TOP
  • Home
  • Agawano
  • Meeya w’e Nakawa Balimwezo naye yayita mu ttanuulu! "Okugulu baakuntemako nga ‘mbaatisa’ mirimu e Luweero"

Meeya w’e Nakawa Balimwezo naye yayita mu ttanuulu! "Okugulu baakuntemako nga ‘mbaatisa’ mirimu e Luweero"

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2016

RONALD Balimwezo Nsubuga, alina okugulu kumu naye batono abakimanyi kuba takiraga!

Bantu1 703x422

RONALD Balimwezo Nsubuga, alina okugulu kumu naye batono abakimanyi kuba takiraga! Akola buli mulimu, atambula bulungi wadde awenyeramu, n'okudduka olumu addukamu! Ono ye meeya omuggya owa munisipaali y’e Nakawa.

Akola ebintu n'abalina amagulu abiri oluusi bye batasobola kukola. Mukyala we okumwegomba yasooka kumulaba ng'avuga akagaali ate nga wa kugulu kumu.

BALILIMWEZO Y’ANI?

Alina diguli mu bwayiginiya, yakuguka mu kukuba pulaani z'amayumba bye yasomera mu yunivasite e Kyambogo.

Mutabani wa Experito Nsubuga Mitubeena mu divizoni ya Ntebe A ne Norah Nankya Nsubuga abamaze emyaka 53 mu bufumbo.

Mwana waamukaaga ku baana 10 bakadde be be baazaala, wa myaka 43.

Y’adda ku Ssebwana Kiberu Kisiriiza, atwala essaza lya Busiro. Agamba: Nasomera ku Lake Victoria primary school gye namalira P 7 mu 1987 ne nneegatta ku Seminario e Kisubi okusoma obufaaza.

Wabula nabirabirawo nga sijja kubisobola, naye bangobayo lwa ffujjo! Kino bakadde bange tekyabayisa bulungi kuba baali basanyuse nnyo famire yaffe okuvaamu faaza.

Bantwala mu ssomero lya St Charles Lwanga Kasasa e Masaka gye namalira S4. Eno buli omu yali ammanyi kuba nali muddusi, musambi wa mupiira, ebikonde n’ebirala.

Olw’okuba baali tebasomesa saayansi ku Haaya, kwe kwegatta ku Busoga College Mwiri, nasomanga nga mu luwummula bwe nkola mu dduuka lya mukulu wange Ssebwana mu Kitooro e Ntebe.

Nze nasooka okutandika ggiimu e Ntebe nga nsitula ebyuma okukola omubiri n'okusomesa abavubuka okusitula ebyuma naddala abakubi b’ebikonde. Ne bwe namala S6, nasigala nkola mirimu egyo akawungeezi.

Mu luwummula lwa S6, nali nkola ebipande naddala eby’abantu abaagala okulanga biizinensi zaabwe nga bampa ssente.

OKUGENDA KU YUNIVASITE MAAMA YAMALA KUNKUBA

Ebibuuzo nga bikomyewo saayita bulungi, noolwekyo Gavumenti yali tesobola kunsasulira z’e Makerere. Nasalawo kugenda Kyambogo, naye abaana bwe baatandika saatandikirawo naye lumu nali ku dduuka, maama n’ajja n’emiggo ebiri, ogumu n’agunkwasa n’aηηamba tukubagane!

Yankuba kibooko empitirivu nga bw’ambuuza lwaki sigenda ku ssomero abaana nga baatandika dda.

Enkeera nabukeereza nkokola ne nkwata ssente ezaaliwo, mwannyinaze ow’omu Amerika yampeerezaayo Doola 300 kwe kugenda e Kyambogo.

POLIISI EJJA OKUNKWATA E KYAMBOGO

Ebiseera ebyo abayizi baali baweererwa Gavumenti . Ekibiina ky’abasoma obwayinginiya kyalimu abayizi 11, nze nali wa 12.

Okumanya nti nzize, abasomesa kino baakitegeera batuwadde ebibuuzo by’okwegezaamu nga balaba empapula ezandibadde 11 ziri 12.

Abasomesa baatandika okulabula nti bagenda kuleeta poliisi ekwate oyo ali mu kibiina naye nga talina kubeeramu wabula nga n’abayizi tebamanyi ani gwe bagenda kukwata!

E Kyambogo, erinnya lya Balimwezo baali tebalimanyi ate nga lye libeera ku mpapula kwe nkolera ebigezo. Ebiseera ebyo yali eyitibwa Uganda Polytechnic Kyambogo, nga buli muyizi ayingira aba aweererwa Gavumenti.

