TOP

Ebyokwerinda biweereddwa obuwumbi 1,588

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2016

Ebyokwerinda biweereddwa obuwumbi 1,588

Ga1 703x422

Adolf Mwesige minisita w’ebyokwerinda

GAVUMENTI eweze nga bw’egenda okufi irawo mu kukuuma ebyokwerinda by’eggwanga olwo kiyambe abantu okukola emirimu gyabwe nga tewali abatataaganya. Kino egenda kukikola ng’eyita mu kutumbula obukulembeze obulungi, obuzingiramu okukuuma emirembe ne Bannayuganda n’ebintu byabwe, enfuga ey’amateeka n’okuwa embalirira eri Bannayuganda. Kino Gavumenti efubye okukikola era kikyusizza eggwanga lino.

EDDEMBE N’EBYOKWERINDA

Eddembe, ebyokwerinda n’obutebeenkevu mu ggwanga kye kisumuluzo ky’ebyenkulaakulana y’ebyenfuna by’eggwanga. Gavumenti ya NRM ebitaddewo mu myaka 30 era Bannayuganda babirabye nga kino kijja kusigala kityo ne mu myaka egijja.

Omwaka oguwedde wabaddewo enkulaakulana ez’omuggundu mu magye n’okugafuula ag’omulembe okusobola okukuuma obutebenkevu. Ebitongole ebikuumi biyingizza abantu ab’enjawulo n’okutendekebwa mu bukodyo obutali bumu, okukyusa n’okwongera amaanyi mu mbeera z’amagye.

Mu mbeera eno, amagye ga UPDF geenyigidde mu mirimu egikulaakulanya ebitundu n’eggwanga okutwaliza awamu okugeza mu byobulimi n’obulunzi wansi w’enkola ya Operation Wealth Creation.

Amagye gongedde okukuuma eggwanga obutabaamu bikolwa bya kitujju wadde okutiisibwatiisibwa kwonna mu byokwerinda olwo abantu ne bakukola emirimu gyabwe ne balya ne ku bulamu.

Era mu mbeera eyo obutebenkevu bw’eggwanga buteereddwaako obuwubi 1,588 okusigala nga bakola bulungi emirimu gyabwe. Mu mwaka guno, Gavumenti yaakwongera amaanyi mu kutumbula enfuga ey’amateeka, okulaba nga buli muntu afuna obwenkanya era kkooti zaakufuba okulaba nga tezirwisaawo misango.

Abakozi ba Gavumenti baakwongera okukola n’okussa mu nkola ebigendererwa bya gavumenti okulaba nga batuusa empeereza ennungi ku muntu wa wansi. Okulaba nga ssente z’omuwi w’omusolo zikwatibwa bulungi n’okubaawo obwerufu mu kuwa embalirira n’enkozesa yaazo. Kino kyakukolebwa okulaba ng’obuli bw’enguzi nga buggwa mu bitongole bya Gavumenti kisobozese abantu okufuna empeereza ennungi.

Okutereeza olukalala okusasulirwa emisaala n’akasiimo eri abaaliko abakozi ba Gavumenti, kyayamba okuggyamu abo ab’empewo era kati gavumenti esobola okufi ssa obuwumbi 300 buli mwaka. Enkola ng’ezo n’okuteekawo akawunti emu zijja kugenda mu maaso okumalawo obukenuzi mu ggwanga.

Okumaliriza okugaba densite z’eggwanga n’okuteeka ebintu byonna n’ebyokusasula mu nkola ya kompyuta okwanguya emirimu.

EBY’OKUTEEKEBWAKO AMAANYI

Gavumenti yakwekenneenya n’okukola enkyukakyuka mu minisitule ne Gavumenti ez’ebitundu okusobola okwongera empeereza ennungi. Okwongera okutuusa empeereza ya Gavumenti ku bantu n’okulaba ng’abakozi ba Gavumenti bafuna emisaala gyabwe mu budde n’obusiimo.

Enkiiko za Gavumenti n’emisomo gyonna egya minisitule gijja kutuula mu bisenge bya Gavumenti byokka, okuggyako mu mbeera eteewalika. Eηηendo z’abakungu zijja kuba ntono ate nga zimala kwekeneenyezebwa bulungi.

Omubalirizi yenna anaawangayo ensimbi ku ηηendo ezitamaze kwekeneenyezebwa ajja kuvunaanibwanga okukozesa obubi ssente za gavumenti. Okwongera okulondoola pulogulaamu za gavumenti okulaba nga zituuka ku muntu waabulijjo. Okulwanyisa enguzi nga Gavumenti eziba amakubo mweyita n’okukangavvula abo ababa bakwatiddwa nga bagirya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...