TOP

Abawala basatu bafiiridde ku kyeyo-Omu afudde akaaba olubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2016

Abawala basatu bafiiridde ku kyeyo-Omu afudde akaaba olubuto

Wi1 703x422

Whitney eyafiiridde ku kyeyo

MARIAM Nabukeera ye yasoose okufa mu ngeri ekyaliko ebibuuzo! Whitney Nakkazi n’addako era mu kaseera katono n’omuwala omulala Munnayuganda Faridah n’afa nga kigambibwa nti ono yasoose kusobezebwako kirindi!

Abawala bonna basatu babadde ku kyeyo e Dubai ne Turkey era famire zaabwe zitankana enfa yaabwe ku myaka emito ennyo.

NABUKEERA YAFUDDE AKAABA LUBUTO

Nabukeera yafi iridde ku myaka 28 gyokka era ku kyeyo e Turkey abadde amazeeyo emyaka ebiri.

Bwe yagenda mu 2014, yasooka kufuna mulimu mu kkolero ly’engoye kyokka banne bagamba nti w’afi iridde nga yaakamala okufuna omulimu omulala ogw’okwolesa emisono n’okutunda engoye mu maduuka g’omu kibuga Istanbul.

Muwala wa Huseine Ssenjala omutuuze e Masajja mu zooni B ku lw’e Busaabala era aba famire bali mu kiyongobero. Yafi iridde mu katundu k’e Fatih akali ku nkingizzi z’ekibuga kya Turkey ekikulu Istanbul era banne bagamba nti yafudde akaaba kimu, “Munnyambe olubuto lunnnyoola”!

Banne abamu bagamba nti kyandiba nga Nabukeera yaweereddwa butwa. Davis Lukenge amanyiddwa nga Bigs omu ku bali ku kakiiko akatwala Bannayuganda e Turkey yategeezezza nti Nabukeera yabadde n’obulwadde bw’omutima, nga kisoboka okuba nga bwe bwamusse.

Lukenge yategeezezza Bukedde ku ssimu nti: Kibi nnyo Nabukeera atufuddeko mu mbeera etategeerekeka; si kugamba nti abadde mulwadde wabula ekintu kyamugwiridde ng’ali waka era mu ssaawa ntono ng’afudde!

Becky Birungi muganda wa Nabukeera eyasangiddwa mu maka g’abazadde baabwe e Masajja yagambye nti tebannakakasa kituufu kyasse muganda waabwe kubanga abamu babagamba nti kiyinzika okuba nga bwabadde butwa ate abamu ku banne b’abeera nabo babagamba nti yafudde bulwadde bwa mutima obwamugwiridde ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde era n’afa mu ssaawa ntono nnyo.

 ariam kati mugenzi Mariam kati mugenzi

Yagambye nti ku Lwokutaano baayogedde ne Nabukeera ku ssimu ne bakuba olwali nga talina mutawaana gwonna era yaguddewo ekigwo oluvannyuma lw’essaawa 48 okumutegeeza nti mugandawe Nabukeera afi iridde ku kyeyo.

Birungi yayongeddeko nti: Banne b’abadde abeera nabo baatugambye nti baakebedde mu bintu bye ne bazuulamu ebbaluwa z’abasawo eziraga nti abadde mulwadde wa mutima, kyokka nze mbadde njogera nnyo n’omugenzi (Nabukeera) wabula tantegeezangako nti alina obulwadde bwonna obumutawaanya.

Omwezi oguwedde, Nabukeera y’omu ku beetaba ku kabaga ka Bannayuganda akayitibwa Red & White Partyakaategekeddwa mu kibuga Istanbul era keetabwako ne Bannayuganda abaava e Kampala okusanyukira awamu ne bannaabwe abali ku kyeyo.

Lukenge yagambye nti babadde mu kaweefube wa kusonda ssente ezizza omulambo gwa Nabukeera era bawezezza ddoola 7,500 (mu za Uganda obukadde 25) okukola ku nteekateeka nga bakolaganira wamu ne famire y’omuwala e Masajja era bagusuubira okutuusibwa ku kisaawe e Ntebe ku Ssande oluvannyuma baziike e Butambala.

Omuwala omulala abadde amanyiddwa nga Faridah ng’abadde abeera Deira mu Dubai yafudde mu ntiisa. Banne bagamba nti yasoose kusobezebwako kirindi oluvannyuma ne bamusuula ku kkubo we yasangiddwa ng’afudde.

Kigambibwa nti olukwe lwalukiddwa omu ku musajja agambibwa nti yali muganziwe e Dubai wabula ne bafunamu obutakkaanya nga bwekuusa ku ssente ne baawukana. Bannayuganda bakyasobeddwa ku by’okuzza omulambo kubanga famire ya Faridah mu Uganda babadde tebagimanyi nga kati babuliddwa we batandikira.

NAKKAZI ABADDE AGOBERERWA NNYO KU FACEBOOK

Whitney Nakkazi bwe yalabye embeera etabuse, yalinnye ennyonyi n’akomawo mu Uganda okujjanjabwa wabula eby’embi n’afa. Y’omu ku bawala ababadde bagobererwa ennyo ku mukutu gwa Facebook ng’akozesa amannya Whitney Carrie White era abadde n’abagoberezi 8,450. Obubaka obukubagiza bwasaasaanidde nnyo emikutu gya yintaneti naddala Facebook, kw’abadde ateeka ebifaananyi bye eby’enjawulo.

 akkazi itney lweyafulumira ku muko gwaffe ogwa sanyu mu pril wa 2014 Nakkazi Witney lweyafulumira ku muko gwaffe ogwa Ssanyu mu April wa 2014

Nga tannagenda Dubai yasooka kukolera mu ssaluuni mu Kampala era yafulumirako ne mu Bukedde ku muko gwa Ssanyu nga April 14, 2014. Mu kiseera ekyo yali asula Kagoma era bwe bamulukira ddiiru y’ekyeyo e Dubai, kwe kugenda ku nkomerero ya 2014.

Yafudde ku Lwakubiri mu ngeri abooluganda n’abeemikwano gye bakyatankana ng’abamu bagamba nti olumbe olwamusse lwamukwatidde Dubai wabula abalala nga bagamba nti abadde n’obulwadde bw’omutwe obuludde nga bumusumbuwa era bwe bwamusse. Waliwo ne mikwano gye abagamba nti Nakkazi yafunidde olubuto e Dubai lw’abadde teyeetegekedde era ne lumuyisa bubi n’asalawo okudda mu Uganda ku nkomerero y’omwezi oguwedde.Kigambibwa nti yagezezzaako n’okuluggyamu era embeera kwe kutabuka.

Yasoose kujjanjabirwako mu ddwaaliro e Mengo oluvannyuma n’atwalibwa mu ddwaaliro lya KCCA e Kiruddu – Buziga gye yafi iridde. Wabula mugandawe Fiona Nankinga abadde amujjanjaba akaseera akatono k’alwalidde yagambye nti: Whitney yakomawo ku nkomerero y’omwezi oguwedde okuva e Dubai ng’atawanyizibwa omutwe.

Twasooka kumutwala Namirembe (Mengo) mu ddwaaliro ne bamuwa ekitanda n’atereeramu wabula oluvannyuma lw’ennaku ntono yazzeemu okulumizibwa ne tumutwala e Kiruddu mu ddwaaliro lya KCCA gye yafunidde obujjanjabi kyokka babadde baakamusiibula ate yazzeemu okulumizibwa era n’atufaako. Yawakanyizza eby’okuggyamu olubuto n’agamba nti omutwe ogwatandika okumulumira e Dubai gwe gwamusse.

Yaziikiddwa ku Lwokusatu ku kyalo Bugiri okumpi ne Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga mu maka ga bazadde be Salil Gatalimaawule ne Teopista Namakula. Fauzy Katende, nnannyini mayumba g’e Kagoma Nakkazi kwe yasooka okubeera nga tannagenda Dubai, yagambye nti omuwala ono alese abaana babiri be yazaala ne bba Joseph Luutu. Abakungubazi bamwogeddeko ng’abadde n’ekisa era ng’akolagana bulungi n’abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...

Bba 220x290

Bba w’omuserikale bamukwatidde...

BBA w'omuserikale wa Poliisi bamukwatidde mu bubbi ng’amenya edduuka abatuuze ne bamukuba ne bamwasa omutwe ne...