TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Eyabaddewo ng’omujaasi atta abantu 7 mu baalakisi e Makindye n'omwogezi w'Amagye battottodde

Eyabaddewo ng’omujaasi atta abantu 7 mu baalakisi e Makindye n'omwogezi w'Amagye battottodde

By Ronald Mubiru

Added 18th June 2016

Eyabaddewo ng’omujaasi atta abantu 7 mu baalakisi e Makindye n'omwogezi w'Amagye battottodde

Mag1 703x422

Abajaasi ku ‘yunipooti’ mwe baakuhhanyirizza emirambo.

OMU ku batuuze abakolera okumpi n’enkambi y’amagye (baalakisi) y’e Makindye agambye nti y’aludde okufuna ensisi ng’eyamugwiridde ku Lwokuna ng’omujaasi wa miritale asasira abantu amasasi n’atta munaana.

Ku Lwokuna, Sgt. Isaac Obua, akola mu ddwaaliro lya baalakisi y’e Makindye, yeesuddemu akambaayaaya n’akwata emmundu AK 47 ng’eriko magaziini ssatu, n’asasira amasasi mu bbanga ne ku nnyama okukkakkana ng’asse abantu musanvu naye oluvannyuma ne bamutta.

Omutuuze (amannya gasirikiddwa) agamba nti amasasi gaawandagadde ng’enkuba mu nkambi eno, abajaasi omuli n’abanene ne bagwa kkava, abantu ba bulijjo ne babuna emiwabo n’abamu ne beggalira mu mayumba. Yabittottoledde bwati Bukedde; Ku ssaawa nga 10:00 ez’olweggulo, nawulidde amasasi nga gavugira mu baalakisi y’amagye e Makindye, kwe kusembera ndabe ekibaddewo.

Nagenze okutuukawo nga ndaba abajaasi munda mu baalakisi balya kkava nga n’abantu abaliraanyeewo baggalawo amaduuka n’okwekweka. Nabuuzizza omuvubuka omu mu ssaluuni ekibaddewo n’anziramu nti, “Ggwe tolaba masasi ganyooka mu bbanga?” Olwo amasasi gaabadde gafuluma mu muzikiti oguli mu baalakisi kyokka ne gasiriikiriramu.

Oluvannyuma lw’eddakiika nga 30, amasasi gazzeemu ne gayiika ng’enkuba. Nze n’abantu abalala abaabadde bakuhhanye, twalabye mu baalakisi ng’abakazi bakuba emiranga sso ng’abasajja nga n’abamu bajaasi, baabadde beeyambulamu yunifoomu (kombati eya waggulu) ne basigala mu mpale zokka ne T-Shirt ze bambalira munda.

Wano abamu ku ‘banene’ bamayinja nabalabye nga bagwa kkava n’oluvannyuma ne batandika okukuba amasimu ag’okumukumu ku ‘leediyo kkoolo’. Ku ssaawa nga 11:00, waliwo kabangali enjeru ey’amagye, eyabaddeko abajaasi babiri eyafulumye baalakisi ng’abaserikale bakutte emmundu ng’abali ku bwerinde, n’esibira ku ggeeti y’omu mbiriizi za baalakisi. Baatandikiddewo okugoba abantu abaabadde mu bukuukuulu era bonna ne beesega.

Amasasi gaakomye ku ssaawa nga 11:30 ne wajjawo akasiriikiriro mu kitundu. Wano bakira miranga na biwoobe byokka by’ebiwulirwa mu baalakisi. Oluvannyuma kabangali za poliisi bbiri zazze ne ziyingira mu balakisi.

Zaabadde zikubyeko abaserikale ba poliisi ne zimalamu akaseera ate ku ssaawa nga 12:30, kabangali endala eya poliisi yayingidde balakisi. Ku ggeeti ya baalakisi kwabaddeko abaserikale ba miritale era buli mupoliisi yasoose kwazibwa nga tannayingira.

 bajaasi ku yunipooti mwe baakuhhanyirizza emirambo Abajaasi ku ‘yunipooti’ mwe baakuhhanyirizza emirambo.

