TOP

Abagoberezi ba Mukajanga balangiridde ekipya

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2016

Abagoberezi ba Mukajanga balangiridde ekipya

Muk1 703x422

Abantu nga basoma mmisa ku ntaana ya Mukajanga (mu katono wansi).

ABAGOBEREZI b’omugenzi Mukajanga balangiridde nga bwe wagenda okubeerangawo okusabira omwoyo gwa Mukajanga buli mwezi ku Jemba plaza.

Justine Buwembo omu ku bagoberezi ba Mukajanga abakuukutivu ye yalangiridde bino mu kusabira omwoyo gwa Mukajanga okwategekeddwa ku ntaana ye e Bukalango ku Lwomukaaga omugenzi lwe yawezezza wiiki nnamba bukya aziikibwa.

Buwembo yategeezezza ng’okusaba kwa buli mwezi bwe kugenda okulemberwamu mutabani wa Mukajanga gwe yali alabirira Peter Womiala ng’ono bagenda kumutikkira obusosodooti nga August 13, 2016.

Okusaba kuno kwetabiddwaamu abagoberezi ba Mukajanga be yali asisinkanira ku kizimbe kya Jemba plaza mu Kampala nga kwakulembeddwaamu Fr. Benedict Stephen Obbo ow’obusumba bw’e Tororo.

Obbo yakubirizza abagoberezi bano okubeera obumu okulaba nti omulimu gwa Mukajanga gutwalibwa mu maaso.

Ya yongeddeko nti Mukajanga yali ayagala nnyo abantu ne katonda. “Mukajanga yabonaabona nnyo ng’abuulira enjiri era omulimu gwe tulina okugutwala mu maaso nga mu kiseera kino tuli mu kumusabira katonda asobole okumuwa obulamu obutaggwaawo,” Obbo bwe yategeezezza.

Oluvannyuma abagoberezi bano baasondedde mutabani wa Mukajanga Peter Womiala ssente ezaasobye mu kakadde nga bagamba nti eno y’engeri emu okulaga nti emirimu gya Mukajanga gye yaleka gya kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa