TOP

Abasomesa babongezza emisaala

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2016

Abasomesa babongezza emisaala

Lo1 703x422

Omusomesa ng’ayigiriza abayizi. Omusaala gwabwe gwongezeddwa.

GAVUMENTI etadde obuwumbi 2,745. 76 ku byenjigiriza mu mwaka gw’ebyensimbi 2016/ 2017. Eyagala okwongera omutindo ku masomero ga pulayimale, ssekendule n’amatendekero g’eby’emikono nga balongoosa mu bisomesebwa n’omutindo gw’abayizi abafulumizibwa kyongere ku busobozi n’omuwendo gw’abantu abasobola okusoma n’okuwandiika mu ggwanga n’okwongera ku mutindo gw’abakozi.

Lipooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku miwendo mu ggwanga eya 2014, yalaga nti abantu 72 ku buli 100, waakiri babugumyeko nga kino kivudde ku muwendo gw’abaana abayingira amasomero ga pulayimale okweyongera okuva ku bukadde 8 n’emitwalo 50 okutuuka ku 8,800,000, akakadde 1 n’emitwalo 39 mu ssekendule okuva ku kakadde kamu n’emitwalo 36.

Mu 2015, omuwendo gw’abayizi abaayita ebigezo okugenda mu kibiina ekirala gwateekebwa ku bitundu 88 n’obutundu 3 ku buli 100, ate ebitundu 91 ku bayizi ba ssekendule ng’omuwendo gw’abawala mu pulayimale gukubisa ogw’abalenzi ebitundu 100 wabula mu ssekendule n’amatendekero g’emikono, wakyetaagawo omulimu ogw’amaanyi.

OMUSAALA GW’ABASOMESA MU MATENDEKERO GULINNYISIDDWA

Okwongera amaanyi mu matendekero ag’emikono, omusaala gwabwe gulinnyisiddwa n’obuwumbi 50. Ate mu kutuukiriza ekisuubizo kyaPulezidenti kye yeeyama okwongeza emisaala gy’abasomesa mu yunivasite za Gavumenti n’abakozi abatali basomesa, minisita yataddewo obuwumbi 78 mu mbalira y’omwaka oguddako okwongera ku musaala gwabwe.

OMUTINDO GWA PULAYIMALE GUGUDDE Omutindo gwa pulayimale gugudde okuva ku bitundu 45 n’obutundu 2 ku 100 okutuuka ku 40 n’obutundu 8 wakati w’omwaka 2012 ne 2013 n’omuwendo gw’abayizi abasobola okusoma n’okuwandiika gugudde okuva ku bitundu 39 n’obutundu 4 okutuuka ku bitundu 38 n’obutundu 3.

Abayizi abasoma okuva mu kibiina ekisooka ne bamalako ekibiina ekyokutaano nagwo gusse okuva ku bitundu 60 n’obutundu 6 okutuuka ku 59 n’obutundu 9 ku buli 100 wakati wa 2014 ne 2015. Ate abava mu P5 okutuuka mu P7, omuwendo gwabwe gusse okuva ku 32 n’obutundu 9 okutuuka ku 30 ku buli 100. Mu sekendule obusobozi bw’abayizi mu ssomo ly’okubala mu kibiina kya S2 kusse okuva ku 46 n’obutundu 9 okutuuka ku 41 n’obutundu 5 ku 100 mu 2014, era kino kyetaaga okusalira amagezi mu bwangu.

EBIGENDA OKUKOLEBWA MU 2016/17 Wateereddwawo obuwumbi 6 n’obukadde 672 okufuna abasomesa abagenda okusomesa abayizi abatonotono mu ngeri ey’enjawulo mu matendekero 20 agaazimbiddwa. Obuwumbi 14 n’obukadde 90 ziteereddwawo okwongera amaanyi mu yunivasite ssatu ezigenda okusomesa amasomo agakwata ku byassaayansi mu disitulikiti okuli; Soroti, Kabale ne Lira.

Bino bigenda kwongera ku by’enfuna y’eggwanga. Obuwumbi 6 buteereddwawo okugaziya ku ssente eziwolebwa abayizi mu looni n’okulabirira abayizi 1,000 ab’ekibinja eky’okubiri n’abalala 200 abasoma dipulooma okwongera omukisa gw’okwegatta ku matendekero aga waggulu.

Obuwumbi 112 buteereddwawo okwongeza ku misaala gy’abasomesa ba pulayimale ebintu 15 ku buli 100 era kino kye kigenda okubeera ekitundu ekisembayo mu nteekateeka ya Gavumenti ey’okwongeza abasomesa ebitundu 50 nga bwe baasubizibwa.

Abasomesa n’abakulu b’amasomero balina okukasa nti tebeebulankanya ku mirimu, okutuuka ekikeerezi n’okunnyuka amangu basobole okufuna ekitundu kino ekisembayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera