TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Omulamuzi awakanyizza ekya Besigye okuwozesebwa e Luzira- Waakudda mu kkooti nga 29-6-2016

Omulamuzi awakanyizza ekya Besigye okuwozesebwa e Luzira- Waakudda mu kkooti nga 29-6-2016

By Joseph Mutebi

Added 15th June 2016

Omulamuzi awakanyizza ekya Besigye okuwozesebwa e Luzira- Waakudda mu kkooti nga 29-6-2016

Gye1 703x422

Besigye mu kkooti e Nakawa

DR Kizza Besigye asinzidde mu kaguli ka kkooti y’e Nakawa n'ategeeza  omulamuzi ng’obulamu bwe bwebuli mu matigga era nakkaatiiriza nti ne bwe bamukwata ne bamusibira ku poliisi e Moroto yagwa mu lukwe lw’okumuwa obutwa.

“Ssebo omulamuzi olunaku lwe nasembayo okulabikako mu kkooti eno nayagala okulaga okwemulugunya kwange engeri gye ntulugunyizibwamu poliisi ng’eri wamu n’ekitongole ekiwaabi ky’emisango nga banteekako emisango egy’amaanyi naye nga bannyima omukisa okwewoozako” bwatyo Besigye bweyategeezezza.

 mulamuzi wa kooti ento e akawa awanda ngawuliriza ensonga za esigye Omulamuzi wa Kkooti ento e Nakawa Mawanda ng'awuliriza ensonga za Besigye

Besigye yagambye nti okumanya poliisi erina ekkobaane okumutulugunya bwe bamukwata nga May/11/2016 ne bamusibira ku poliisi e Moroto  baggyawo abaserikale ba poliisi bonna abakolera ku poliisi eno ne baleeta abapya abambala yunifoomu enzirugavu n’abasibe benasangamu ne babaggyawo ne babatwala awalala ne nsigalamu nzekka.

Ku lunaku olw’okubiri amasanyalaze gavaako ne nsaba DPC akkirize abenganda zange e Moroto bandetere ttooci kye bakola. Ekiro  ku lunaku luno nneewuunya ggeeti emu eri ku poliisi eno yali tegaddwa ng’ate olunaku olwasooka zonna zaasula nzigale.  

 esigye ngawa obujulizi mu kkooti e akawa Besigye ng'awa obujulizi mu kkooti e Nakawa

“Nabuuza abaserikale abali bankuuma ekiro lwaki ggeeti emu yali tegaddwa ne bangamba nti bali bakolera ku biragiro bya mukama waabwe DPC ne mbasaba bamumpitire nagaana okugya ne bansindikira omulala eyalagira ggeeti eggalwe era ne ggwalwa”.

Mu kiro ssaawa nga 8:00 nawulira enswagiro y’omuntu ali mu gagatto aganenne ng’agya mu kadukulu mwenali ne muliisa ttooci okugenda okulaba nga ndaba omuntu eyali ayambadde engoye enzirugavu nga yenna yesiibye akakookolo era bwe yalaba tooci nadduka.

 oliisi eyiiriddwa mu bungi okutangira abawagizi ba esigye ababadde basuubirwa okujja okukola effujo ku kkooti Poliisi eyiiriddwa mu bungi okutangira abawagizi ba Besigye ababadde basuubirwa okujja okukola effujo ku kkooti

 

“Kino nkakasiza ddala nti omuntu ono alabika yali ayagala kumpa butwa kubanga abantu bangi abali ku ludda oluvuganya gavumenti nga nze abafa mu ngeri etategeerekeka. Era ne Luzira nasabye obukuumi ndi mu kkomera naye akasenge ke nsulamu bakakuuma” bwatyo Besigye bweyategeezezza.            

