TOP

Eyaakayimbulwa bamukutte mu bubbi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2016

Eyaakayimbulwa bamukutte mu bubbi

Te1 703x422

Omuserikale ng’anywezezza Kiwanuka.

POLIISI ya CPS eggalidde omusajja ali mu kibinja ky’ababbi abanyaga abantu ku nguudo z’omu Kampala. Benedicto Kiwanuka eyakazibwako erya Kamenke olw’ebisago by’omuliro ebyamutuusibwako olw’okusimattuka okwokebwa olw’obubbi, poliisi ya CPS ezzeemu okumukwata oluvannyuma lw’okubba ssimu.

Ying. Jimmy Mayanja gwe babbye yagambye nti Kiwanuka ng’ali ne banne baamubbako ssimu ye ebalirirwamu emitwalo 60 mu Kampala mu June. “Nnali ntambula ku Wilson Road nagenda okulaba abasajja abampitako nga banneekulukunyaako okuddamu okwekwatakwata nga ssimu yange sigirabako wabula nnasobola okwetegerezaako Kiwanuka olw’enkovu z’omuliro,” Ying. Mayanja bwe yategeezezza.

Yagambye nti okukwata Kiwanuka yamaze kumulaba ng’atambula ku Ntebe Road n’ayita abaserikale abaamukutte ne bamutwala ku CPS wabula ne yeegaana okubba.

Aba poliisi baagambye nti Kuwanuka abadde yaakava mu kkomera omwezi gumu emabega oluvannyuma lw’okutwalibwayo ku misango egy’okusala ensawo. Yagguddwaako omusango gw’okubba ssimu ku fayiro SD: 20/14/06/2016 era yaggaliddwa mu kaduukulu ka CPS.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we