna bakulidde ku kyalo kimu era bangi ku baali ku kwanjula kwa Nakkungu ate baabaddewo ku mbaga ya Ahimbisibwe. Oluvannyuma lw’okugatta, abagole baasembezezza abagenyi baabwe ku Gaba Resort Beach.

REV. NKESIGA ANNYONNYOLA Mu kkanisa ya Uganda bwe tubeera tetunnagatta bagole tusooka kubuuliriza ebibakwatako kwe tugatta okubalanga tuwe omukisa alina ensonga yonna ebalobera okugattibwa aveeyo.

Bwe nnabuuza abagole nga tubasomesa, Ssonko yantegeeza nga bw’alina omukazi gwe yazaalamu abaana bana, kyokka ne baawukana wadde nga yasigala akyalabirira abaana. Nneebuuza ku bantu abawerako okuli n’aba FIDA ne bantegeeza nti Ssonko ne Nakkungu bwe baba tebaawandiisa bufumbo bwabwe ewa Registrar of marriages tekigaana kubagatta. Nakkungu yazze ng’ayagala tuyimirize okugatta.

Nnumirirwa wamu naye, kyokka nataganjudde amateeka nga tewali lindobera kugatta bagole. Nkozesezza Ssonko endagaano n’akakasa okugenda mu maaso n’okulabirira abaana be era n’ennyumba bajja kugisigalamu ne nnyaabwe. LOOYA AWABUDDE Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi, Erias Kisawuzi yagambye nti obufumbo bubeera mu biti bisatu okuli; obwekinnansi, obwa ddiisi n’okugatta mu masinzizo oba okuwoowa mu Busiraamu.

Omuntu bw’asalawo okuwasiza mu bufumbo bw’ekinnansi kasita ayanjula kiba kiwedde. Obwo obufumbo bubeera mu mateeka. Wabula mu bufumbo bw’ekinnansi omusajja akkirizibwa okuwasa abakazi abasukka ku omu. Wadde nga mu kuwasa omukyala owookubiri eyasooka alina okuba ng’akkirizza.

Yagambye nti abafumbo bateekeddwa okuwandiisa obufumbo ewa Registra, kyokka ne bwe babeera tebeewandiisa obufumbo obwo bubeera mu mateeka. Ekikulu gwe mukolo gw’okwanjula okuba nga gwaliwo, era nga waliwo n’abantu abaaliwo ng’abajulizi. Yagambye nti abakyala ababiri nga baayanjula omusajja omu, kisoboka kkooti okusazaamu obufumbo bw’empeta, kuba okugatta ekkanisa ekukola ku lwa gavumenti. Obufumbo bw’ekinnansi nabwo bukkirizibwa Gavumenti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda