TOP

Gavt. egaanyi okutaasa abagagga abali mu mabanja

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2016

Gavt. egaanyi okutaasa abagagga abali mu mabanja

Ndu1 703x422

Prime Minister Ruhakana Rugunda

ABAGAGG A bannannyini makampuni ne bizinensi ezitubidde mu mabanja ebyabwe bibi! Gavumenti esazzeewo nti tegenda kubasasulira mabanja gaabwe ge beewola mu bbanka ez’enjawulo wabula egenda kusasula abo bokka abagibanja ssente, bo beesasulira amabanja gaabwe .

Katikkiro wa Uganda, Ruhakana Rugunda yategeezezza nti bannannyini kkampuni ne bizinensi abalina ensimbi ze babanja Gavumenti be bokka abagenda okutunulwamu so ssi abalina amabanja ge beewola mu bbanka ku lwabwe.

Kino kiddiridde abagagga abawerako okuddukira mu Gavumenti ne bassaayo okusaba kwabwe nga baagala banunulwe mu mabanja ge batubiddemu, baleme kufiirwa byabugagga bye baasinga mu bbanka.

Abagagga okuddukira mu Gavumenti kyaddiridde Minisita w’Ebyensimbi, Matia Kasaija okutegeeza bwe yali asoma bajeti y’eggwanga nti ensimbi ezisoba mu buwumbi 1,000 ziteereddwaawo ziyambeko okuggya kkampuni n’abantu ssekinnoomu mu nvuba olwa bizinensi zaabwe ezitatambula.

Pulezidenti Museveni naye yakikkaatiriza nti Gavumenti egenda kuyamba okubbulula kkampuni ne bizinensi ezitubidde mu mabanja kubanga kyali kizuuse nti bbanka ez’Ebyobusuubuzi zaali zibawoledde ssente ku magoba mangi.

Rugunda yannyonnyodde nti kkampuni ne bizinensi ezibanja Gavumenti zokka ze zigenda okusasulirwa amabanja era kino kiggyeemu abagagga bangi abatalina nsimbi ze babanja Gavumenti.

Katikkiro yalagidde abasuubuzi abaawola Gavumenti ebintu ebitali bimu bagende beewandiise mu bitongole gye baabigaba balage n’omuwendo gw’ensimbi ze babanja basasulwe olwo bagende basasule amabanja agababanjibwa bbanka gye beewola ensimbi.

Waliwo ne kkampuni n’abantu ba ssekinoomu ababanja Gavumenti ya South South olw’ebintu bye baagiguza kyokka nga Gavumenti ya Pulezidenti Salva Kiir emaze emyaka egisukka mu ettaano nga tebasasula.

Bannayuganda bassekinnoomu ne kkampuni ez’enjawulo bagambibwa okuba nga babanja Gavumenti ya South Sudan ensimbi ezisoba mu ddoola obukadde 55 ( eza Uganda obuwumbi nga 160). Pulezidenti Museveni yasisinkanye Pulezidenti Salva Kiir ku Lwomukaaga era kigambibwa nti ensonga ya Bannayuganda ababanja yayogeddwaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...