TOP

Ebyobusuubuzi byekubidde

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2016

Ebyobusuubuzi byekubidde

Na1 703x422

Amelia Kyambadde ow’ebyobusuubuzi

SSENTE z’ebweru eziva mu byamaguzi Uganda by’etunda mu mawanga ga Bulaaya ntono nnyo okusinziira kwezo ze tusaasaanya nga tugula ebyamaguzi e Bulaaya ng’ekitegeeza eggwanga terifunamu.

Okuddirira mu by’obusuubuzi kivudde ku kugwa kw’ebbeeyi y’ebirime mu mawanga ag’ebweru omuli emmwanyi, amajaani n’ebyobugga eby’omu ttaka ate nga bino bye bimu ku bintu ebyali bisinga okuyingiza ssente.

Abasuubuzi okukyusa obuufu ne babwolekeza ebyamaguzi ebikolebwa e China kizingamizza ebyamaguzi ebirala ku katale.

Doola gy’ekomye okufuuka ey’omuzinzi, eyongedde okunafuya ssente za Uganda nga kati okugula ebyamaguzi mu Bulaaya oteekwa okuba ne ssente za Uganda eziwerako ekintu ekinafuyizza ebyobusuubuzi.

N’amawulire amakyamu agaayogerwa ku kalulu ka 2016 nga bwe kanaabeeramu obunkenke, kyavaako ssente z’eggwanga okugwa ebbeeyi okutuuka ku bitundu 39 ku 100 nga kati ssiringi ya Uganda yaakadda engulu ebitundu 10 ku 100 olw’akalulu okugwa ne watabaawo mutawaana.

Ssente ezaava mu byamaguzi ebyayingira Uganda zaali Doola obukadde 5,647 kyokka nga ze twafuna mwebyo bye twatunda ebweru zaali doola obukadde 2,669 ekitegeeza nti enjawulo eri wakati wa bitundu 50 ku 100. Okukulaakulana kw’amakolero kusse ebitundu 3 ku 100 bw’ogeraageranya ku 7.8 ku 100 nga bwe gwali omwaka oguwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10