TOP
  • Home
  • Agawano
  • Beti Kamya ajuguzza okulya Obwaminista: Bannabyabufuzi beefuze omukolo

Beti Kamya ajuguzza okulya Obwaminista: Bannabyabufuzi beefuze omukolo

By Moses Kigongo

Added 25th July 2016

BANNABYABUFUZI okuva mu Kampala beefuze omukolo gw’okujagulizaako Beti Olive Namisango Kamya olw’okugonnomolwako ekifo ky’obwaminisita bwa Kampala mu Gavumenti ya NRM.

Mini 703x422

Canon James Lutaaya (asooka mu maaso), Rev Canon Henry Ntulume (owookubiri ku ddyo) okuva ku layini esooka oluvannyuma lw’okusabira Beti Kamya (gomesi eya kakobe). Ku kkono we omubaka Latif Ssebaggala. Mu gomesi ya kyenvu ye Sumin Nabagereka.

BANNABYABUFUZI okuva mu Kampala beefuze omukolo gw’okujagulizaako Beti Olive Namisango Kamya olw’okugonnomolwako ekifo ky’obwaminisita bwa Kampala mu Gavumenti ya NRM.

Baavudde mu munisipaali za Kampala ez’enjawulo okuli Kawempe, Lubaga, Makindye, Nakawa ne Central ne beetaba ku mukolo gw’okusabira Kamya era nga baakulembeddwaamu minisita w’abavubuka Nakiwala Kiyingi, omubaka wa Kawempe North Latif Ssebaggala eyakiikiridde ababaka ba palamenti okuva mu Kampala.

Bameeya baakulembeddwa Emmanuel Sserunjogi, Ronald Nsubuga Balimwezo ne Nganda Mulyanyama n’abalala okwabadde Sumin Nabagereka eyayogedde ku lwa Gavumenti ya NRM.

Nakiwala Kiyingi bwe yaweereddwa akazindaalo okubaako ky’ayogera yakolokose bannabyabufuzi abamwogerera amafuukuule n’ategeeza nti bandibadde baamuvaako dda talina kigambo ky’atawulidde ebbanga ly’amaze mu byobufuzi era nga yazze kukolera bantu sso si kuwuliriza bigambo.

Yalabudde abo abasuubira okwekiika mu kkubo ly’okuweereza abantu babiveeko kuba ssi waakubawa mukisa kukikola kuba ebiseera alina byakutuukiriza buvunaanyizibwa bwamukwasiddwa ng’ayita mu kukola.

Omubaka Latif Ssebaggala naye yasinzidde wano n’alabula bannabyabufuzi abeewala okukolagana nabo ku nsonga ezirimu Bannakampala.

Yategeezezza nti baakukolagana n’abo bokka ababeewadde nga Kamya bw’akoze. Yagumizza Kamya (minisita wa Kampala) nti baakukolagana naye okuweereza Bannakampala kubanga alaze nga bw’ali omwetegefu okubeebuuzaako nga bannabyabufuzi b’omu Kampala.

Kyokka Sumin Nabagereka omu ku bakakuyege ba NRM lukulwe bwe yakutte akazindaalo, yalangidde bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti okuba bannanfuusi ekisusse n’abalabula nti bwe bataabukomye NRM yakubafuga ebisanja n’ebisanja.

Wabula wano yakomeddwaako abamu ku bantu ng’ekkanisa yabadde efuuliddwa akadaala k’ebyobufuzi.

Kamya ng’ayogera yeebazizza abamusabidde mu mbeera zonna era ne yeeyama okuwaayo omusaala gwe ogw’omwezi ogusooka eri ekkanisa ya Martyrs Church e Nateete eyategese okumusabira.

Oluvannyuma Abakristaayo baalambudde eddwaaliro ekkanisa ly’ezimba ku kkanisa ate oluvannyuma ne bagabula abagenyi baabwe ekijjulo ekyategekeddwa ssaabadinkoni w’e Nateete, Rev. Canon Henry Ntulume ne Canon James Lutaaya Ddungu, omu ku bakadde abakuzizza Beti Kamya ne kitaawe George Kamya okuva obuto nga tannafa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.