OKWAWUKANAKO ne kabineti enkadde ebaddemu Abasiraamu mukaaga, Pulezidenti ku luno yalonze Abasiraamu 9 mu kabineti empya.
Kabineti enkadde, ebaddemu Moses Ali, Ali Kivejinja, Asuman Kiyingi, Sulaiman Madada, Lukia Nakadama, ne Jeje Odong nga ku bano kubaddeko baminisita abajjuvu 2 ate abalala babeezi ba baminisita.
Mu kabineti empya Abasiraamu abaweereddwa obwaminisita obujjuvu ye Kirunda Kivejinja, Moses Ali, Al Haji Abdul Nadduli, Jeje Odong, ne Janat Mukwaya.
Ate Baminisita ababeezi ye Isaac Musumba, Haruna Kasolo, Ismael Orot ne Jennifer Namuyangu (yasiramuka bukulu).
Omwogezi w’ekitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde, Haji Nsereko Mutumba yategeezezza nti bbo beebaza bwebaza kubanga bakkiriza nti, “Avudde mu kabbuli tagaya kitangaala”.
Ono yagambye nti ku mulundi guno bafunyeemu kubanga baminisita abajjuvu bataano n’ababeezi 4. Kyokka Imaamu wa Palamenti Latif Ssebaggala yagambye nti balindiridde olunaku Museveni lw’anaalonda Omusiraamu ku kifo ekinene ng’eky’omumyuka wa Pulezidenti.
Ssaabalabirizi eyawummula, Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo yategeezezza nti, bbo ng’Ekkanisa ya Uganda n’Eklezia Kakatoliki tebeemulugunyangako ku baminisita era kye babasuubiramu kwe kunywerera ku mpagi ezitakontana na kigambo kya Katonda.
Ate Mmengo ng’eyita mu mwogezi Noah Kiyimba yagambye nti mu kabineti mulimu Bannankobazambogo nga Kiwanda, Nakiwala Kiyingi n’abalala era kye babasuubiramu kwe kukozesa ebifo ebyo okutembeeta ensonga za Buganda ssemasonga.
Mu Kabinenti empya, abakyala bafunye ebifo ebiwerera ddala nga ku baminisita abajjuvu balinako 11 ku 30 omuli ne Minisitule ez’enkizo ng’Ebyenjigiriza, Ebyobulamu n’Enguudo.