Olunaku lwe bajja okunkwata bajja babuuza Balimwezo, bwe bantuukako ne nzikiriza nti eryo linnya lyange baali balowooza nnimba. Naye bwe baalikakasa, omuwandiisi w’abayizi n’akantema bwe bazze okunkwata.

Yali n’abaserikale babiri! Bajja kawungeezi, naye nagaana okugenda nabo ne mbasaba bakomewo enkya bankwate.

Baali banvunaana kubeera ku ssomero nga sirina kuba muyizi ku ssomero eryo olwa Gamumenti okuba nga tempeerera.

Bwe baali baakafuluma, natambulirawo ne ηηenda ew’eyali akulira ettendekero, Dr. Abel Rwendeire ne mmugamba nti nsoma naye Gavumenti si y’ensasulira. Namusaba anzikirize okusoma nga nneesasulira.

Yagamba nti enkola teriiwo mu ttendekero. Naggyayo Doola 300 ne nzikuba ku mmeeza, ne mmwegayirira.

Oluvannyuma yanzikiriza okusasulanga emitwalo 45 buli lusoma. Yankolera n’ebbaluwa enzikiriza era n’ansuubiza nti bwe nnaakola obulungi ajja kunsemba banzise ku nkola y’okusasulirwa Gavumenti.

Mu lusoma olwo nali mu bayizi abasatu abaasinga, ne nzirayo ewa Dr. Rwendeire atuukirize ekisuubizo kye n’anneegaana wadde nalina ekiwandiiko kye yankolera!

Saddamu kusasula, naye akanyamberege kaaliwo nga tutuuse okukola ebigezo nga tebampadde kkaadi enzikiriza kubituula. Naye nakozesa ebbaluwa omukulu w’ettendekero gye yali yampa, omuwandiisi w’abayizi n’ampa kkaadi y’ebigezo.

Ekirungi ebigezo nabikola bulungi, naye okusoma dipuloma eyookubiri nneesasulira ate nali ntandise n'okukola nga nkuba pulaani.

OBUKULEMBEZE

Bwe nali e Kyambogo nneesimbawo n'omusomesa eyali atusomesa ku bwassentebe bwa Kyambogo UPK era ne mmuwangula. Mu kiseera kye kimu nalondebwa okuba omumyuka wa ssentebe wa L.C II ow’omuluka gw’e Kyambogo ne nfuga wakati wa 1995 ne 1996.

Nagenda okusoma dipuloma eyookubiri okugimala nga nze ssentebe w’ekitundu. Buli pulaani nagikubiranga wakati w’emitwalo 15 – 20. Namaliriza okusoma e Kyambogo mu 1998.

Bwe namala okusoma, waliwo omusomesa waffe Mw. Mutazindwa eyakulira ekitongole ekya Civil Engineering eyanzikiriza okusomesa abayizi naye nga sisasulwa.

Nali njagala kwekuuma nga nnina kye nkola era namala emyaka ebiri nga nsomesa abayizi abakuba pulaani z'amayumba.

Mu mwaka gwa 2000 natuukirira Ying. JB Walusimbi nga mmusaba mulimu. Ebiseera ebyo yalina omulimu gw'okuzimba amaka g’Obwapulezidenti e Ntebe n'okuddaabiriza eddwaaliro ly’e Mulago.

Nali ntuukiridde ne minisita Jaberi Bidandi Ssali ne mmusaba annoonyeze omulimu. Ying. Walusimbi yampa omulimu ogw'okumukiikirira mu amaka g’Obwapulezidenti nga nnina okubeerawo okulaba nti ebiri ku pulaani by'ebyo ebizimbibwa.

Ate ne Mw. Bidandi yali anfunidde omulimu gw'okuba yinginiya wa Town Council y’e Wobulenzi era emirimu gyombi nagikola.

OBULEMA

Mu mwaka ogwo ogwa 2000, nafuna omulimu gw'okukuba pulaani y’ekizimbe omuli ekitebe kya South Afrika.

Bwe nafuna ku ssente ne ngula pikipiki ennyanguyenga mu mirimu gyange n'okugikolera mu budde.

Olunaku lwe nfiirwa okugulu nali ηηenda kulaba ku bakadde. Nava e Wobulenzi nga nnina okutuuka e Banda okuggyayo pulaani ndyoke ηηende e Ntebe okusisinkana abazadde.

Omukazi yantomerera Lugogo, naye nneebaza Katonda olw’okuba nasobola okusimattuka. Omukazi eyantomera yadduka buddusi, teyayimirira.

E Mulago namalayo emyezi ebiri ne bansiibula, naye abasawo bansala emirundi esatu nga waliwo akawuka akaali kayingidde nga kandya okubula okummalawo.

Ekirungi ku kitanda nasigala nkuba pulaani era ebbanga lye namalayo nakolerayo 2,700,000/-.

Eky’omukisa ekirala, emirimu gyonna gye nali nkola bankuumira emirimu ate nga bansasula. Bwe nassuuka, Ying. Walusimbi yansindika e Mulago okulabirira emirimu nga bwe gitambula.

 maka ga alimwezo e utungo bwe gafaanana Amaka ga Balimwezo e Mutungo bwe gafaanana.

 

OKUDDA MU BYOBUFUZI

Mu 2002 nneesimbawo ku bwakansala bwa Kyambogo ku lukiiko lwa KCC ne mpangula naye ekyasinga okunnuma mu bukulembeze obwo bankwata ne bansiba e Luzira bwe nali nkola oluguudo nti nali ndukola mu bukyamu! Naddamu okusaba omulimu gw'okusomesa e Kyambogo ne nssomesaayo okuva mu 2003 okutuuka mu 2011.

Mu 2003 Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga yampita okumukubira pulaani y’Obusumba bwa Kasana- Luweero kuba yali alabyeko ku mirimu gyange.

Bwe yaleetebwa e Kampala yankwasa omulimu gw’okuzimba ekizimbe okuli Centenary Bank e Lubaga, era yannonda okumukiikirira ku kuzimba Namugongo.

OKUWANGULA OBWAMEEYA

Olugendo lw'okufuuka meeya w’e Nakawa nalutandika mu 2009 nga mmaze okukola okunoonyereza n'okumanya biki abantu ba Nakawa bye beetaaga.

Bingi ebyali bigaanyi nga baagala omukulembeze abategeera, okwetoowaza n'okumanya nti abantu bano tebeetaaga bingi naye buweereza.

Mu 2011 bwe banziba akalulu ne ηηenda ne mu kkooti ne bagaana okusala amazima nasalawo okudda mu bantu era ne nkola kaweefube okubakakasa nti nze mukulembeze omutuufu.

OKUFUNA OMUKYALA

Bwe nneesimbawo mu 2006 ku bubaka bwa Palamenti obwa Nakawa, nali mu kampeyini e Kyanja gye nakolera ebyawangula mukyala wange omutima.

Yalaba omusajja alina okugulu okumu awalampye loole asaba akalulu ate bwe nava waggulu ne nkwata akagaali ne nkavuga okulaga abalonzi nti nnina sitamina!

Lwakuba ebiseera ebyo yali asoma Makerere mu mwaka ogwokusatu naye nasigala mmulondoola.

Nagenda okumusisinkana nga yammatira dda, era bwe yamala okusoma n’annyanjula ewaabwe. Embaga twagikola mu 2008 e Namirembe ku Lutikko.

OMUKYALA AYOGEDDE

Rachael Balimwezo agamba: Okulaba baze yali anoonya kalulu mu 2006. Yali akanoonya nju ku nju era tuba tuli awo awaka ng’azze n’abasajja be yali anoonya nabo akalulu.

Nali sigendera ku byabufuzi, naye bwe yajja awaka kirabika ffenna awaka twamwagalirawo kuba enkeera yali agenda Kisaasi kukuba kampeyini, baganda bange bonna baayambala bagende.

Muto wange Diana Turyamureeba yanneesibako tugende nneme kusigala waka nzekka.

Ebintu Baze bye yakola byokka byanviirako okufuna omutima ogumwagala. Nalaba omusajja alina okugulu okumu ng'alinnye waggulu ku loole, afunye obuvumu obusaba akalulu ate n'avaayo n’avuga akagaali ate nga nze okuva mu buto bwange nga njagala nnyo abantu abansoomooza.

Okunoonya akalulu bwe kwaggwa yatuvuga n’atuzza awaka, nneewuunya omusajja alina okugulu okumu, asobola okuvuga emmotoka naye bw’atutuusa awaka yaηηamba nga bwe mmufaananidde omukyala gwe yali agenda okuwasa kyokka nga nange nali mmaze emyezi etaano nga omuvubuka gwe nali nnina twawukanye.

Kino kyansigala ku mutima, yatandika okujjanga awaka ng’afuuse mukwano gwaffe. Naye olumu aba asiibula yatusaba ffenna ennamba zaffe awaka, kumbe naye ali ku kakodyo kaakufuna ssimu yange era wano we twatandikira okunyumya na kati omukwano gweyongera bweyongezi, tulina omwana omu ye Rhonita Balimwezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.