Mu nkambi, mwabaddemu boofiisa nga 30 abaabadde mu kafubo era wano abaamawulire baabadde batuuse ku ggeeti ennene kyokka abajaasi ne babagaana okuyingira kwe baatadde okubalagira beeyongereyo mu buwanvu bwa mmita nga 20.

Oluvannyuma lw’eddakiika nga 30, abaamawulire bazzeeyo ku ggeeti ennene abajaasi abagikuuma ne babalagira balindeko, bamale okwogera ne bakama baabwe. Mu kabanga katono, abamu ku baamawulire bakkiriziddwa okuyingira ate abamu ne bagaanibwa.

Ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro, abaamawulire bonna bakkiriziddwa okuyingira wabula ne bagaanibwa okukuba ebifaananyi by’omunda mu balakisi wadde okwogera n’omuserikale yenna.

Wano baabadde kumpi n’akayumba ka yunipooti omwabadde mukuh− haanyiziddwa emirambo era baggyiddwaawo ne babakkiriza wansi okuliraana ofiisi z’abakulu. Waliwo bannamawulire abaasangiddwa nga bakubye ebifaananyi, Capt. Edward Birungi (omwogezi wa Miritale Poliisi) kwe kulagira bannamawulire bonna bafulume baalakisi era ye n’abajaasi abalala basatu baabawerekedde okutuuka ebweru wa ggeeti ne balagira abagikuuma babagobewo.

Ku ssaawa nga 4:00, ambyulensi y’amagye yafulumye ng’erimu emirambo. Yabadde ewerekerwako kabangali ya poliisi n’eyolekera olw’e Kampala. AMAGYE KYE GAGAMBA Omwogezi wa Miritale Poliisi, Capt. Birungi yagambye nti Obua abadde mukugu mu by’obujjanjabi naye abadde n’obutakkaanya mu famire ye era abanene mu magye bagezezzaako enfunda eziwera okutuula naye babumalewo ne bigaana.

Yagasseeko nti ku Lwokuna, Obua yanywedde omwenge n’enjaga ebyamukyusizza obwongo n’akwata emmundu ne magaziini ssatu n’atandika okukuba amasasi mu bbanga na buli muntu amusala mu maaso. Be yasse kwabaddeko omujaasi omukazi, Pte. Monica Adongo, Fatumah Juma, Susan Adeke, Wineza Bella, n’abaana basatu okuli ne Pamella Nanfunda ow’emyezi esatu, Sandra Nalumaga n’omulala ataategeerekese mannya.

Capt. Birungi agamba nti mu kiseera bino we byabeereddewo, baasobeddwa ne babulwa eky’okukolera Obua nga baabadde baagalabamukube essasi erimulumya bamuggyeko emmundu kyokka ne bigaana nga balaba ataamuuse atandise kwolekeza bajaasi banne masasi.

Kino kye kyabaggye mu mbeera ne basalawo naye bamukube amasasi agaamusse olw’okutaasa abalala. Bwe yabuuziddwa oba Obua y’omu ku bajaasi abataano abaakwatibwa mu nkambi e Bombo nga beenyigidde mu mivuyo gy’emmundu, Capt. Birungi yazzeemu nti, “Ebyo si bituufu”. Yagambye nti ebyokwerinda munda n’ebweru wa baalakisi babyongeddemu amaanyi okulaba ng’abantu bakola emirimu gyabwe awatali kutya. Ye omwogezi w’eggye lya UPDF, Lt. Col. Paddy Ankunda, yagambye nti bino we byabeereddewo, balooya ba UPDF baabadde bategeka kuggula misango ku Col. Dan Opito olw’okwenyigira mu bikolwa ebitabangula eggwanga. Yagasseeko nti abantu bonna be bazze bakwata omuli ne Opito baalina olukwe lw’okutandika okulumba enka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza