TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Lutaaya ne Mukyala we baasimattuse okuttibwa ababbi abaabambudde-Singa tubadde babi twandirese omusaayi guyiika-Babbi

Lutaaya ne Mukyala we baasimattuse okuttibwa ababbi abaabambudde-Singa tubadde babi twandirese omusaayi guyiika-Babbi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2016

Lutaaya ne Mukyala we baasimattuse okuttibwa ababbi abaabambudde-Singa tubadde babi twandirese omusaayi guyiika-Babbi

Lut1 703x422

Lutaaya ne mukazi we Irene mu maka gaabwe e Munyonyo.

ABAYIMBI ba Da Nu Eagles; Geoffrey Lutaaya, Irene Namatovu n'abalala bana bagudde mu bazigu abaabanyaguludde oluvannyuma lw'okubasiba obundooya n’okubambulamu engoye oluvannyuma ne bakuuliita n’emmotoka ne ssente enkalu.

Bino byabaddewo mu kiro ky’Olwokuna bwe baabadde bava okuyimba mu kabuga k'e Kanoni mu disitulikiti y’e Gomba.

Abazigu abaabadde babagalidde emmundu nga bali mu byambalo by'amagye baabateeze Kalamba mu ggombolola y'e Kabasanda. Lutaaya agamba nti; “Omusajja eyabadde mu kkombati y’amagye ng’akutte emmundu yannyimirizza nga tunaatera okutuuka e Kabasanda (mu disitulikiti y’e Butambala) n’ambuuza nti, ‘Lutaaya ggwe tolina mmundu mu mmotoka omwo?’

Nga bw’alumiriza nti mmotoka ng’eyange ze zitambuza emmundu, yatulagidde ffenna tuveemu kye twakoze. Twabadde mukaaga era wano abazigu abalala babiri abaabadde ebbali w’oluguudo we baaviiriddeyo ne beegatta ku w’emmundu.

Owemmundu yalagidde munne omu atwale mmotoka yaffe agisimbe ku Muzikiti era eno we twakomye okugiraba. Abazigu ababiri abaasigadde baatuwazeewaze ne batuyingiza akasiko nga batusibye emikono mu ngeri y’akandooya, ne batulagira twebake wansi nga twevuunise.

Baatubuuzizza ssente gye ziri ne mbalagirira nti ziri mu nsawo ya Irene ne mu mpale gye nabaddemu. Bankutte mu nsawo ne bazisowolamu era ffenna awamu baatubbyeeko 1,730,000/-. Baatuggyeeko amasimu gonna ne batugamba nti batuyisizza bulungi kuba singa baabadde babi, omusaayi gwandiyiise.

 rene ne utaaya ku kivvulu ekimu Irene ne Lutaaya ku kivvulu ekimu

Nabazzeemu nti ‘temutuyisizza bubi naye mutuyambe layini z’essimu zaffe muzituddize, owemmundu n’alagira munne azituwe kyokka aziggyemu Amanda nti twabadde tuyinza okukubira poliisi.

Baatugambye nti tetufaayo nnyo kuba ssente ze baabadde batututteko zaabadde zaakutuddira mu bivvulu. Oluvannyuma lw’akabanga nga basiriikiridde, baalowoozezza nti bagenze ne batandika okwogera kyokka omuzigu n’abasirisa nti baabadde bakyaliwo.

Ebiwuka byatandise okubaluma, nze kwe kulaajana nti bassebo mutuyambe ebiwuka bituluma. Tewali yatunyeze ne tusitula mpola emitwe nga baagenze dda. Twatambudde ne tutuuka ku poliisi y’e Kabasanda gye twakoledde sitetimenti ne DPC wa Butambala n’ajja ne batandika omuyiggo.

 mmotoka ba utaaya mwebaabadde batambulira eyekika kya lphard  544 Emmotoka ba Lutaaya mwebaabadde batambulira ey'ekika kya Alphard UAY 544Q

 

Mu mmotoka twabaddemu nze, Irene, Shakirah Bogere, Eddie Mubajje, Umar Katumba ne John Nyombi.

POLIISI ERI KU MUYIGGO: Akulira okunoonyereza ku misango mu Butambala, Sulaiman Mukooli akakasizza ekya Balutaaya okubbibwa n’ategeezza nti batandikiddewo omuyiggo gw’ababbi abo ne mmotoka.

Wabula Mukooli agamba nti abayimbi bano we baabatuukiddeko ku ssaawa 9:30 ez’ekiro baabadde tebali mu ngoye nga bali mu andaweya zokka era olwamaze sitetimenti, poliisi y’e Kammengo yabasindikidde kabangali ya ‘patulo’ eyabatuusizza ku luguudo olunene e Mpigi gye baasanze maneja waabwe n’abaleetera engoye.

 ABEBIVVULU BASABYE OBUKUUMI:

Tonny Ssempijja, omukwanaganya w'emirimu mu kibiina kya 'Uganda Music Promoters & Venue Owners Network' asabye poliisi okussa mu nkola kye baagisaba eky’okuwa abayimbi obukuumi ku nguudo ne mu bifo gye bategekera ebivvulu. "Kibi nnyo ekyatuuse ku Balutaaya era ffe tukivumirira naye bino byonna tusobola okubirwanyisa nga poliisi etuwadde obukuumi.

Abayimbi bakyabbibwa kuba ababbi balowooza mu bivvulu gye bava bayoola ssente nnyingi," Ssempijja bwe yategeezezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev2 220x290

Museveni asisinkanye Abasumba ba...

Museveni asisinkanye Abasumba ba Klezia okuva mu Afrika

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya