TOP

Abakyala bakuzizza olunaku lwabwe ku musingi gw’amaka Amaganda

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2016

Abakyala bakuzizza olunaku lwabwe ku musingi gw’amaka Amaganda

Ba1 703x422

Minisita Nkalubo (awanise omukono) ng’ayogera eri abakyala.

MINISITA w’abakyala mu Bwakabaka bwa Buganda, Mariam Nkalubo Mayanja akubirizza abakyala b’Eggombolola ya Mutuba III e Makindye okwenyigira ennyo mu byobulunzi kubanga bireeta mangu ssente.

Mayanja yabyogeredde ku mukolo gw’abakyala b’Eggombolola ya Kabaka ey’e Makindye abakulirwa Agnes Kimbugwe ne Dr. Amina Kinaazika abaakuzizza olunaku lwabwe mu ngeri y’okulwana okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda, amaka g’Omuganda obutabulamu bintu eby’etteeka.

Bazze n’omulamwa ogugamba nti “akaalo amatendo”, mwe baatunuulidde amaka g’Omuganda ebintu ebitayinza kugabulamu omuli: effumbiro eririmu ekibanyi, akatandaalo, kaabuyonjo, eddundiro, etterekero ly’emmere, ekinnya ky’ebisaaniiko, olusuku, omusiri gw’enva endiirwa n’ebirala.

Agamu ku maka agasangiddwaamu ebisaanyizo bino agaalambuddwa, kwabaddeko: aga Ssentebe wa LC I e Katuuso-Buziga, Edith Kyosiimire, John Ssekimpi, Hajji Hamid Gombe omwogezi w’emmotoka z’empaka, amaka ga Abbey Kabugo, aga Shifa Lilian Kafeero owa CBS alunda obugubi ne Rachael Lubowa Rachael.

Gonna kyenkana gaasangiddwamu buli kintu Omuganda kye yandibadde nakyo mu maka. Omukolo guno gwetabiddwaako omumyuka w’Eggombolola, Francis Anthony Lubowa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo