TOP

Amagye ga Salva Kiir gawambye ebyokulwanyisa bya kyewaggula Machar

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2016

AMAGYE ga Pulezidenti Salva Kiir gawambye ebyokulwanyisa omuli n'emizinga egikuba ttanka ku basajja ba Gen. Riek Machar abaabadde baakabiziikula mu ttaka gye baali babikukulira.

Southsudanupdateindepth 703x422

AMAGYE ga Pulezidenti Salva Kiir gawambye ebyokulwanyisa omuli n'emizinga egikuba ttanka ku basajja ba Gen. Riek Machar abaabadde baakabiziikula mu ttaka gye baali babikukulira.

Ebyokulwanyisa bino okuli bbomu ez'omu ttaka, ebiwummumpu, emizinga n'emmundu ennene bisoba mu 3000 ng'amagye ga SPLA gaabiwambidde mu ssaza ly'e Lol okumpi n'ensalo ya South Sudan ne Central African Republic (CAR).

Okusinziira ku mukutu gw'amawulire ogwa Radio - Miraya, ebyokulwanyisa bino, byawambiddwa ku Lwomukaaga, bwe baabadde bikukusibwa mu loole lukululana eyabadde n’ennamba enjigirire ez'ekibiina ky'amawanga amagatte (UN).

Gavana w'essaza ly'e Lol, Rizik Zechariah Hassen yategeezezza nti, ebyokulwanyisa bino byakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ga SPLA oluvannyuma lw'okutemezebwako nti ebyokulwanyisa eby'amaanyi byabadde biteereddwa mu ssaza lino.

Kigambibwa nti ebyokulwanyisa bino, abakambwe ba Machar baabiziikudde mu ttaka gye baali baabiziika mu mwaka oguwedde ng'olutalo lukommekkerezebwa kyokka baabiziikuddeyo okwetegekera olutalo olupya oluyinza okubalukawo essaawo yonna.

Gavana Zeschariah yalumirizza Meeya w'ekibuga Raha, James Benjamin, nti ye yabadde emebga lw'okukusa ebyokulwanyisa bino. Meeya Benjamin yalangiridde ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nti yeegasse ku Machar n'ategeeza nti ye (Meeya) n'abakulembeze b'omu kibuga ly'e Raja okuli n'omuduumizi wa poliisi, Sebastiano Kornelio kati bawulize eri omumyuka Machar so ssi Pulezidenti Kiir.

Oluvannyuma lwa bino, Salva Kiir yategeezezza nti bukya butabanguko bugwawo wiiki bbiri eziyiseewo azze akyogera lunye nti Machar yeetegekera lutalo kyokka ng’abantu abamu tebakkiriza by’ayogera nti kyokka kati obubonero obw’enkukunala butandise okuvaayo ku lutalo oluyinza okuddamu ekiseera kyonna

KIIR ASISINKANYE MUSEVENI

Pulezidenti Salva Kiir yazze kipayoppayo mu Uganda n'asisinkana Pulezidenti Museveni ku kafubo ak'ekyama mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe. Kiir okujja mu Uganda, ng'obubonero byongedde okweyoleka nti essaawa yonna olutalo luddamu e South Sudan olw'embiranye wakati we (Kiir) ne Gen. Machar, mu kiseera kino eyeekumye mu kifo ekitamanyiddwa.Bwe yabadde tannajja mu Uganda, Kiir yasoose kuwa Machar nsalessale wa ssaawa 48 okuddayo e  e Juba mu ofiisi ye ey'omumyuka wa Pulezidenti wabula nsalessale yaweddeko ku Ssande nga Machar tannalabikako Juba.

Ensonda mu kafubo k'e Ntebe zaategeezezza nti Pulezidenti Kiir yayitiddemu Pulezidenti Museveni ku mbeera eri e Juba n'enteekateeka z'alina okuzza embeera mu nteeko omuli n'okugoba Gen. Machar mu kifo ky'omumyuka wa Pulezidenti ng'amulumiriza nti yabadde mu lukwe olw'okumuwamba.

CHINA AGGYEEYO ABANTU BAAYO 350:

Gavumenti ya China etandise okuggya mu South Sudan, abamu ku bannansi baayo olw'okutya olutalo olusuubirwa okubalukawo ekiseera kyonna. Bannansi ba China abasoose okuggyibwa mu South Sudan, kuliko abamu ku bakozi aba kkampuni y'amafuta eyitibwa China National Petroleum Company (CNPC) n'abalala abakola mu bitongole eby'enjawulo.

We bwazibidde eggulo ku Ssande, ng'abakozi 191 aba kkampuni ya CNPC be baalinna e nnyonnyi e Juba okudda e China. Abachina abalala 157 ababadde bakola mu bitongole eby'enjawulo nabo baggyiddwaawo e South Sudan ne bazzibwa ku butaka e China okutuusa ng'embeera ezze mu nteeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera