TOP

Essomero lya Kyanjovu e Lwengo lyolekedde okuggalwa

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2016

Essomero lya Kyanjovu e Lwengo lyolekedde okuggalwa

Bu1 703x422

Ankunda

ABAZADDE, abasomesa n’abakulembeze basattira lwa ssomero eryabasakirwa omulabirizi wa West Buganda okuva mu bazirakisa e Poland okuba nga libuliddwa abayizi. Essomero lino lya Kyanjovu Secondary and Vocational Insitute, lisangibwa mu ggombolola y’e Lwengo mu disitulikiti ey’e Lwengo. Emyaka kati ebiri bukya litandikibwawo.

Lyatandika n’abayizi 250 wabula kati bali 35. Ekyewuunyisa kwe kuba ng’essomero lino lirina linnaalyo erya pulayimale eriri mu bizimbe ebikutte mu mbinabina kyokka nga lyo liweza abayizi 750.

AKULIRA EBYENJIGIRIZA AWERA; Akulira ebyenjigiriza mu Lwengo, Doreen Ankunda yagambye nti si baakuleka abayizi abakyagumidde okulisomeramu kuba kyongera okuserebya omutindo gw’ebyenjigiriza mu Lwengo.

Yagambye nti wadde nga lirina ebizimbe ebirungi, baakutema empenda ku bayizi abalimu balabe we babateeka liggalwe singa alikulira tayongeramu maanyi mu lusoma lwa ttaamu eno.

Omusango yagutadde ku baalisaka abataasooka kutunuulira kitundu mwe balizimbye kuba liri wala n’oluguudo. Lyazimbibwa mu ttale nga kizibu abantu okulitegeera. Era n’asuubiza okukola ebikwekweto ku masomero agatalina bisaanyizo gaggalwe.

Omuwandiisi w’obulabiriza bwa West Buganda, Rev.Can Samuel Mwesigwa yagambye nti omugenzi Bp. Godfrey Makumbi yasaka essomero lino ng’atunuulidde obuzibu abayizi bwe basanga okutindigga eηηendo nga banoonya amasomero ga siniya.

Kino yakikola ng’asinzidde ku ssomero lya Kyanjovu P/S eririraanye, abazadde baleme kukaluubizibwa nga banoonya amasomero ga siniya. Mwesigwa yagambye nti essomero lino lirina ebisaanyizo n’abasomesa abatendeke obulungi.

OMUKULU W’ESSOMERO ANNYONNYODDE

Edward Byamazima yasinzidde mu lukiiko lw’abazadde olwatuuziddwa ku ssomero lino n’abasaba okukolera awamu basobole okuddukanya obulungi essomero lino. Yagambye nti omuyizi, omuzadde n’omusomesa be bakola essomero era bwe bataweerezebwa bulungi kye kivaako essomero okugwa.

Yabasabye okumubuulira obuzibu kwe buvudde abayizi okuliddukamu. Essomero lino lyamalawo obuwumbi 2.8 era nga lyateekebwaamu ebikozesebwa omuli entebe ez’omulembe, ebyalaani, kaabuyonjo ne tanka y’amazzi amayonjo ey’omulembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...