TOP

Atuze mukazi we n’amwokera mu nju

By SHAMIM NABUNNYA

Added 13th June 2016

BAASOOSE kufuna butakkaanya nga buva ku nsimbi omukazi ze yabadde afunye. Ekyazzeeko, ye musajja okugwa omukazi mu bulago n’amutuga n’amutta.

Azi 703x422

Abantu nga bakung’aanidde ewa Nakyejwe (mu katono).

BAASOOSE kufuna butakkaanya nga buva ku nsimbi omukazi ze yabadde afunye. Ekyazzeeko, ye musajja okugwa omukazi mu bulago n’amutuga n’amutta.

Omulambo yagugalamizza mu buliri n’abukumako omuliro n’aleka nga butuntumuka n’abulawo!

Poliisi ezudde nti Phoebe Nakyejwe yasoose kwerwanako nga tannafa era okumunyoola ensingo kwe kwamumazeemu amaanyi, n’akutuka.

Kiteeberezebwa nti muganziwe Haruna Kasaanya y’eyasaanyizzaawo obulamu bwa Nakyejwe. Poliisi kati eyigga Kasaanya ayambeko mu kunoonyereza ku nfa ya Nakyejwe kubanga okumpi n’obuliri wasangiddwaawo omusipi gwa Kasanya oguteeberezebwa nti gwakozeseddwa mu kutuga omukazi oluvannyuma ne gulekebwa ebbali.

Bambega ba poliisi bannyonnyodde nti okwokya kwakozeseddwa okusaanyaawo obujulizi, abantu balowooze nti Nakyejwe yaggyiridde mu nnyumba! Wabula bambega bakizudde nti oluggi baabadde balusibidde bweru era nga terunywezeddwa nga tekisoboka kuba nga Nakyejwe ate y’eyeesibidde mu nnyumba.

Batuuze banne mu Zooni ya Masajja Kibira A abaasoose okutuukawo nabo bawadde obujulizi obukakasa kino.

Nakyejwe yayidde nnyo okuva wansi ku bigere okutuuka mu kifuba we baabadde babisse amasuuka kyokka obulago tebwayidde nnyo era ky’ekyayambye abasawo e Mulago okwekenneenya ne bazuula nti yasoose kutugibwa.

OMUKAZI YABADDE YAAKAFUNA OBUKADDE 15

Hadijah Namakula mukwano gwa Nakyejwe yagambye nti omukazi ono ne Kasaanya bamaze ebbanga nga babeera bombi e Nansana wabula baafunamu obutakkaanya ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde, olwo Nakyejwe ku kudda e Masajja w’alina akayumba ak’ekikazi.

Nakyejwe abadde alina poloti gye yatunze n’afuna obukadde 15 kw’olwo era kirowoozebwa nti ze zaasikirizza Kasaanya n’amusendasenda badding’ane.

Namakula yagambye nti Nakyejwe yamutegeezezza akawungeezi k’Olwokutaano nti Kasaanya yabadde amukubidde essimu ng’ayagala boogeremu era ne bakkaanya Kasaanya y’aba ajja e Masajja ewa Nakyejwe.

Abatuuze bagamba nti baalabye Kasaanya ng’ayingira ewa Nakyejwe mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga, wabula kyabakubye wala okukeera ku makya nga balaba omuliro ogufubutuka mu nnyumba ya Nakyejwe era okugenda okutuuka ku luggi nga balusibidde bweru ate nga terunywezeddwa; nga Nakyejwe mufu ate nga Kasaanya gwe baalabye ayingira, talabikako.

Ng’oggyeeko omusipi gwa Kasaanya, poliisi yazudde n’emmwaanyi ezaabadde mu matu ezaabadde ziririddwaako nga kiteeberezebwa nti Kasaanya y’eyaziriddeko nga tannakola butemu buno kubanga abamumanyi bagamba nti awoomerwa nnyo emmwaanyi.

Ekyewuunyisa, ensawo ya Nakyejwe ey’omu ngalo n’essimu tebyasangiddwaawo nga kiteeberezebwa nti essimu yatwaliddwa kusaanyaawo bujulizi ate ensawo mwe mwabadde ensimbi ezigambibwa nti zaabadde obukadde 11 kubanga ku bukadde 15 ze yabadde afunye yabadde aggyeeko obukadde 4 azongere mu bizinensi ya Saluuni gy’abadde akola.

Saluuni ya Nakyejwe ebadde Nansana. Kigambibwa nti Kasaanya okutabuka ne Nakyejwe yasoose kumulumiriza bwenzi n’akimussaako nti yafunyeeyo omusajja omulala era yalowoozezza nti n’ensimbi zino bagenda kuzikozesa n’omusajja omupya, kwe kuyingirawo.

Akulira okunoonyerezza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe Cyprian Byamugisha yategeezezza nti bagguddewo fayiro y’obutemu SD:06/11/06/2016 nga kati bayigga Kasaanya abitebye.

Poliisi yagambye nti amasimu g’omusajja gonna yagaggyeeko ate ne we baabadde bamuteeze mu kuziika teyalabiseeko.

Oluvannyuma lw’abasawo okwekebejja omulambo e Mulago, baagukwasizza abooluganda ne baziika eggulo e Ssisa mu Wakiso.

Nakyejwe alese abaana basatu be yazaala emyaka etaano egiyise nga tannafuna Kasaanya. Ye ne Kasaanya babadde tebannazaala mwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda