TOP

Edduuka lya Airtel eryabiddwa likwasizza 22 e Mpigi

By Paddy Bukenya

Added 14th June 2016

Edduuka lya Airtel eryabiddwa likwasizza 22 e Mpigi

Mpi1 703x422

Abavubuka abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka nga bali ku poliisi e Mpigi

POLIISI ye Mpigi  ekoze ekikwekweto mweyooledde abavubuka 22 abagambibwa okuzannya zzaala ssaako n'okutunda amayirungi.

Ekikwekweto kino kigidde mu kiseera oluvannyuma lw'ababbi abatannategeerekeka  okumenya edduuka lya kampuni ya  airtel e Mpigi ne babba obutitimbe bw'ensimbi n’ebyuma bikalimegezi  wiiki ewedde .

Abakwatiddwa basoose kwenyoola ne poliisi nga ebakwata kyokka  bwe babatuusizza ku kitebe kya poliisi ye Mpigi ne batandika  okwegayirira babasonyiwe nti babadde balaba mupiira nga n'abalala  babadde bagezaako kulembeka bafune eky'okulya.  

Aduumira poliisi mu Mpigi Ahmed Kimera Sseguya agambye nti  obumenyi bw'amateeka bubadde bususse mu kitundu era n'agamba nti  ebikwekweto bino bikyagenda mu maaso okulaba nga obubbi  bukendeera mu kitundu era nti baakuggulwako emisango batwalibwe  mu kkooti bavunaanibwe kuba balabika beebenyigira mu bubbi  n'obumenyi bw'amateeka ng’okuteega abantu ne babatemula  ne kigendererwa kyokubabba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu