TOP

Bapangisizza owa sipensulo mu Kisenyi ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2016

Bapangisizza owa sipensulo mu Kisenyi ne bamutta

Ku1 703x422

Deus Muyunga, abadde akolera ku siteegi y’omu Kisenyi - Mengo.

OMUKAZI amaze ennaku essatu ng’asuubira nti bba, omuvuzi wa sipensulo, yapangisibwa kasitoma okumutwala ku safari, agguddewo ekigwo bwe bamukubidde essimu ne bamumubikira nti abatemu baamusse.

Juliat Nalubowa ow’e Maganjo A mu divizoni y’e Nabweru mu Wakiso, ye yagudde ku kibambulira, bba Deus Muyunga, 52, bwe yattiddwa abantu abatannategeerekeka. Muyunga abadde akolera ku siteegi y’e Kisenyi-Mengo mu Kampala. Omulambo gwe baagusuudde e Kigumba ku luguudo lw’e Gulu.

Nalubowa eyasangiddwa mu maka ge eggulo ng’amaziga gamuyitamu, yagambye nti waliwo abantu abaakubira bba essimu ku Ssande ku makya n’avaawo ng’amutegeezezza nti abatwala Kigumba.

“Oluvannyuma lw’okukubirwa essimu, yayambala mu bwangu n’avaawo ng’andekedde 20,000/- ez’okwekuumisa nti kyokka yali asuubira okudda amangu. Bwe nnamulinda ennaku bbiri nga simulaba kwe kugenda ku poliisi y’e Maganjo ne nzigulawo omusango gw’okubula kwa baze,” Nalubowa bwe yannyonnyodde.

Moureen Nalubega, muwala w’omugenzi, eyawondedde kitaawe e Kigumba eggulo, ye yakubidde nnyina essimu okumubikira bba oluvannyuma lw’okulagibwa omulambo ogwasangibwa ku kkubo n’azuula nga ye kitaawe.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti bakola ekisoboka okuzuula abatemu bano kyokka n’awa aba sipensulo amagezi okwekengera ennyo abantu ababapangisa nga babatwala ku hhendo empanvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...