TOP

Abasirikale ba Poliisi 60 bazzeeyo okutendekebwa

By Musasi wa Bukedde

Added 28th July 2016

Abasirikale ba Poliisi 60 bazzeeyo okutendekebwa

Ka1 703x422

Kayihura

GEN. Kale Kayihura asindise abaserikale 60 abali ku madaala aga waggulu mu ttendekero e Bwebajja okwongera okutendekebwa okumala emyezi ena.

Kino kiddiridde Kayihura okukola enkyukakyuka mu baserikale n’abaggya mu ofiisi ez’enjawulo n’abatwala mu ofiisi endala ate abalala n’alagira baddeko ebbali okutuusa ng’emisango egibavunaanibwa nga giwedde.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa nga July 26 nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura yalagidde abaserikale abaalondeddwaamu okuva ku ddaala lya ‘Senior Commissioner of Police’ (SCP) okutuuka ku lya ‘Senior Superitendant of Police’ (SSP) okugenda okutendekebwa okutandika nga August 13, 2016.

Era yalagidde abagenda okutendekebwa basooke beeyanjule ku kitebe kya poliisi nga July 29 2016, basobole okumanya bye bagenda nabyo mu kutendekebwa n’ebiragiro bye balina okugoberera babisome babitegeere.

Abamu ku baserikale 60 abalagiddwa okutendekebwa kuliko; SCP Stephen Tanui abadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, ACP Polly Namaye omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, James Ruhweza Akiiki akulira ebikwekweeto mu Kampala n’emiriraano, ACP Samuel Omala, abadde anoonyerezebwako okukuba abalonzi e Namutumba, ACP Herbert Muhangi akulira ekitongole ekirwanyisa abazigu ekya Flying Squad.

Abalala kuliko Siraje Bakaleke RPC wa Kampala East, Hillary Kulayigye RPC wa Rwizi, Phillip Achaye RPC wa Kyoga East, Apollo Kateeba RPC w’ekitundu kya Albertine, Michael Musani RPC wa Greater Bushenyi, Nixon Agasirwe okuva mu ofiisi ekola ku bikwekweeto eby’enjawulo, Zurah Ganyana, Muzafaru Zirabamuzaale ne Moureen Atuhaire

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...