TOP

Ziizino ensonga ezitutte Baminisita mu lusirika e Kyankwanzi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2016

Ziizino ensonga ezitutte Baminisita mu lusirika e Kyankwanzi

Ndu1 703x422

Ssabaminisita RT HON. Ruhakana Rugunda

OLUSIRIKA lwa Baminisita lutandise olwaleero e Kyankwanzi. Ekimu ku bigenda okuteesebwako z’enkyukakyuka mu Konsitityusoni omuli n’okuggyamu ekkomo ery’emyaka 75 Pulezidenti gy’alina okukomako okwesimbawo.

Baminisita 80 bagenda kumala wiiki nnamba e Kyankwanzi, okuva ku Mmande nga July 25 okutuuka August 1, 2016 mu lusirika luno, Pulezidenti Museveni lw’asuubirwa okuggulawo mu butongole enkya ku Lwokubiri.

Katikkiro Ruhakana Rugunda yategeezezza nti mu lusirika luno, Baminista bagenda kuweebwa emisomo ku nkola y’emirimu gya gavumenti n’engeri ey’okutuusa obuweereza mu bantu, okulwanyisa enguzi, okunyweza obumu n’enkulaakulana y’eggwanga.

Baminisita era bagenda kuteesa ku nkyukakyuka ezeetaagisa okukola mu Konsitityusoni y’eggwanga omuli, n’ekyokuggyawo ekkomo ku myaka 75, Pulezidenti gy’alina okukomako. Disitulikiti y’e Kyankwanzi ye yabadde ensale mu kuyisa ekiteeso eky’okuggya mu Konsitityusoni ekkomo ery’emyaka 75, kisobozese Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo mu 2021 wadde ng’anaaba asussa emyaka 75 egy’obukulu.

Ssentebe wa NRM owa disitulikiti y’e Kyankwanzi, omubaka Anna Maria Nankabirwa ye yawomye omutwe mu kiteeso ng’agamba nti, akatundu 102 (b) aka Konsitityusoni y’eggwanga kakyusibwemu baggyemu ekkomo ery’emyaka 75 ku Pulezidenti.

Nankabirwa yagambye nti baagala ekkomo ku myaka liggyibwe mu Konsitityusoni, kiwe Bannayuganda omukisa okulonda omukulembeze omutuufu awatali kukugirwa.

Minisita w’Ebyamateeka Maj. Gen Kahinda Otafiire yategeezezza gye buvuddeko nti Gavumenti enteekateeka okukola enkyukakyuka ssinziggu mu Konsitityusoni era mu kiseera kino bali mu nteekateeka ez’okussaawo akakiiko akagenda okukuhhaanya ebirowoozo mu bantu ku nkyukakyuka mu Konsitityusoni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.