TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Gavumenti eveeyo erwanyise amakanisa g'Abalokole ag'ebicupuli-Omutume Neil Isaac

Gavumenti eveeyo erwanyise amakanisa g'Abalokole ag'ebicupuli-Omutume Neil Isaac

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2016

Gavumenti eveeyo erwanyise amakanisa g'Abalokole ag'ebicupuli-Omutume Neil Isaac

Mu1 703x422

GAVUMENTI esabiddwa okusitukiramu ku basumuba b'Abalokole abazimba  amakanisa n'ekigenderwa ky'okunoonya ssente mu kifo ky'okulungamya abantu ku njiri ya katonda. 

Bino byayogeddwa   omutume Neil Isaac okuva e South Africa mu lukung'aana Olwa 21 olumaze wiiki nnamba mu kkanisa y'o musumba David Kiganda eya Christianity Focus Center  esangibwa e Mengo Kisenyi Kiganda zooni.

Olukung'aana luno olwabadde wansi  wansi w'omulamwa ogugamba nti oli wani ? Lwategekeddwa ku ku kkanisa ya Bishop David Kiganda owa Christianity Focu Center e Mengo Kisenyi Kiganda Zooni era nga lwetabiddwaako Abasumba okuva mumawanga g'ebweru nga Rogers Cedar okuva e Kenya,Rev Wycliffe Mudake  okuva South Africa,  Bp Levy Silindaza ,Bp Sammy Musepa, Omutume Isaac Ne omutume Robert Kazibwe okuvae Canada omusumba Price Sheree n'omutume  Price Michael bano b'e Texas, omusumba Richard Lutwama  owe Malawi ssaako Bp Langton Kanyati owe Zimbabwe ng'ono ye yali musumba wa Cidy Kiganda e Zimbabwe .

Ng'omulamwa guno Neil we yasinzidde n'asaba gavumenti okusitukiramu ku basumba abatandikawo amakanisa n'ekigendererwa ky'okukola ssente ne bava ku mulamwa gw'okusasaanya ekigambo kya katonda ekiviiriddeko abantu okusigalira mu kizikiza .

"Abasumba abo baba tebalina kwolesebwa okuva eri katonda ekigenderwa kyabwe kunoonya ssente nga kino kiviiriddeko abantu bangi okusigalira emabega olw'okuwubisibwa kale gavumenti ya Uganda erina okusitukiramu okubalwanyisa " Neil bwe yategeezezza 

Yagasseeko nti South Africa  emanyikiddwa ng'e Nsi  efumbekeddemu abantu abakirizza ennyo mu kweraguza naye mu kiseera kino bannaddiini bali mu kaweefube okulaba nga balwanyisa ebikolwa eby'okweraguza era bangi ku bannansi bagenze balaba ekitangaala ne badda eri katonda nga kino kye kirina n'okukolebwa mu Uganda abasumba abaatumwa katonda okutambula nga bagenda babuulira abantu ekigambo kya katonda n'okuyamba abalina obwetaavu.

Ate ye Bishop  Kiganda yasabye poliisi okuvaayo okwetondera bannayuganda olw'abasirikale baayo abaakuba abantu kibooko ekikolwa eky'okutyoboola n'okulinnyirira eddembe lyabwe , yagasseko n'ategeezezza nti abasumba abamu singa obabuuza ani y'abakwatako okutuuka okuba abasumba  babalina nga kino kye kiviiriddeko  abantu okuwubisibwa ,

Yagasseeko nti bannayuganda bangi bbo tobanenya kuba buli kkanisa etandikawo bamanyi ntuufu nga wano we yabasabidde okusooka nga okwekenneenya abasumba abo naddala abavumirira bannaabwe baba balina ebigendererwa ebirala ate olw'ebizibu bannayuganda bye balina ebingi bagenda okujjukira okukitegeera nti amakanisa gebalimu makyamu ng'obudde bugenze.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu