TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Omusolo ku mafuta ne sigala gulinnye ate bbo abakozi b'amasannyalaze g'enjuba basambira waggulu

Omusolo ku mafuta ne sigala gulinnye ate bbo abakozi b'amasannyalaze g'enjuba basambira waggulu

By Ahmed Mukiibi

Added 9th June 2016

Omusolo ku mafuta ne sigala gulinnye ate bbo abakozi b'amasannyalaze g'enjuba basambira waggulu

Ci1 703x422

sigala n'emafuta biteereddwako omusolo omukakali

MINISITA Kasaija, bwe yabadde ayanjula bajeti y'eggwanga, yategeezezza nti ettundutundu erisinga obunene ery'ensimbi gavumenti z'egenda okusaasaanya mu mwaka 2016/17, zigenda kukuηηaanyizibwa mu misolo.

Ku nsimbi obuwumbi 26,361 eza Bajeti empya, Minisita Kasaija yagambye nti obuwumbi 12,914 n'obukadde 300 zigenda kukuη− ηaanyizibwa kitongole kya musolo ekya URA. Ensimbi eziva mu misolo zeeyongedde okuva ku buwumbi 11,598 ezaabalirirwa okukuηηaanyizibwa mu mwaka 2015/16 , okutuuka ku buwumbi 12,914 n'obukadde 300 ezisuulirwa okukuηηaanyizibwa mu bajeti empya.

Kino kitegeeza nti omuntu wa bulijjo alina kwesiba bbiri anywere kubanga emisolo gino, gavumenti egisuubira kugikamula mu bo wakati mu mbeera y'ebyenfuna ey'okuluma obujiji.

EMISOLO EMIPYA Omusolo ku Petulooli ne Dizero gulinnye Minisita Kasaija yalangiridde nti omusolo ku mafuta aga Petulooli ne Dizero gavumenti egwongezzaamu 100/- ku buli liita.

Kino kitegeeza nti buli liita ya Petulooli gavumenti egenda kugisoloozaako 1,100 mu mwaka 2016/17 okuva ku 1,000/- z'ebadde emusoloozaako mu 2015/16. Ku mafuta ga Dizero, gavumenti egenda kusolooza 780/- buli liita mu mwaka 2016/17 mu kifo kya 680/- z'ebadde esolooza ku buli liita mu 2015/16.

 bateeka ennamba zobwannannyini ku mmotoka nabo bubakeeredde Abateeka ennamba z'obwannannyini ku mmotoka nabo bubakeeredde

Kyokka waliwo essuubi nti ebbeeyi y'amafuta eyinza obutalinnya kubanga mu kiseera kino ebbeeyi yaago ku katale k'ensi yonna eri wansi. Ku masundiro g'amafuta agasinga liita ya Petulooli eri wakati wa 3,500/- ne 2,900/- ate Dizero ali ku 2,400/- ne 2,600/-. Omusolo ku ttaka: Gavumenti eyongezza omusolo ku kukyusa obwannannyini ku ttaka. Omusolo guno oguyitibwa ‘Stamp Duty’ ogubadde ku kitundu 1 ku 100 eky'ebbeeyi y'ettaka, gavumenti egulinnyisizza okutuuka ku bitundu 1.5 ku 100.

Kino kitegeeza nti ssinga ogula ettaka lya bukadde 10, okukyusa ekyapa okubadde kusasulirwa 100,000/- kati mu Bajeti empya 'Stamp Duty' ya kubeera ku 150,000/-. Emisolo ku migaati n’ebiwoomerera: Mu bajeti eno, gavumenti eyongezza omusolo ku migaati, keeki n'ebiwoomerera ebirala nga swiiti, Chewing gum ne cokoleeti okuva ku bitundu 10 ku 100 okutuuka ku bitundu 20 ku 100.

Mu bajeti eya 2015/16, gavumenti yassaawo omusolo omupya ku migaati, keeki n'ebyokulya ebigwa mu kkowe eryo gwa bitundu 10 ku 100. Omusolo guno gugenda kukosa ebbeeyi y’ebintu bino kubanga ababikola tebajja kwagala musolo guyingira mu magoba gaabwe. Emisolo ku sigala Abanywi ba sigala, bajeti y'omwaka guno egenda kubanyigamu olw'omusolo gavumenti gw'eyongezza. Ku buli minwe 1,000 egya sigala owa 'Soft cap' gavumenti eyongezza omusolo okuva 45,000/- okutuuka ku 50,000.

Ku Sigala ow'ekika ekya 'Hinge Lid' ku buli minwe 1,000, gavumenti eyongezza omusolo okuva ku 75,000/- okutuuka ku 80,000/-. Ate ayitibwa Cigar, Cheroots ne Cigarillos gavumenti emutaddeko omusolo gwa bitundu 200 ku 100 okuva mu bitundu 150 ku buli 100. Ennamba z’emmotoka Minisita Kasaija yalangiridde nti omusolo ku nnamba z'emmotoka okuli amannya g'abantu oba ebigambo nnannyini mmotoka by'ayagala gulinnye ebitundu 200 ku buli 100.

 bakola amasannyalaze genjuba bbo balidde nga balimi anti sibaakuggyibwako musolo Abakola amasannyalaze g'enjuba bbo balidde nga balimi anti sibaakuggyibwako musolo

 

Kati omuntu ayagala ennamba y'emmotoka okuli amannya ge waagugisasulira obukadde 20 okutandiika nga July 1, 2016, nga ssente zino zirinnye okuva ku bukadde 5, ennamba eyo z'ebadde egula. Abakola eby’amasannyalaze g’enjuba basonyiyiddwa VAT Mu kaweefube wa gavumenti okusikiriza abantu okwettanira amakubo amalala ag'ebyamasannyalaze agatali agava mu mabibiro, gavumenti esazeewo obutasolooza musolo gwa VAT ku bakola ebintu ebyamasannyalaze ag'amaanyi g'enjuba (Solar).

Minisita Kasaija yagambye nti okutandika nga July 1, 2016, abantu oba kkampuni ezikola ebintu eby’amasannyalaze ag'enjuba, amasannyalaze ag'empewo, n'amasannyalaze ag'ebbugumu eby'omu ttaka basonyiyiddwa VAT. Omusolo ogwa VAT ogubasonyiyiddwa, Minisita yagambye nti gwe gubadde guggyibwa ku bintu bye bakozesa mu bizinensi ez'okukola eby'amasannyalaze ago. Abagatta bizinensi ezitakola balidde: Gavumenti esuulidde tawulo, abasuubizi ne bannamakolero abalina bizinensi ezitakola magoba. Minisita Kasaija yalangiridde nti omuntu yenna asalawo okugatta bizinensi ezitakola magoba oba okugula bizinensi ebadde tekola magoba, gavumenti ejja kumusonyiwa emisolo okusobozesa bizinensi eyo okuda engulu. Yagambye nti kino gavumenti ekikoze ku lw'obulungi bw’ebyenfuna by'eggwanga n'okwanguyiza abaagala n'okugatta bizinensi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Crisps4webuse 220x290

Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe...

Okusoma ebya bizinensi nalina kusiika kulisipu za ndiizi ne nsoboa okusasula fiizi.

Kamunguluze 220x290

Bamuggunze eng'uumi n'awunga

TONY Bellew baamuwumizza ekikonde 'tonziriranga', ne kitakoma ku kumusubya musipi, wabula ne kimuleka ng'awunze....

Suzanmuwonge 220x290

Engeri Susan Muwonge gy’alidde...

Mu mpaka ezaawedde eggulo e Mbale, Super Lady (musomesa), yawangudde Mbale Rally bwe yavugidde essaawa 01:33:38...

Toronto 220x290

Mutabani wa Mesach ekintu akiwanise...

Katende ali ku misomo mu Toronto University mu Canada gye yalagidde obukugu mu kucanga omupiira era empaka zaagenze...

Ssekamatte1 220x290

Muwala ki ono akozesa Ssekamatte...

MU basajja abalidde obulamu, Grace Ssekamatte gwe baakazaako erya ‘Kirikitya’ tomubuusa maaso.