Mu ngeri y’emu omulamuzi akulira kkooti ento  e Nakawa  James Mawanda Eremye  ali mu musango guno yasoose kusala ggoye ku kusaba kw’omuwaabi wa gavumenti kweyateekayo nga nga June,01,2016 ng’asaba omulamuzi akkirize Besigye awoozesebwe mu kkooti y’e Luzira olw’ensonga y’eby’okwerinda omulamuzi kye yagaanye.

 oliisi nga yenyoola nomukunzi wabawagizi ba esigye ngrid urinawe Poliisi nga yenyoola n'omukunzi w'abawagizi ba Besigye Ingrid Turinawe

“Kituufu  kkooti esobola okutula awantu wonna singa amateeka gaba gakikkiriza naye  era ddembe ly’omuwawaabirwa Dr Kizza Besigye okusigala ng’asomerwa omusango mu kkooti eno e Nakawa” Bwatyo omulamuzi bweyategeezezza.            

Nga bino bigenda mu maaso omulamuzi  yawadde  Besigye omukisa okwongera okubuulira kkooti okwemulugunya kwe ku bimunyigiriza era Besigye n’agamba nti poliisi elemesa ab’oluganda lwe , emikwano n’abawagizi be  okujja mu kkooti ku lunnaku lwe bamuleeta okuwulira ekigenda mu maaso.

 byokwerinda bibadde gguluggulu ku kkooti e akawa nebitundu ebiriraanyeewo Eby'okwerinda bibadde gguluggulu ku kkooti e Nakawa n'ebitundu ebiriraanyeewo

 

Wano omuwaabi wa gavumenti Doreen Elima we yawanikidde omukono n’agamba nti  okwemulugunya kwona Besigye kw’agenda mu maaso okukola mu kkooti eno kumenya mateeka kubanga avunaanibwa musango munene ogw’okulya mu nsi ye olukwe era alina kumala kutwalibwa mu kkooti enkulu.

Wabula omulamuzi yagambye nti Besigye alina eddembe okutegeeza kkooti okwemulugunya kwe  kubanga gwe  mukisa gwokka gw’alina okutegeeza kkooti ebigenda mu maaso ku mbeera gy’ayitamu.

Besigye yagambye nti  mu nsi ezikuze omuntu bagenda okumukwata ng’obujjulizi bamaze okubufuna ekitali mu musango gwe.  Yasabye omulamuzi wiiki ebbiri ze bamwongedde  asaba aludda oluwaabi bwe luba lulina obujjulizi obunnumika babuleete babuweeyo mu kkooti eno esobole okunsindiika mu kkooti enkulu atandike okuwooza bwekiba nti ba bulina kye yagambye nti abuusabuusa okubeeera nga babulina.

 ugisha untu ngabuuza ku izza esigye mu kkooti e akawa Mugisha Muntu ng'abuuza ku Kizza Besigye mu kkooti e Nakawa

 

Omulamuzi yagambye nti okwemulugunya kwa Besigye ku limu eggumba poliisi n’ebitongole by’okwerinda ebirala okugenda mu maaso okutulugunya n’okugaana abantu ba Besigye okujja mu kkooti  okuwulira ebigenda mu maaso mu musango gw’omuntu waabwe Wabula n'alabula n’abawagizi be okukomya obutassa kitiibwa mu kkooti nga batuusemu nga bwe kyali nga June,01,2016. Bwe balemesa kkooti okugenda mu maaso ne misango emirala nga bagiyisamu amaaso. Besigye agenda kudda mu kkooti nga June 29, 2016.

 esigye ngatuuka ku kkooti e akawa Besigye ng'atuuka ku kkooti e Nakawa

Omulamuzi awadde Besigye amagezi nti bwaba ayagala okweyimirirwa waddembe okuwereza okusaba kwe mu kkooti enkulu wadde tanasindikibwayo.  

Mu ngeri y’emu abawagizi ba Besigye ababadde basibiddwa wabweru wa kkooti ng’omusango gugenda mu maaso bakoze efujjo nga bayogerera poliisi ne pulezidenti Museveni ebisongovu era okukakkana ng’abamu bakwatiddwa okwabadde Ingrid Turinaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...